TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Famire 2 zikaayanidde omulambo gwa Sgt. Kifulugunyuabadde

Famire 2 zikaayanidde omulambo gwa Sgt. Kifulugunyuabadde

Added 16th November 2017

FAMIRE bbiri zivuddeyo ne zikaayanira omulambo gwa Sgt. Kifulugunyu nga buli emu egamba muntu waabwe.

 owoomugaso’Kifulugunyu n’omu ku baana be.

owoomugaso’Kifulugunyu n’omu ku baana be.

Nnamwandu abadde amanyi bba alina abaana bana bokka akitegedde amaze kufa nti alina abaana abasoba 30.

Sgt. Steven Kifulugunyu Ss-empagala 80, abadde mutuuze w’e Kawempe Mbogo Zooni I mu muluka gwa Kawempe 1.

Yafudde ku Lwokubiri oluvannyuma lwa ssukaali okulinnya n’atwalibwa mu ddwaaliro ng’embeera mbi.

Amawulireg’okufa kwe gaatandise okusaasaanyizibwa ku mikutu gy’amawulire nga wano famire bbiri zeesowoddeyo nga buli emu egamba nti waaluganda lwaabwe ng’ekyasinze okwewuu-nyisa abatuuze famire zombi zeddira Nseenene ng’ate emu y’Abakatuliki endala y’Abasiraamu.

FAMIRE EZIKAAYANA ZINNYONYODDE

Kalanzi Sseppuuya omu ku bad-dukanya akatale ka Bivamuntu-uyo ku Kaleerwe: Kifulugunyu muganda wange ddala lwa kuba yali yeekutula ku kika okumala emyaka 50 ng’obuzibu bwava ku taata waffe, omugenzi Haji Ssaalongo Idi Kasumba eyafa mu 2002 ne tumuziika ku kyalo Seeta Wantaayi mu ggombolola y’e Kangulumira mu Disitulikiti y’e Mukono.

Famire yaffe y’Abasiraamu naye Kifulugunyu yasalawo okukyuka n’adda mu Bakatoliki n’afuna n’erinnya lya Steven ekyanyiiza taata era bwe yanenya ku Kifulugunyu n’akola entondo n’ava mu kika kati gibadde giweze emyaka ebiri ng’akomyewo mu kika n’abaana be yabatuleetera mu kyalo.

Obuzibu we buva Kifulugunyu buli wa Nseenene abadde amut-walira ddala nga muganda we kati ab’e Kasanda we bagambira nti waluganda lwabwe , Muganda wange Kifulugunyu yahhamba nti alina abaana 30 n’omusobyo ng’abalala bali mu nsi z’ebweru.

Gye buvuddeko nawandiikira Pulezidenti Museveni asobole okufunira Kifulugunyu ssente yeekulaakulanye wabula abadde tannatuddamu era Kifulugunyu abadde ssente agenda kuzikol-amu Faamu mu kyalo Wantaayi.

FAMIRE ENDALA

Stephano Ssempagala Ntege 38, omuwandiisi w’olukiiko lw’Ensenene mu ggwanga n’e Bulaaya ng’era ye muwandiisi w’oluggya lwa StephanoSsempagala e Kasanda Namiringa mu Disitulikiti y’e Mityana:

Omugenzi muganda wa taata wange, omugenzi Mpagi Kifulugunyu era jjajja abazaala ye mugenzi Erifazi Mwebe nga yaziikibwa Kasanda era ne Kifulugunyu gyazze aziika abaana be nga n’enkiiko zonna ezibadde zituula Kifulugunyu abadde azeetabamu.

MWANNYINA WA KIFULUGUNYU

Mwebe Nambasa: Kifulugunyu taata y’omu twawula ba maama era ffenna tuziikibwa Kasanda Mityana kati oyo Sseppuuya agamba nti omugenzi muganda we alimba kirabika alina ebigen-dererwa bye birala.

Mu September w’omwaka guno Kifulugunyu yajja n’abaana be mu kyalo e Kasanda ne tulima ebiggya.

