TOP

Palamenti eragidde ku bbanka ezizze ziggalwa

By Ahmed Mukiibi

Added 29th November 2017

PALAMENTI eragidde ofiisi ey’omubazi omukulu ow’ebitabo bya Gavumenti okukola okunoonyereza okw’omuggundu ku ngeri Bbanka Enkulu eya Uganda gy’ezze yeddiza, okuddukanya n’okutunda bbanka ez’obwannannyini z’ezze eggalawo mu myaka egiyise.

Man1 703x422

Kasekende (ku ddyo) ne Suzan Kanyemibwa omuwandiisi wa Bbanka Enkulu.

Ababaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti akalondoola ebitongole bya Gavumenti akayitibwa, Commissions, Statutory Authorities and State Enterprises (COSASE) baasazeewo eggulo nti Bbanka Enkulu enoonyerezebweko kubanga bafunye okwemulugunya okw’enjawulo n’entuumu z’ebiwandiiko ebiraga emivuyo n’obutali bulambulukufu mu ngeri banka ezizze ziggalwa Bbanka Enkulu gye ziddukanyiziddwaamu n’okutundibwa.

Kino ababaka aba COSASE nga bakulirwa ssentebe waabwe, Abdul Katuntu (Bugweri-FDC) baakisazeewo bwe baabadde basisinkanye ttiimu ey’abakungu Bbanka Enkulu abaakuliddwaamu omumyuka wa Gavana, Dr. Louis Kasekende.

Mu nsisinkano eno, ababaka basoose kukunya aba Bbanka Enkulu ku nsimbi ezisoba mu buwumbi butaano n’obukadde 700 eggwanga lye zaafiirwa olw’omulimu ogw’okuzimba ettabi lya Bbanka Enkulu e Kabale eryazimbibwa mu ngeri eyagadibengalye.

Ababaka era baatabukidde Bbanka Enkulu nga baginenya nti yeesuliddeyo gwa nnaggamba nga banka ez’obusuubuzi ne kkampuni ez’amasimu eziri mu bizinensi ya Mobile money zinyigiriza Bannayuganda mu kubabinika amagoba amangi ne ssente ez’okusindika n’okuggyayo ssente.

Ku kya Bbanka ezizze ziggalwa, Katuntu yagambye nti ky’ekiseera Bbanka Enkulu enoonyerezebweko ku nkola yaayo mu kuggala, okuddukanya n’okutunda bbanka ez’ebyobusuubuzi ezizze zifuna obuzibu, eggwanga litegeere obuzibu we buva n’ekiyinza okukolebwa okwewaliwa.

EZIMU KU BBANKA EZIGGADDWA

Crane Bank: October 20, 2017

Imperial Bank: October 13, 2015

Global Trust Bank (U): July 25, 2014

National Bank of Commerce (Uganda): September 27, 2012.

Cooperative Bank,: May 19, 1999

Greenland Bank, April 1, 1999

International Credit Bank: November 18, 1998.

Sembule Investment Bank : 1995

Teefe Bank : 1993

Katuntu yagambye nti omubazi omukulu ow’ebitabo bya Gavumenti bagenda kumuwa emyezi ng’esatu oba ena okunoonyereza ku bbanka ezaggalwa n’agamba nti bagenda kulondamu bbanka nga ssatu oba nnya ezigenda okussibwako essira mu kunoonyereza.

Omumyuka wa Gavana, Dr. Kasekende yategeezezza ababaka nti BBanka Enkulu nay’erina okunoonyereza kwayo kwe yatandise ku kitongole kyayo ekivunaanyizibwa ku kulabirira n’okulondoola banka zonna okuzuula lwaki banka ez’obusuubuzi zituuka mu buzibu obw’ensimbi ng’ekitongole tekitegedde mu budde.

Omubaka Elijah Okupa yasabye Kasekende annyonnyole ku byogerwa nti abamu ku bakungu ba Bbanka Enkulu bagaggawalidde nnyo mu mivuyo egy’okuggala bbanka ez’obusuubuzi kyokka Katuntu yagambye nti eyo y’emu ku nsonga ezigenda okubuulirizibwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Puelvardy 220x290

Eyagobwa mu Leicester alumbye Vardy...

Claude Puel, eyagobwa ku butendesi bwa Leicester City mu February, alumbye omuteebi Jamie Vardy nti muzannyi mulungi...

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...