TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Kirumira Muhammad akambuwadde: Atwala Gav't mu kkooti

Kirumira Muhammad akambuwadde: Atwala Gav't mu kkooti

By Ponsiano Nsimbi

Added 28th March 2018

MOHAMMED Kirumira aweze nga bw'agenda okutwala ssaabawolereza wa Gavumenti mu kkooti lwa poliisi kwonoona maka ge n’okumutulugunya.

Kirumira2 703x422

Kirumira ng'ali mu kkooti

Bino yabyogeredde ku kkooti ya poliisi e Naggulu eggulo bwe yabadde yaakamala okuwaayo okwewozaako kwe ku misango esatu egimuvunaanibwa okuli ogw’okulya enguzi n'egy’okukozesa obubi ofiisi ye.

Kirumira eyabadde ayogeza amaanyi yagambye baamuggulako emisango egitaliiyo era oba awangudde oba awanguddwa waakujulira mu Kkooti Enkulu.

Yagambye nti agenda kutandikira ku musango gw’okumutulugunya n’okwonoona oluggi lw’amaka ge.

Yagambye nti kino waakukikola mu kiseera kye kimu ng’emisango gy'aggudde ku gavumenti gigenda mu maaso.

"Mmaze okuyungula ekibinja kya bannamateeka abaamaanyi mu Kampala ekigenda okumpolereza nga kikulirwa aba Lukwago & Co. Advocates okufufuggaza gavumenti.

EMISANGO

Agamba nti ebirala ebiri mu mpaaba ye mulimu; "okugaana balooya bange okumpolereza, oba poliisi ensinga oba tensinga hhenda kugivuganya ku mutendera oguddako.

Eby'okugiddamu sinnaba kubirowoozaako, nkyalowooza ku ngeri gye hhenda okusiba gavumenti enkalu nayo ngirabe nga bagizunza. Nkomawo enkya nga bwe babadde bankola.

Buli lunaku nkozesa emitwalo 10 okweyanjula ku PSU e Bukoto. Njagala bandiyiririre. Kkooti yalagira kunsibira ku Railway kyokka abaserikale ne basalawo okunsibira e Nalufenya mu ngeri emenya amateeka.

Balooya nnina era naleese ne Sheikh okuva e Mombasa ayongeremu ebirungo mu musango guno,’’ Kirumira bwe yategeezezza.

Looya wa Kirumira Abdallah Kiwanuka yagambye nti baatandise dda okuteekateeka emisango ku ngeri omuntu waabwe gy'atulugunyiziddwaamu okuviira ddala lwe yakwatibwa omuli okumuggya mu kkomera lya poliisi ku Railway n'atwalibwa e Nalufenya n’okwonoona oluggi lw'ennyumba ye.

Yayongeddeko nti poliisi terina bujulizi ku misango gino y'ensonga lwaki egyali 28, kkooti yagoba 20 ne wasigala munaana. Era ne ku gino nti yawangula etaano asigazza esatu gye basuubira nagyo okuwangula

ALEESE SHEIKH OKUVA E MOMBASA

Sheikh Maumoud Yusuf Musiitwa y’omu ku baabaddewo nga kkooti ewuliriza okuwumbawumba mu kwewozaako kwa Kirumira era obwedda kkooti egenda mu maaso ng’ono agenda mu maaso n’okumusomera Dduwa, Allah amuyambe okuwangula emisango egisigaddeyo.

EBYABADDE MU KKOOTI

Omuwaabi wa kkooti Katherine Kusemerwa yasoose kuwumbawumba ku misango esatu egivunaanibwa Kirumira okuli okukozesa obubi ofiisi bwe yagoba Kayizi Kamada ne mukyala we ku kyalo.

Bino Kirumira yabijunguludde n'agamba nti omukyala ayogerwako, landiroodi n'akulira ebyokwerinda ku kyalo be yabadde ayogerako tebamanyiddwa kkooti. Ku musango gw’okukwata George Kalera, Ibrahim Nsubuga, Amongi Kefa ne Allan Ayinebyona omuwaabi wa kkooti yalemeddeko nti Kirumira alina okuleeta obujulizi obukakasa nti yali atumiddwa eyali omumyuka w'omuduumizi wa poliisi mu kiseera kyo omugenzi Andrew Felix Kaweesi n’okwonoona amannya ga bano ng'abasimba mu maaso g'abannamawulire.

Kirumira yayongedde n'attaanya ku byayogeddwa Kusemerwa n'ategeeza nti kaadi ng’omuserikale emuwa obuyinza okukwata omumenyi w'amateeka ate nga ku mulundi guno yali akolera ku biragiro bya mukama we era n'asaba abakulira poliisi okumusiima ku bye yakola.

Yayongeddeko nti kkooti ya poliisi terina buyinza kumuwozesa ku musango gwa kwonoonera muntu linnya ate era omuwaabi wa kkooti talina bujulizi bukakasa kino.

Omusango omulala gubadde gwa kukwata Hassan Kayongo ne mukyala we Peace Kyalisima n'abaggyako enguzi ya mitwalo 20 okubayimbula.

Kirumira yawerekeddwaako abafamire ye, emikwano ne bannabyabufuzi abaakulembeddwaamu Kansala Mohammed Ssegirinya.

Ssentebe wa kkooti Dennis Odong Piny yawadde lwa April 5, okuwa ensala ye ku misango gino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...