TOP
  • Home
  • Agawano
  • Aba Kadongokamu 25 be basunsuddwa okuvuganya ku bukadde 100 eza Salim Saleh

Aba Kadongokamu 25 be basunsuddwa okuvuganya ku bukadde 100 eza Salim Saleh

By Josephat Sseguya

Added 28th November 2017

ABAYIMBI 25 be basunsuddwa okuvuganya ku ssente obukadde 100 obwassibwawo Gen. Salim Saleh babuwakanire nga bayita mu kuyimba ennyimba ezisomesa abantu okweggya mu bwavu naddala nga bajjumbira obulunzi n’obulimi.

Paka 703x422

Empaka zino ziri wansi w’ekitongole kya Operation Wealth Creation (OWC) ekirina kaweefube w’okuggya Bannayuganda mu bwavu era kimaze kumpi mwaka mulamba nga kitalaaga ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo okusomesa abantu era ng’abayimbi mu kubasanyusa bagasseeko n’okubasomesa.

Abayimbi ba kadongokamu be basoose okuyisibwamu omulamwa guno oluvannyuma n’ebiti by’abayimbi ebirala biyisibwemu omulamwa omulala ogw’okwekulaakulanya era abayimbi ba kadongokamu abasoba mu 100 be baasooka okuvuganya ne bagenda nga basunsulwamu ng’essaawa eno baasigadde 25.

Olukalala lw’abaasunsuddwa lwafulumiziddwa Lt. Gen. Charles Angina amyuka akulira Operation Wealth Creation mu mu lukung’ana lw’abamawulire olwabadde ku Media Centre mu Kampala.

Empaka ez’akamalirizo zitegekeddwa nga December 16, 2017 mu kisaawe e Kololo okuyingira kwa bwereere nga bisasuliddwa ekitongole kya OWC. ABAYIMBI 25

ABAASUNSUDDWA

Birungi Scovia; Abeera Luvule mu Masaka, yaakamala emyaka ebiri mu kuyimba era alina ennyimba nga Kalugulawo. Oluyimba lwe olugenda okuvuganya baluyita Operation ekitegeeza ekikwekweto.

Lord Fred Ssebatta: Ono yeeyita Star of Afrika ekitegeeza emmunyenye ya Afrika. Oluyimba lwe baluyita Zibula atudde.

Baby Reagan Lukyamuzi: Ava Masaka era alina oluyimba Akasiimo.

Mathias Walukagga: Alina oluyimba Obwavu.

Willy Mukaabya: Alina oluyimba Obugagga kufuba oluyigiriza 

Junior Jemba: Ava Kawaala mu Kampala oluyimba aluyita Amaanyi g’enjala.

Daddy Isaac: Ngenda kulima lwe luyimba lwe.

Ibra Fire: Ava Lwengo, oluyimba lwe baluyita Enkumbi terimba.

Matia Luyima: Mujje tulime lwe luyimba lwe.

Billy Katumba: Kwata enkumbi lwe luyimba lwe.

Mariam Namubiru: Alina oluyimba baluyita Enkumbi olugenda okuvuganya.

Abalala ye Ssaalongo Dan Mugula, Amir Ssengendo ne Billy Katumba.

BALEESE ABAKUGU OKUSALA EMPAKA

Lt. Gen. Angina yagambye nti baleese abakugu okuva ku yunivasite e Makerere mu kitongole ekisomesa eby’okuyimba ne bannakatemba era nga bakugu mu kusala empaka.

Yayongeddeko nti ekigendererwa mu kino baakizuula nti Bannayuganda baagala nnyo ennyimba nga ssinga abayimbi baba bayimbye ennyimba eziyigiriza eggwanga naddala nga zi bakubiriza okukola kijja kuba kiwadde enteekateeka ya Operation wealth creation amaanyi n’okuganja mu Bannayuganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...