NNAMWANDU AYOGEDDE

Sauda Nalubega 34: Mmaze ne Kifulugunyu emyaka 17 mmu-linamu abaana basatu mpozzi waliwo n’omulongo Kato gwe yahhamba nti abeera Kyebando era yamundaga mu kifaananyi. Okumanya nti alina abaana abasoba mu 30 mbitegedde kati ng’amaze kufa ng’abamu banku-bira bali Bulaaya ne banneeyanju-lira ate omu akubye we Germany. Wabula tantwalangako waabwe kyokka aludde ng’agamba nti bamuzaala Kasanda era yatwa-layoko n’abaana be wabula ku famire ye sirina gwe mmanyi.

KIFULUGUNYU ABADDE YEESIGA NNYO OMWANA WE OKUSINGA MUKYALA WE

Shamira Nakalanzi 16, omuy-izi wa S4 ku Mbogo College omu ku baana ba Kifulugunyu gw’azaala mu Nalubega: Taata abadde alina ebintu by’ambuulira n’ankomako nti sirina kubibuulira maama nange bwe mbadde nkola.

Yahhamba nti tulina baganda baffe bangi okuli abali e Germany ng’eno waliyo Ben, e Portugal waliyo babiri, e London nayo waliyo babiri ng’era omu namula-bako nga tuli ne taata mu kibuga ng’addayo e London.

E Zimbabwe nayo waliyo basatu n’awalala.Kalanzi Sseppuuya naye yamu-tulaga nga taata era twagendako naye mu kyalo e Kangulumira nga n’e Kasanda mu September twa-genda ne tulima ebiggya.

Oluvannyuma taata yantwala e Mbikko waliyo ssenga gwe yandaga kati ebisigadde sirina kye mmanyi.YAGAANA OKUMUZIIKA MU KKEESI:Mu kiraamo kya Kifulugunyu ya-gaana okumuziika mu kkeesi.

Yalagira mukyala we nti bw’abanga afudde bamuziikanga mu mbugo eziwerako aleme kuwunya nnyo.

SSENTEBE WA LC AYOGEDDE

Muhammad Kagubaala Lule ssentebe wa LC 1 eya Kawempe Mbogo zooni I: Omugenzi Kifulugunyuabadde mutuuze mulungi era buli lw’abadde afunamu obutak-kanya ne mukyala we gw’abadde ayita Muzungu ng’ampita ne mbabuulirira era ne ku Mmande yajja n’ahhamba nti yafunyeemu obuzibu ne Muzungu hhendeyombatabaganye kyokka naleme-rerwa era essimu gye nafunye nga bambikira nti afudde kyokka abadde akyogera buli kaseera nti bamuzaala Kasanda.

Oluvannyuma enjuyi zombi zaatudde ab’e Kangulumira (Basiraamu) ne basalawo ab’e Kasanda baziike.

Amir Masembe agamba nti mu-ganda wa taata wa Kifulugunyu yategeezezza nti bbo bamanyi nti wa kika kyabwe naye tebajja kukaayanira mulambo kuba eddiini tebaki-rizza.

Ate Mutabani wa Kifuugu-nyu omukulu Michael Kalib-bala yategeezezza nti kitaabwe yasooka kuzaala abaana bataano okuli Winfred Nabayego, Fred Ssewannyana, Meddie Mwebe, Wycliff Kalanzi naye bakuze tumanyi e Kasanda ye waffe.

Okuziika kwa leero ku ssaawa 10:00 e Kasanda Namir-inga mu Disitulikiti y’e Mubende.

AMAGYE

Ying. Panado Katumba mwan-nyina wa Nalubega (nnamwandu) yategeezezza nti mukoddomi ng’amaze okufa yagenze e Mbuya ne bamusindika e Bombo gye baamugambidde nti omugenzi yawummula amagye naye abadde afuna omusaala gwe era ne basuubizza okukola ku by’okuziika okuli n’okumuziika mu kitiibwa kyokka ne bawa akakwakkuzizo nti famire zimale kukkaanya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...