TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebipya bizuuse ku muwala eyawambiddwa n'attibwa: Bba olukwe yalubaddemu

Ebipya bizuuse ku muwala eyawambiddwa n'attibwa: Bba olukwe yalubaddemu

By Musasi wa Bukedde

Added 27th March 2018

POLIISI enywezezza bba w’omuwala Charity Kyohairwe eyawambiddwa n’attibwa ng’aba famire bamaze okusasula obukadde butaano ng’emuteebereza okuba ne ky’amanyi ku ttemu lino.

Mada1 703x422

Abatuuze b’e Nalukolongo nga balaga omulambo gwa Kyohairwe, we gwasangiddwa.

Monday Baturayine, yakwatiddwa ku Lwomukaaga oluvannyuma lw’aba famire y’omugenzi okutegeeza poliisi nti beekengedde enneeyisa y’omusajja ono amangu ddala nga bamubikidde mukazi we ate nga babadde bakimanyi nti baafuna obutategeeragana obw’amaanyi obwabatuusa n’okwawukana.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire yakakasizza okukwatibwa kw’eyali bba w’omugenzi n’omusajja omulala agambibwa nti ye yavuga omugenzi okumuggya awaka.

Kigambibwa nti nnyina w’omugenzi, Grace Muhwezi, yakubira Baturayine essimu n’amutegeeza nga mukaziwe bwe yabadde awambiddwa kyokka omusajja n’addamu ng’abalaata nti ‘tannaba, yangoba awaka ng’alowooza nti alina abamukuuma, kaakirabe’.

Ebigambo bino byewuunyisizza aba famire era olwabibuulidde poliisi yasitukiddemu n’ekwata Baturayine aginnyonnyole kye yabadde ategeeza mu kwogera ebigambo bino.

Mwannyina w’omugenzi, Godwine Ahwera yategeezezza nti bba w’omugenzi tebayinza kumuggyako kya kubeera mu lukwe olwasse mukazi we kuba enneeyisa ye yabadde yeewuunyisa.

Ebizuuliddwa ebirala biraga nti omugenzi abatemu basoose kumukolako ffujjo okwabadde n’okumusobyako oluvannyuma ne bamutuga nga beeyambisa ekyayi ky’ekitooke.

Mu bujulizi obulala poliisi kwe yeesigamye, ye ofiisa wa Poliisi eyavuddeyo n’ategeeza nti amanyi abatemu abasse Charity nti era agenda kubayambako mu kubayigga bakwatibwe.

Ofiisa ono, ategeerekese nga Juma Abenda, y’akulira ebikwekweto ku Poliisi y’e Kabowa mu Munisipaali y’e Lubaga mu Kampala.

Abaserikale abanoonyereza ku musango guno baategeezezza nti balina essuubi nti muserikale munnaabwe ono ajja kubawa amawulire aganaayamba okukwata abatemu.

POLIISI EWANDIIKIDDE ABA MTN

Eggulo, omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima yategeezezza nti, bawandiikidde kkampuni ya MTN ebayambe okunoonyereza ku ssimu okwasindikiddwa ensimbi 2,500,000/- abatemu ze baasabye abooluganda lw’omugenzi.

Kino kiddiridde abooluganda lwa Kyohairwe eyabula ku Lwokuna nga March 23, 2018 okufuna ennamba abazigu gye babawadde okusindikako ssente eya 0780255737 eri mu mannya ga Kasifa Nyakayisiki.

Kayima yagambye nti bawandiikidde kkampuni okusobola okumanya ebisingawo n’okumanya ekitundu n’emirongooti abazigu gye babadde basinziira n’okutambulira kuba ssente ezaasindikiddwa kiraga nti baazifunye.

Yagambye nti mu 2018 ekitongole kya Flying Squad kifunye emisango munaana egyekuusa ku kuwamba abantu wabula abamu bazuuliddwa nga balamu ate abantu babiri ne battibwa ababawambye.

Abamu ku bawambiddwa kuliko Ashraf Bukenya eyawambibwa okuva ku bazadde be e Wamala Kawanda wabula abaamuwamba ne babula n’addizibwa bazadde be, Betty Namwirya omukozi mu bbanka.

Yawambibwa nga January 15, 2018 abazigu ne bamusuula ku luguudo lw’e Masaka Maron ow’emyaka 5 yawambibwa n’azuulibwa ku kkanisa ya Innerman e Kasubi n’addizibwa bazadde be, Fatima Ssendagire omuwaabi wa Gavumenti eyali abuze yazuuka, Norman Wegulo ow’e Makindye yawambibwa nga January 14 2018, wabula n’azuulwa.

Diamond Kyabakera 20 yawambibwa abantu abatannategeerekeka n’azuulwa n’addzibwa abooluganda lwe, Joel Ayebare 13 eyawambibwa okuva e Kawempe naye n’azuulwa.

UCC ERI MU KATU

Oluvannyuma lw’okuttibwa kwa Kyotuhairwe, ekitongole ekirungamya eby’empuliziganya mu ggwanga, ekya Uganda Communication Commission kyategeezezza nti, kikyalina okusoomozebwa okw’amaanyi mu kutereeza eby’empuliziganya olw’abantu abamenyi b’amateeka.

Avunaanyizibwa ku nsonga za bakasitoma mu kitongole kino, Ibrahim Bbosa yategeezezza nti bagezaako okuzimba tekinologiya agenda okuyamba okuzuula oba ebiri ku layini y’omuntu gye yawandiisa by’ebimu ebiri ku ndaga muntu ye. RCC

ALAGIDDE OKUWANDIIKA ABATUUZE

RCC wa Kampala Deborah Mbabazi alagidde bassentebe b’ebyalo okuwandiika abatuuze bonna abali ku byalo bye bakulembera ng’emu ku nkola ey’okumalawo obumenyi bw’amateeka mu Kampala.

Mbabazi ekiragiro kino yakiweeredde mu lukiiko lw’ebyokwerinda lwe yayise obukubirire n’omuduumizi wa poliisi mu Kampala South, Paul Kakamba mu Kabaawo zooni e Nalukolongo.

Omugenzi yaziikiddwa mu maka ga bakadde be ku kyalo Nyakashojwa ekisangibwa mu kabuga k’e Mitooma, mu disitulikiti y’e Mitooma ku Ssande.

Aba famire era bazzeemu okulumiriza bba w’omugenzi nti gye buvuddeko yali akaka mukazi we okussa omukono ku mpapula za bbanka asobole okwewola obukadde bw’ensimbi 30 kyokka omukyala n’agaana nga bateebereza nti nakyo osanga kyavuddeko obuzibu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...