TOP
  • Home
  • Agawano
  • Bamukutte lubona ng'abba amasannyalaze ku kikondo

Bamukutte lubona ng'abba amasannyalaze ku kikondo

By Moses Lemisa

Added 27th November 2017

OBUBBI bw’amasannyalaze obweyongedde mu Kawempe, abatuuze babutadde ku bakamyufu abakolagana n’abakozi ba Umeme.

Bukenyangalimumuttigwamasanyalaze5 703x422

Bukenya ng’ali ku muti gw’amasannyalaze kwe baamukwatidde. EKIF: MOSES LEMISA

Ebizimbe bingi mu kawempe bikozesa masannyalaze agatali mu makubo matuufu. Bano kuliko eb’ebibanda bya firimu, ebyuma by’obuwunga, ebbaala n’ennyumba z’abapangisa.

Abatuuze mu miruka; Makerere i-iii, Mulago i-iii, Bwaise I, Wandegeya, Kyebando ne Kanyanya omusango bagutadde ku bakozi ba Umeme be balumirizza nti balina bakamyufu ababasoloolezza ssente ne bazibawa ku buli nkomerero ya mwezi. Obubbi bw’amasannyalaze mu Kawempe abamu baagufuula mulimu.

Amasannyalaze bagayisa mu ttaka, mu kaabuyonjo, mu myala era gasse abantu abawera.

Wabula omu ku bakozi ba Umeme eyatidde okwatuukiriza amannya ge, yategeezezza nti ssinga Palamenti teyisa tteeka ku babba amasannyalaze, tewali kijja kukyukako.

Yagasseeko nti wadde mu UMEME mulimu abakozi abakolagana ne bakamyufu, waliwo ababba amasannyalaze ne batwalibwa ku poliisi n’ebayimbula olw’okubulwa etteeka mw’ebasibira.

Yagambye nti okunoonyereza kulaga nti mu Munisipaali ezikola Kampala, Kawempe ekwata kisooka mu kubba amasannyalaze ng’eddirirwa Nakawa, Makindye ne Lubaga.

BAMUKWATIDDE KU MUTI

Abaserikale ku poliisi y’oku Kaleerwe baakutte Everisto Bukenya 37, ow’e Katooke A ng’ono yasangiddwa waggulu ku muti ng’alina amayumba g’azzaako mu bukyamu.

Bukenya yagambye nti mukozi wa kkampuni ya Aso esangibwa e Kiwaatule era bakolagana n’aba Umeme.

Abatuuze baawadde obujulizi ku Bukenya nti alina bakamyufu b’akolagana nabo okubba amasannyalaze.

Bukenya ekyasinze okumuloopa, yasangiddwa ku muti nga talina kikoofiira, ttaawo wadde giravuzi ebikozesebwa abakozi ba Umeme.

Jane Nakandi ow’omu Kirokole yategeezezza nti mu Kawempe bannannyini mayumba beggyako obuvunaanyizibwa bw’amasannyalaze ng’omupangisa y’alina okwesalira amagezi.

Yagasseeko nti ebikwekweto bya Umeme ku babba amasannyalaze tebikyalina makulu kuba bennyini abagasalako ate babalaba nga bagazzaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...