TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abantu bakube akalulu ku kisanja kya Pulezidenti - Kabineti

Abantu bakube akalulu ku kisanja kya Pulezidenti - Kabineti

By Kizito Musoke

Added 20th January 2018

EBY’OKWONGEZAAYO ekisanja kya Pulezidenti byeyongeddemu amaanyi, Kabineeti bw’etudde n’esalawo Bannayuganda bakube akalulu k’ekikungo basalewo oba ng’ekisanja kya Pulezidenti kiva ku myaka etaano kwe kibadde kidde ku musanvu.

Kola 703x422

alamenti lwe yafuuka ey’embirigo ku by’ekiteeso ky’emyaka. Ku kkono ye Muhammad Nsereko, Nandala Mafabi, Silas Aagon (atunudde mu kamera) ne Odonga Otto.

Mwesigwa Rukutana, amyuka Ssaabawolereza wa Gavumenti yategeezezza nti olukiiko lwa baminisita (kabineeti) lwatudde ne lumala ekiseera nga bakubaganya ebirowoozo ku nsonga eno era ne basalawo nti akalulu k’ekikungo kategekebwe abantu basalewo oba ng’emyaka gy’ekisanja kya Pulezidenti gifuulibwa omusanvu okuva ku etaano.

“Twagala kutegeka kalulu ka kikungo tusobole okutegeka okulonda kwa Pulezidenti, ababaka ba Palamenti n’abakulembeze ba Gavumenti z’ebitundu ku lunaku lumu. Bwe tutabeera na ‘referendum’ kibeera kitegeeza nti tujja kubeera n’okulonda kwa babaka ne LC mu 2023, ate Pulezidenti tumulonde mu 2021,” Rukutana bwe yagambye.

Kino kiddiridde Palamenti okutuula mu December wa 2017 n’eyisa ennongoosereza mu Ssemateeka mwe baggyirawo ekkomo ku myaka gya pulezidenti okuva ku 75.

Mu birala bye baasemba mwalimu okwongeza ekisanja ky’ababaka ba Palamenti okuva ku myaka etaano okudda ku musanvu.

Baasemba n’ekisanja kya Pulezidenti kidde ku myaka musanvu, kyokka obuyinza ku kino ssemateeka agamba nti abantu bonna be balina okukisalawo nga bayita mu kalulu k’ekikungo.

Etteeka lino Pulezidenti yaliteekako omukono nga December 27, 2017. Okussa omukono ku tteeka kyayongeddeyo ekisanja ky’ababaka ba Palamenti n’abakulembeze ba Gavumenti z’ebitundu abaliwo okutuusa mu 2023 lwe tunaddamu okubeera n’okulonda.

William Byaruhanga, Ssaabawolereza wa Gavumenti yagambye nti akalulu k’ekikungo ke kajja okuggya eggwanga mu masahhanzira agaliwo okw’okuddamu okulonda nga wayise emyaka ebiri.

Muwanga Kivumbi (Butambala) yagambye nti ekikulu gwe mutima gwe baagala okutegekeramu akalulu k’ekikungo. “Omuntu bw’avaayo n’ayagala okukyusa etteeka ly’Obusiraamu batandike okunywa omwenge, ne bwe babeera bayise mu mateega gatya siyinza kukiwagira.” Kivumbi bwe yagambye.

Yagasseeko nti ngeri yokka abantu gye basobola okweggyako omukulembeze omubi, balina kuyita mu kulonda abakulembeze. Kyokka abuusabuusa nti n’okulonda kwennyini kuyinza okubeera okw’amazima n’obwenkanya.

“Pulezidenti Museveni ayagala okwongezaayo ekisanja ye yalonda akakiiko k’ebyokulonda, ekibiina kye ekya NRM ekirina ababaka abangi mu Palamenti ne kibakakasa. Ekitongole kya National Identification and Registration Authority (NIRA) ekifuga lijesita y’abalonzi era Gavumenti ye y’ekifuga,” Kivumbi bwe yategeezezza.

Yagambye nti embeera eri mu ggwanga nga tewali ssuubi lya kutegeka kalulu ka bwenkanya, kibeera kikyamu okulowoozesa abantu nti be balina obuyinza obusalawo.

Munnamateela Ladislaus Rwakafuzi, omu ku bannamateeka abawakanya okukyusa Ssemateeka okwakolebwa, yagambye nti akalulu k’ekikungo tekasobola kubeerawo kuba omusango gye guli mu kkooti oguwakanya byonna ebyakolebwa mu Palamenti nti bwali bumenyi bw’amateeka.

“Kye nkakasa nti kkooti ejja kusazaamu eby’ababaka okweyongezaayo ekisanja, era tebiyinza kwesigamizibwako nga bategeka akalulu k’ekikungo,” Rwakafuzi bwe yagambye.

Kyokka ye Dr. Meshach Katusiime, eyasomesaako ku Makerere University Business School (MUBS), yagambye akalulu k’ekikungo kalina okutegekebwa kuba Ssemateeka ly’ekkubo lye yateekawo.

Jotham Taremwa, omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda yagambye nti talina ky’ayinza kwogera kubanga tebannaba kulagirwa kutegeka kalulu ka kikungo ku ky’okwongezaayo ekisanja kya pulezidenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi