TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omulamuzi Bamwine atabaganyizza Sudhir ne Bank of Uganda

Omulamuzi Bamwine atabaganyizza Sudhir ne Bank of Uganda

By Musasi wa Bukedde

Added 14th November 2017

AKULIRA abalamuzi ba kkooti Enkulu, Dr. Yorokamu Bamwine atuuzizza omugagga Sudhir Ruparelia n’abakungu ba bbanka Enkulu okusobola okumalawo obutakkaanya wakati waabwe.

Br703422 703x422

Sudhir

BYA ALICE NAMUTEBI

Ensisinkano eno yabadde mu ofiisi y'omulamuzi Bamwine ku kkooti Enkulu e Kampala eggulo ku Mmande era tebakkirizza muntu yenna kugyetabamu yadde abaamawulire.

Sudhir yabadde awerekeddwako mutabani we Rajiv Ruparelia ne looya we Peter Kabatsi ate bbanka Enkulu ng'ekiikiriddwa Justin Bagyenda, akulira eby’okulondoola bbanka mu Uganda.

Omulamuzi akulira kkooti y’ebyobusuubuzi gye bawaabira Sudhir yali alonze looya omukyala  Harriet Magala  okutabaganya Sudir ne bbanka Enkulu kyokka oluvannyuma enjuyi zombi zaasaba omutabaganya akyusibwe obuvunaanyizibwa  ne buweebwa omulamuzi Bamwine.

Sudir ne looya we bwe baavudde mu ofiisi y’omulamuzi bagaanye okubaako kye boogera ku byatuukiddwaako wabula n'ategeeza nti alina essuubi mu mulamuzi Bamwine kubanga alina obumanyirivu mu by'akola  ate nga musajja mukulu.

Omwogezi w’essiga eddamuzi, Vincent Emmy Mugabo yakakasizza nti kaweefube w’okutabaganya Sudhir ne bbanka Enkulu akyagenda mu maaso.

Okusinziira ku mateeka agafuga kkooti, emisango gyonna egy'engassi ng'omulamuzi tannatandika kugiwulira, gisooka wa mutabaganya. 

Kino kiyambye emisango obutakandaalira mu kkooti era mu gimu abantu bakkaanya ne bakola n’endagaano eteekebwako omukono gw’omulamuzi omusango ne guggwa nga temuyise mu nkola ya kwewuuba mu kkooti kutuula kwerumiriza na kwewozaako.

Mu musango guno, bbank Enkulu yawawaabira Sudhir okuviirako Crane Bank okugwa nga bagamba nti Sudhir yaggya ssente ezisoba mu buwumbi 400 mun bbanka ye n'azikozesa bizinensi ze ekyagiirako okugwa.

Sudhir avunaanibwa n’okutondawo akawunti ez’obulimba mu bbanka ye n'ekigendererwa ky’okukwekwa entambuza ya ssente enkyamu n’okuwuddiisa bbanka Enkulu w'eyimiridde mu by'ensimbi.

Bbanka Enkulu era egamba nti Sudhir yawangayo embalirira enkyamu ng'agezaako okubikka ebituli ebyali mu bbanka ye era mu nkola eno, Sudhir yayitanga mu kkampuni ye eya Meera Investments okukaliza Crane bank  ekyagiviirako okugwa n'etundibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka 220x290

Mayiga atongozza olukiiko olutegeka...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga alagidde akakiiko akagenda okutegeka olunaku lw’abantu ba Kabaka ababeera ebweru...

Lab1 220x290

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye...

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye katono battingane!

Mariach5 220x290

MC Mariach akiggadde! Kabiite we...

MC Mariach akiggadde! Kabiite we Mirembe Lydia Bogere amwanjudde mu bakadde be

Kaba 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO AFULUMYE...

Tukulaze ebyakoleddwa okumatiza amagye okuyimbula muka Mugabe. Ate agenda okusikira Mugabe bamulagidde annyonnyole...

Mak1 220x290

Buganda esiimye emirimu gya AD...

Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu gya AD Lubowa