TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omujaasi atta abantu bamukutte: Abadde abatega embooko y'omuwala ng'akamasu okubasendasenda

Omujaasi atta abantu bamukutte: Abadde abatega embooko y'omuwala ng'akamasu okubasendasenda

By Eria Luyimbazi

Added 14th November 2017

POLIISI ekutte abasajja babiri okuli omujaasi wa UPDF n’omukazi abali mu kibinja ekigenda kiwamba abantu ne babatta n’okubaggyako ssente.

Tta0 703x422

Emmotoka mwe baawambira Kibira ne bamubba. Brenda Nganzi akozesebwa mu kunoonya abasajja ab’okubba.

Omu baamuwamba ne bamunyagulula, ne bamutta oluvannyuma omulambo gwe ne bagusuula mu nnyanya.

Julius Alinda omujaasi wa UPDF akolera mu kitongole eky’oku mazzi, Saddam Ayinamani ne Brenda Nganzi 22, be baakwakatiddwa poliisi oluvannyuma lw’okuwamba omusajja ku mudumu gw’emmundu ne bamubbako ssente.

Kino kiddiridde omusajja Victor Kibira omutuuze w’e Bunono mu Katabi okwekubira enduulu ku poliisi e Ntebe nga bwe yawambibwa abasajja babiri okuli n’omukazi ne bamuggyako ssente emitwalo 38 oluvannyuma olw’okumutiisa okumutta.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Asan Kasingye yagambye nti Kibira yasanga Nganzi ku Abayitaababiri n’amukwana era ne basisinkana enfunda ez’enjawulo era nga Nganzi alina n’emmotoka mw’atambulira.

“Tukutte abasajja babiri n’omukazi nga bano babadde emabega w’okuwamba abantu ku mudumu gw’emmundu ne babanyaga era nga mulimu n’eyafa era nga baakwatiddwa mu bitundu by’e Ntebe,” Kasingye bwe yategeezezza.

Yagambye nti Nganzi yeefuula ali mu mukwano ne Kibira era ne balagaana okusisinkana ku bbaala ya Fire and Ice Bar era Nganzi yajjira mu mmotoka ekika kya Nissan X-trail namba UAZ 771T era n’alinnya ne basalawo okubaako we bagenda nga bino byaliwo nga August 19, 2017.

Yategeezezza nti mu mmotoka ya Nganzi mu mito egy’emabega waali weekweseeyo Alinda ne Ayinamani abaasiba Kibira emiguwa ne bamwetoolooza ekibuga Ntebe ne bamuggyako ssente oluvannyuma ne bamutwala mu maka ga Nganzi e Mpala ne bamutulugunya.

 muserikale ngatwala rinda ne yinamani mu kuduukulu ku poliisi e tebe Omuserikale ng’atwala Arinda ne Ayinamani mu kuduukulu ku poliisi e Ntebe.

Yagambye nti, mu maka ga Nganzi baamusibiramu oluvannyuma ne bamukuba kalifoomu ne bamusuula ku luguudo oludda e Lutembe mu kisiko ne bamulekera 3,000/- ze yakozesa okudda ewuwe nga August 25, 2017.

Yannyonnyodde nti Kibira olwadda engulu, yagenda ku poliisi n’aggulawo omusango n’aginnyonnyola n’ebyamutuusibwako. Poliisi yatandika okunoonyereza okutuusa lwe yakwata Nganzi n’akkiriza nga bwe yawamba Kibira ng’ayambibwako banne abalala.

Yagambye nti poliisi yagenda mu maka ga Nganzi gye yazuula ebintu ebyakozesebwa mu kutulugunya Kibira omwali ebiragalalagala, empiso ne waya z’amasannyalaze. Baazuula n’emmotoka mwe baali batambulira era n’abatwala eri banne be yakolagana nabo.

Kasingye era yategeezezza nti mu kunoonyeraza poliisi kwe yakoze, yazudde nga mmotoka eyasangibwa ne Nganzi, yali ya Parick Eduardo Osare ng’ono yawambibwa okuva e Ibanda ne bamutwala e Rubanda gye bamusuulira mu nnyanja.

Osare ye yali nnanyini kkampuni ya Posa Investments Ltd etunda ebintu eby’enjawulo e Seeta era kyazuuliddwa nti yaliko muganzi wa Nganzi okutuusa lwe yabuzibwawo.

Yagambye nti poliisi e Ntebe eri mu kunoonyereza engeri Nganzi eyaliko ku kyeyo mu ggwanga lya Oman gy’abadde akolaganamu n’abatemu okuwamba n’okutta.

Poliisi yaggulawo omusango oguli ku fayiro nnamba CRB:945/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...