TOP

Mugabe batandise okumusuuza bye yabba

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd November 2017

ROBERT Mugabe 93, atandise okuloza mu bukambwe bwa bannamagye abamuggye mu ntebe bwe bamuwambyeko ssente enkalu n’ebimu ku bintu ebikalu eby’ebbeeyi bye baamusuuzizza ng’asibamu ebibye okuva mu State House ya Zimbabwe.

Ala 703x422

Mugabe n'olubiri lwe

Mugabe yalekulidde ku Lwokubiri akawungeezi era abayambi be ne batandika okusibamu ebibye okubiggya mu maka g’Obwapulezidenti (State House) okubitwala mu maka ga Mugabe ag’obwannanyini agayitibwa ‘Blue Roof’.

Amaka galikwoleka aga Blue Roof gasangibwa mu kifo eky’ebbeeyi mu kibuga Harare ekiyitibwa Borrowdale Brook nga gali ku yiika 44 nga gakubisaamu State House emirundi esatu mu bunene, obulungi n’ebbeeyi.

Gabalirirwamu ddoola obuwumbi 20 olw’ebintu eby’ebbeeyi mwe gaazimbibwa n’ebigalimu nga byonna byaggyibwa mu China ne Hong Kong.

Okuva ku State House okugenda ku ‘Blue Roof’ wali nga okuva e Kololo okugenda e Bbunga kyokka Mugabe abadde asinga kusula mu Blue Roof, emirimu n’agikakkalabiza mu State House.

Loole ttaano lukululana zaasimbiddwa ku State House ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro ku Lwokubiri, okutikka ebintu bya Mugabe wabula abayambi ba Mugabe baabadde beetakateeka okutandika okutikka ebintu ebyabadde bipakiddwa mu bbookisi ennene, ekiragiro ne kijja okuva mu magye ekibayimiriza.

Omukutu gw’amawulire ogwa Newsday gwategeezezza nti, ng’oggyeeko emigogo gy’engatto egisoba mu 800 okwabadde n’eza muka Mugabe Grace, entuumu y’amasuuti, amasaati n’engoye endala, ebyapakiddwa mu lukulunala bbiri ne zijjula, ebintu ebirala byonna ebyabadde bisibiddwa abayambi ba Mugabe okwabadde ne ssente ezaabadde mu bibookisi, abajaasi baabibasuuzizza.

Bbokisi za ssente, kigambibwa nti zaabaddemu ssente z’amawanga ag’enjawulo okuli ddoola za Amerika, Pawundi za Bungereza, Rands eza South Afrika, ne Yuan ez’e China, bannamagye baaziwambye.

Bannamagye era baawambye ebyokwewunda eby’amayinja ag’ebbeeyi okuli zaabu, Diamond n’ebirala ng’okusinga bya muka Mugabe eby’omu bulago, amagulu, emikono, ebikomo, essaawa ne kalonda omulala.

Kiggambibwa nti kwabaddeko n’empeta eya Diamond muka Mugabe gye yagula mu Bufaransa ku ddoola akakadde kamu n’emitwalo 20 (mu ssente za Uganda obuwumbi buna n’obukadde 320).

Amagye gaategeezezza nti Mugabe ateekwa okunnyonnyola gye yaggya ssente ezo ne mukazi we ababuulire gye yaggya ssente mw’abadde agula eby’okwejalabya.

EBYOBUGAGGA BYA MUGABE BINAAMUGGYIBWAKO?

Ebyobugagga bya Mugabe bibalirirwa ddoola akawumbi kamu (eza Uganda obuwumbi nga 3,600) okusinziira mu mukutu ogwa Forbes magazine nga ssente ze ziri mu ttaka eriri mu bifo eby’enjawulo, ebizimbe ne bizinensi munda n’ebweru wa Zimbabwe.

Mugabe alina ffaamu ggaggadde ezisukka mu 10, munda mu Zimbabwe n’amayumba aga kalina n’ebizimbe ebya bizinensi mu China, Malaysia, Thailand, Singapore, Dubai ne South Afrika.

Mu South Afrika, Mugabe ne famire balina amaka gaggadde e Sandhurst mu Bungereza, mu kibuga Johannesburg n’amaka amalala mu kibuga Pretoria.

Mugabe alina n’ebizimbe ebya bizinensi ebisuka mu mukaaga mu bibuga eby’enjawulo mu South Afrika Ku byobugagga ebyo kw’ogatta ssente enkalu ezigambibwa okubeera mu bbanka ez’amaanyi mu mawanga nga Switzerland , Dubai (United Arab Emirates), South Afrika ne China Famire ya Mugabe naddala omukazi n’abaana basinga kumanyibwa mu Zimbabwe olw’okulya ssente n’okuzimansamansa mu bitundu eby’okwejalabya era kino kye kimu ku biruma ennyo bannansi ba Zimbabwe.

MUGABE ANAAVUNAANIBWA:

Abooludda oluvuganya baagala Mugabe n’aba famile baggulweko emisango egy’obutemu n’obubbi bw’ensimbi n’emisango gy’azzizza ku bannansi ba Zimbabwe mu myaka 37 egy’amaze mu buyinza.

Baagala Mugabe avunaanibwe n’abantu abamubadde ku lusegere. Kyokka kino kiyinza obutasoboka kubanga ababadde ku lusegere lwa Mugabe, omuntu alina okusookerwako ye Emmerson Mnangagwa, abadde mu gavumenti ya Mugabe okuva mu April 1980 okutuuka wiiki bbiri eziyise Mugabe lwe yamugobye.

Mugabe okusimbibwa mu kaguli okuvunaanibwa emisango egy’obutemu, okutulugunya n’obubbi kiyinza obutasoboka kubanga abali mu gavumenti empya bwe babadde ne Mugabe nga bakola ebikolobero okuli okutulugunya abooludda oluvuganya.

AMAGYE GANASIBA MUKA MUGABE?

Muka Mugabe gwe baakazaako erya ‘Gucci’ Grace olw’engeri gy’abadde yeejalabya ng’agula nnyo ebintu ebikolebwa kkampuni ya Gucci mu Italy, akyayiddwa nnyo mu Zimbabwe olw’engeri gye yeeyisa.

Abadde avuma, okulengezza n’okutyoboola buli muntu mu Zimbabwe oggyako bba n’abaana be.

Mu balozezza ku bukambwe bwa Muka Mugabe ye Pulezidenti omuggya Mnangagwa, omuduumizi w’amagye Gen. Chiwenga n’abanene mu gavumenti n’ekibiina kya ZANU PF era bano bawera kumufiirako.

Muka Mugabe yandisibira mu kkomera oba si ekyo mu buwahhanguse kubanga ne bannansi ba Zimbabwe beesunga okulaba ng’ali mu kaguli.

Kigambibwa nti Grace yeekukumye mu Blue Roof ne bba wabula waliwo ebigambibwa nti, alina ekifo ekyekusifu mu Harare gye yeekwese nga bw’asala amagezi okudduka mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...