TOP

Eyasikidde Mugabe alaziyibwa Lwakutaano

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd November 2017

Enteekateeka ziwedde okulayiza Emmerson Dambudzo Mnangagwa ku bwa Pulezidenti olwaleero ku Lwokutaano.

Wano 703x422

Mnangagwa ne mukyala we Auxilia ku kitebe kya ZANU PF mu kibuga Harare.

Enteekateeka ziwedde okulayiza Emmerson Dambudzo Mnangagwa ku bwa Pulezidenti olwaleero ku Lwokutaano.

Mnangagwa 75, yazzeeyo ku butaka e Zimbabwe oluvannyuma lw’ennaku 16 ng’ali mu buwahhanguse e South Afrika gye yaddukira nga Novemver 8 amangu ddala nga Mugabe yakamugoba mu kifo ky’omumyuka asooka owa Pulezidenti.

Okudduka mu ggwanga, Mnangagwa yategeeza nti, waliwo abali mu bitongole ebikessi abaamubbirako nti, Mugabe ne mukazi we baali baluse olukwe olw’okumutta.

Mnangagwa ne mukyala we Auxilia baatonnye ku kisaawe ky’amagye ekya Manyame Airbase ku ssaawa nga 1:00 ez’akawungeezi ku Lwokusatu n’asooka yeevumba akafubo ne bagenero b’amagye oluvannyuma n’agenda ku kitebe kya ZANU PF gye yayogeredde eri bannansi omulundi ogwasookedde ddala bukya bamulonda okudda mu bigere bya Mugabe.

Essanyu kate lyabye abawagizi be abeeyiye ku nguudo mu kibuga Harare n’ebibuga ebirala ebinene nga Bulawayo okwekulisa Mugabe n’okwaniriza Pulezidenti omupya gwe balinamu essuubi okubbulula ebyenfuna bya Zimbabwe ebyaddobonkana emyaka nga 20 egiyise.

Mnangagwa waakulayizibwa olwaleero akulembere Zimbabwe okutuuka ku kulonda okwa July 2018 ekisanja kya Mugabe lwe kibadde kiggwaako n’oluvannyuma yeesimbeyo okusaba ekisanja ekikye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....