TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Wuuno genero eyakoze olukwe olwawambye Mugabe

Wuuno genero eyakoze olukwe olwawambye Mugabe

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2017

Gen. Chiwenga ffa nfe wa Mnangagwa era kigambibwa nti n’okudduka mu Zimbabwe, enteekateeka zonna zaakolwako Mnangagwa ng’amuteekateeka okumukwasa obuyinza olwa kye yayise Mugabe okubayisaamu olugaayu ng'akwasa mukazi we entebe.

465e1b18000005785081687imagea511510735759839 703x422

Gen. Constantino Guveya Dominic Nyikadzino Chiwenga

Ng’oggyeeko okugobwa mu kibiina abantu abateeberezebwa okubeera abawagizi ba Mnangagwa, waliwo ebibinja by’abavubuka abawagizi ba muka Mugabe, ababadde batandise effujjo ku bantu, okutiisatiisa n’okulengezza abawagizi ba Mnangagwa okwetoolola Zimbabwe era bano amagye be gaayogeddeko “ng’abamenyi b’amateeka” era abamu baakwatiddwa dda.

Embeera eno ye yatuusizza omuduumizi w’amagye, Gen. Constantino Guveya Dominic Nyikadzino Chiwenga 61 okuvaayo n’obukambwe ku Mmande nga November 13, 2017 n’atuuza olukung'aana lw’abebyokwerinda mwe yasomedde ekiwandiiko ng’alabula ku bikolwa eby’okutulugunya abawagizi b’abamu ku bammemba ba ZANU PF. Gen. Chiwenga yagambye nti, amagye tegagenda kulonzalonza okuyingirawo okutereeza embeera singa ebikolwa eby’effujjo, okutulugunya n’okutiisatiisa abawagizi b’abamu ku bammemba aba ZANU - PF kugenda mu maaso.

Yagasseeko nti ng’ekibiina kyetegekera olukuhhaana ttabamiruka, buli mmemba ateekwa okuweebwa omukisa okuvuganya mu bwenkanya.

Bino Gen. Chiwenga okubyogera ng’asuubirwa nti emikutu gya Gavumenti egy’amawulire okuli ttivvi y’eggwanga, Zimbabwe Broadcasting Corporation (ZBC), leediyo n’empapula z’amawulire zigenda okubiweereza eri eggwanga, abantu bamanye amagye we gayimiridde, kyokka kyamubuuseeko bwe yabadde yaakamala okwogera, abayambi be ne bakamutema nti kyenkana abadde yeeyogeza yekka kubanga ‘Above’ agaanyi emikutu gy’empuliziganya egya Gavumenti okubiweereza mu bantu. Mu Zimbabwe, ekigambo 'Above' babadde bakikozeseza nnyo ku biragiro bya Mugabe oba mukazi we.

Kino kyaggwe Gen. Chiwenga mu mbeera era kwe kulagira amagye ku Lwokubiri okweteekateeke okuyingira ekibuga nga yasoose kulagira ttanka z’amagye nnya ne ziyingira ekibuga Harare ku ssaawa nga 9:00 ez’olweggulo n’oluvannyuma abajaasi nga 300 nga bali ku loole ez’amagye ne basalako ekitebe kya Zimbabwe Broadcasting Corporation (ZBC) okuli ttivvi ne leedyo y’eggwanga.

Abakozi abasinga naddala bamanaja baakwatiddwa, olwo amagye ne gasigala nga ge gasalawo ebigenda ku mpewo.

Ku ttivvi y’eggwanga, omwogezi w’amagye Maj. Gen. Sibusiso Moyo kwe yasinzidde eggulo ku makya n’alangirira nti, amagye gaabadde gasazeewo okuyingirawo nga bwe gaalabula ku Mmande kubanga embeera evudde mu nteeko olw’abamenyi b’amateeka abali ku lusegere lwa Mugabe.

Maj. Gen. Moyo yasoose kunnyonnyola nti, amagye kye gakoze ssi kuwamba buyinza n’akakasa nti, Mugabe akyali Pulezidenti era omuduumizi w’amagye ow’oku Ntikko era ali bulungi ne famire ye kyokka abantu abakyamu abamwetooledde, amagye be gajjiridde nga bwe ganaamala okubakolako nga buli kimu kidda mu nteeko.

Gen. Chiwenga ffa nfe wa Mnangagwa era kigambibwa nti n’okudduka mu Zimbabwe, enteekateeka zonna zaakolwako Mnangagwa ng’amuteekateeka okumukwasa obuyinza olwa kye yayise Mugabe okubayisaamu olugaayu ng'akwasa mukazi we entebe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....