TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Eyasoma ne Museveni amulabudde ku by'okukyusa ennyingo 102b: 'Eggwanga olizza mu katyabaga

Eyasoma ne Museveni amulabudde ku by'okukyusa ennyingo 102b: 'Eggwanga olizza mu katyabaga

By Musasi wa Bukedde

Added 14th November 2017

Ku mukolo gwe gumu, abakulembeze ba NRM abawerera ddala 10 nga bakulembeddwaamu Joseph Lubega Kaggwa, eyavuganyizza ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti y’e Kyotera baasaze eddiiro ne begatta ku DP nga balumiriza nti obubbi mu kibiina n’abakulu okuva ku mulamwa kye kibawalirizza okukyabulira.

Kawangangayogeraeriabantukuddyoyerobinahssentongonomwamiwe 703x422

Kawanga ng'ayogera eri abantu. Ku ddyo ye mubaka wa Kyotera omukazi, Robinah Ssentongo ne bba . EKIF: TONNY KALYANGO

Bya TONNY KALYANGO

Eyaliko omubaka w’ekibuga Masaka mu palamenti munna D.P John Baptist Kawanga era nga y’omu kubabaka abaabaga Ssemateeka wa 1995 eggwanga kweritambulira, alabudde Pulezidenti Museveni nti ensonga eziri mu ggwanga naddala okukyusa akawaayiro 102(b) okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti bw'atazikwata na bwegendereza zoolekedde okuzza eggwanga mu ddukadduka gye yalijja.

Okwogera bino yasinzidde ku kisaawe ky'e Kasambya mu Kyotera Town Council ku mukolo ogwategekeddwa omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Kyotera, Robinah Ssentongo okwebaza Katonda wamu n’abawagizi be okumutuusa ku buwanguzi mu kalulu akaakakomekkerezebwa mu disitulikiti eno.

Kawanga nga yasomako ne Pulezidenti Museveni mu matendekero agenjawulo, yalaze obwennyamivu olwa kye yayise Pulezidenti okuva kw'ebyo bye bakkaanya okukola nga bakyali bonna baali bakyali bonna mu kibiina kya DP ne ku matendekero agenjawulo, okufuula Uganda eggwanga eryegombesa.

“Kyatulumanga nnyo okulaba nga buli mulundi obuyinza bukyuka luvannyuma lwa kuyiwa musaayi, twakkaanya wamu naye (Museveni) okukomya kino naye kyennyamiza okulaba ng’omukisa guno nate agummye Bannayuganda era nnina okutya nti eggwanga liyinza okuddayo mu kuyiwa omusaayi,” Kawanga bwe yagambye.

Kawanga yasabye omubaka Robinah wamu ne banne okufuba bamatize abo bonna abawagira okukyusa akawaayiro kano nga babalaga ebikyamu ebikirimu kubanga lino ly'ekkubo lyokka eriyinza okutaasa eggwanga mu kaseera kano.

Robinah Ssentongo yeebazizza abalonzi okumussaamu obwesige n’awera obutabatiiririra ku nsonga yonna.

Ku mukolo gwe gumu, yafundikidde okwebuuza ku balonzi ku kukyusa Ssemateeka nga ku bantu bonna abeetabye ku mukolo tewali yawagidde kukyusa kawaayiro 102(b).

Aba NRM beesozze DP

Ku mukolo gwe gumu, abakulembeze ba NRM abawerera ddala 10 nga bakulembeddwaamu Joseph Lubega Kaggwa, eyavuganyizza ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti y’e Kyotera baasaze eddiiro ne begatta ku DP nga balumiriza nti obubbi mu kibiina n’abakulu okuva ku mulamwa kye kibawalirizza okukyabulira.

Abalala kwabaddeko Joseph Kagame abadde ssentebe wa NRM mu ggombolola y’e Kaliisizo era bano baweze okwongera DP amaanyi ewangule ebifo byonna mu disitulikiti eno nga batandika ne bassentebe b’ebyalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...