TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gen. Muhoozi akuutidde abajaasi obutasuulirira bakazi baabwe

Gen. Muhoozi akuutidde abajaasi obutasuulirira bakazi baabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 28th November 2017

OMUDUUMIZI wa UPDF, Gen. David Muhoozi asabye abajaasi obutasuulira bakazi baabwe ate bawe ekitiibwa amadaala agaabawereddwa.

020342updf1 703x422

Aduumira UPDF, Gen. David Muhoozi ng'ayambaza Maj. Gen. Steven Kashaka ennyota. Wakati ye Ruth Kashaka

Bino yabyogedde ku Mmande ku kitebe kya minisitule y’ebyokwerinda e Mbuya ku mukolo gw’okwambaza ennyota abaserikale b’eggye lya UPDF Pulezidenti Museveni beyakuzizza wiiki ewedde.

Muhoozi yabakubirizza okukola ebiweesa ennyota n’ekyambalo ky’amagye ekitiibwa ate baleme na kwerabira bakazi baabwe kubanga babeerawo mu kaseera akazibu ne basigala nga babaagala ne bwebabeera basindikiddwa okuweereza eggwanga mu bitundu ebyewala.

Abaayambaziddwa ennyota kwabaddeko; omuduumizi w’eggye erikuuma Pulezidenti erya SFC, Don Nabaasa eyaggyiddwa ku ddaala lya Colonel n’afuulibwa Brigadier, omuduumizi w’ekitongole ky’amagye ekikessi ekya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) Abel Kandiho naye yavudde ku ddaala lya Colonel n’afuuka Brigadier.

Mu balala abaayambaziddwa ennyota kwabaddeko bataano abaavudde ku ddaala lya Brigadier ne bafuuka Maj. General, 25 abaavudde ku ddaala lya Colonel ne bafuuka ba Brigadier, n’abalala babiri abaavudde ku ddaala lya Lieutenant Colonel ne bafuuka ba Colonel.

Omwogezi w’eggye lya UPDF, Brig. Richard Karemire yategeezezza nti, abaserikale bonna 334 abaakuziddwa nga November 21, tebaasobodde kubambaza nnyota n’agamba nti baayambazza okuva ku ddaala lya Colonel okutuuka ku Maj. General.

Yagasseeko nti, abalala be batayambazizza nnyota, bajja kuzibambaliza mu bitundu gye bawereza.

Omu ku baayambaziddwa nnyota, Maj. General Stephen Kashaka, akolera ku kitebe kya Uganda e South Afrika era eyakiiridde banne bwe baakuziddwa okutuuka ku ddaala lya Maj. Gen. yagambye nti, Pulezidenti okusiima emirimu gy’akoze n’amukuza kimusanyusizza nnyo era agenda kwongeramu amaanyi okulaba nga aweereza UPDF mu mbeera yonna.

“ Tetusobola kumala gasuulirira bakyala baffe kubanga be balabirira famire zaffe nga tetuliiwo ate ne basigala nga batwagala ne bwetukomawo, be babeera ekiwummuliro kyaffe,” Kashaka bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo