TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Ebya Mugabe bibi! Atwalibwa mu kkooti lwa kutta bantu 20,000

Ebya Mugabe bibi! Atwalibwa mu kkooti lwa kutta bantu 20,000

By Musasi wa Bukedde

Added 26th November 2017

Lipoota eyakolebwa ka ‘Catholic Commission for Justice and Peace in Zimbabwe’ (CCJPZ) ku ttemu eryo kaalaga nti Gen. Solomon Mujuru eyali omuduumizi wamagye ga Zimbabwe yakolera ku biragiro bya Mugabe ng’ali wamu ne bannamagye abaawambye Mugabe, Gen. Constantino Chiwenga , Air Marshall Perrence Shiri bwe baaduumira amagye agaalumba Matabeleland ne basanjaga abantu.

Mugabe883769 703x422

Mugabe ne Mnangagwa eyamusuuzizza entebe y'Obwapulezidenti

ABADDE Pulezidenti wa Zimbabwe, Robert Gabriel Mugabe bimwononekedde! Ekitongole kya Genocide Watch kisazeewo atwalibwe mu kkooti y’Ensi yonna, International Criminal Court (ICC) awerennembe n’emisango gy’ekitta bantu n’okutyoboola eddembe ly’obuntu “Gukurahundi massacres”, ekyali mu kitundu ky’e Matabeleland wakati wa 1983-1984.

Abantu abasoba mu 20,000 ab’eggwanga ly’aba Ndebele be battibwa mu ttemu eryawuniikiriza ensi ku biragiro bya Mugabe.

Mugabe yayungula ekibinja ky’abajaasi eky’omutawaana ennyo ekya ‘Fifth Brigade’ ekyalimu abajaasi abaali batendekeddwa North Korea ne batirimbula abawagizi ba Joshua Nkomo eyali ow’ekibiina kya Zimbabwe African People’s Union (ZAPU) ekyali ku mbiranye ne ZANU PF ekya Mugabe mu myaka gya 1980 nga Zimbabwe yakafuna obwetwaze.

Lipoota eyakolebwa ka ‘Catholic Commission for Justice and Peace in Zimbabwe’ (CCJPZ) ku ttemu eryo kaalaga nti Gen. Solomon Mujuru eyali omuduumizi wamagye ga Zimbabwe yakolera ku biragiro bya Mugabe ng’ali wamu ne bannamagye abaawambye Mugabe, Gen. Constantino Chiwenga , Air Marshall Perrence Shiri bwe baaduumira amagye agaalumba Matabeleland ne basanjaga abantu.

Ng’oggyeeko abantu ab’eggwanga lya Ndebele abattibwa, abalala nga 30,000 baakwatibwa ne baggalirwa n’abamu ne baddukira mu mawanga ag’omuliraano.

Eyaliko Minisita mu gavumenti ya Mugabe, Dumiso Dabengwa nga mu kiseera kino y’akulira ekibiina kya ZAPU ekyali ekya Nkomo alumiriza Mugabe ne Pulezidenti omupya, Emmerson Mnangagwa eyali Minisita w’Obutebenkevu nti be baateekateeka ekitta bantu.

Akulira ekibiina kya Genocide Watch, Gregory Stanton yategeezezza nti enteekateeka ziwedde okutwala Mugabe mu ICC awerennembe n’emisango gy’ekitta bantu okufaananako n’abakulembeze abalala nga Charles Taylor owa Liberia, Laurent Gbabgo eyali owa Ivory Coast ne Slobodan Milosevic eyali owa Serbia.

Zimbabwe ssi mmemba wa ICC kyokka Slanton yagambye nti tekigaana ICC kubuuliriza n’okuvunaana Mugabe kubanga ne Pulezidenti wa Sudan, Omar Hassan Ahmad Al Bashir yabuulirizibwako ku ttemu n’ekitta bantu e Darfur ICC n’emuyisaaako ekibaluwa bakuntumye nga March 4, 2009 era okuva olwo ayiggibwa.

Stanton yagambye nti ettemu lya ‘Gukurahundi massacre’ teririna njawulo ku ttemu nga ery’e Rwanda (1994), Bosnia (1992-1995, Darfur (2003) ne Nazi holocaust (1941-1945) lye yagambye abaalyenyigiranu baasimbibwa mu kkooti y’Ensi yonna ne bavunaanibwa.

Kyokka Mugabe azze yeegaana eby’okufa kw’abantu bano ng’agamba nti Abazungu bapangirira bipangirire.

Wabula Strike Mnkandla, Ssaabawandiisi w’ekibiina kya ZAPU agamba nti abantu b’eggwanga ly’aba Ndebele balina ekkonda ku mutima olw’abantu baabwe abasanjagibwa era kye kiseera Mugabe ne Mnangagwa basimbibwe mu kaguli bavunaanibwe olw’ebikolobero byabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...