TOP

Abakulira Red Pepper basuze Luzira

By Joseph Makumbi

Added 28th November 2017

BANNANYINI kkampuni ya Red Pepper bataano n’abakozi basatu basimbiddwa mu maaso g’Omulamuzi James Eremye Mawanda owa kkooti ya Buganda Road ne basomerwa emisango musanvu era basindikibwa ku limanda e Luzira.

Jmc9095 703x422

Abakulira Red Pepper nga basimbiddwa mu kaguli. EKIF: JOSEPH MAKUMBI

Emisango gye baavunaaniddwa kuliko esatu egy’okuwandiika kalebula ekikontana n’akawaayiro 25 mu tteeka lya kompyuta, esatu gya kulebule bantu okuli Pulezidenti Museveni, minisita w’obutebenkevu Lt. Gen. Henry Tumukunde n’omukwanaganya wa Operation Wealth Creation (OWC) Gen. Salim Saleh n’omulala gwa kuwandiika amawulire agayinza okutabangula obutebenkevu n’ebyokwerinda by’eggwanga.

Abaavunaaniddwa kuliko, Richard Tusiime, James Mujuni, Johnson Byarabaha, Patrick Mugumya ne Arinaitwe Rugyendo bannanyini kkampuni ya Red Pepper.

Abalala ye, Ben Byarabaha omukuhhaanya w’olupapula lwa Red Pepper, Francis Tumusiime omumyuka we ne Richard Kintu atuukirwako amawulire okuva mu Kampala.

Baakwatibwa ku Lwakubiri lwa wiiki ewedde oluvannyuma lw’okufulumya amawulire agaaliko omutwe ogulaga nga Pulezidenti Museveni bw’ayagala okumaamulako munne owa Rwanda era okuva ku Lwokubiri, babadde bakuumirwa mu kaduukulu ka poliisi e Nalufenya.

Okuva lwe baakwatibwa, kkampuni yaabwe yaggalawo ne bateekawo n’abaserikale abawerako okuziyiza omuntu yenna okugendayo.

Bannamateeka baabwe nga bakulembeddwa Max Mutabingwa ng’ayambibwako Geoffrey Ntambireki Kandeebe baasabye kkooti okuyimbula abantu baabwe ku kakalu ka kkooti.

Baawadde ensonga eziwerako okumatiza kkooti eyimbule abantu baabwe kyokka omuwaabi wa Gavumenti, Abdul Salam Waisswa n’atamatira.

Mutabingwa yategeezezza nti, basibiddwa okusukka ebbanga erikkirizibwa mu mateeka mu kaduukulu e Nalufenya n’agamba nti okusiba omuntu essaawa emu yokka kibi ate bano basibiddwa ebbanga erikunukkiriza mu nnaku musanvu.

Waiswa yategeezezza kkooti nti, okunoonyereza kukyagenda mu maaso nti n’empapula z’abantu abaabadde baleeteddwa okweyimirira abasibe zaabadde zeetaaga okusooka okwetegerezebwa kwe kusaba kkooti eyongezeeyo okusaba kwabwe.

Omulamuzi Mawanda yayongeddeyo omusango okutuusa nga December 5.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...