TOP

Kiki ekitabudde Nameere ne Faridah Nakazibwe?

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd April 2018

BOMBI bawala balungi era abeegombebwa. Bombi bakozi ba ku ttivvi era bombi bafumbo. Ye Faridah Nakazibwe akola ku NTV ne Justine Nameere eyakolako ku tivvi y’emu n’adda ku Bukedde n’avaayo nadda ku Salt gye yawummuzibbwa.

Wa 703x422

Faridah Nakazibwe ne Justine Nameere

Mu kifo ‘ky’okuzuukira’ awamu ne Kristo Yesu, abawala bombi bazze mu kwerangira.

Faridah ye yasoose n’afulumya omukukku gw’ekiwandiiko ku facebook ng’agamba nti akooye Nameere okumusojjanga ng’aweereza bba (Omar Ssali) obubaka okumuggya ku mulamwa gw’obufumbo bwe bwe yaakafuna.

Agamba nti, Nameere akozesa amannya agatali gage ku mikutu gy’empuliziganya okuweereza obubaka obumwonoona ng’abuweereza bba era nti n’olumu mu kumulinnya akagere kw’amukolako, yasindikira bba obufaananyi bwa vidiyo ye (Faridah) bwe yali anyumyamu ne mukozi munne omusajja mu ofiisi olwo n’amutegeeza nga bwe yamuganza.

Agattako nti ekyava mu kino ye bba wa Nakazibwe okumukubira essimu abitebye. Nakazibwe yagambye nti agamu ku mannya Nameere g’akozesa mulimu JOJO BELLA wabula ng’alabika omuntu oyo taliiyo bakozesa linnya kubuzaabuza.

Ku paasika, Faridah yeekyaye n’afulumya omukukku gw’ekiwandiiko ekyatulira Nameere n’amutegeeza nti bw’atamuvaako agenda kuyiwa n’obujulizi obulala obulaga nti asindikira bba, Ssali obubaka obuttattana erinnya lye ( Nakazibwe).

Nakazibwe okutuuka ku kino, omukyala, Ritah Kaggwa amanyiddwa enyo ku ‘social media’ mu kusaasaanya amawulire naddala agakwata ku bassereebu yasoose kussa kiwandiiko ku ‘facebook’ ye ng’alaba nti kiwandiikiddwa JOJO BELLA nga kirabula Nakazibwe ave mu bba wabula teyamutaddemu mannya.

Ekiwandiiko era kyabaddemu olukalala lw’abasajja abafumbo JOJO BELLA b’agamba nti Nakazibwe azze abaganza.

NAKAZIBWE AZZIZZA OMULIRO

Ku Ssande, Nakazibwe naye yasazeewo okuzza omuliro ku kiwandiiko kya JOJO era wano we yategeerezza nti Justine Nameere ye yeerimbika mu mannya ago era nti aludde ng’abikola.

Obubaka yabutandise nti ENOUGH is ENOUGH! THIS GOES OUT TO YOU JUSTINE NAMEERE… (Nti ekimala kimala, Justine Nameere kankwatulire), Okusirika kimpanguzizza bingi naye ku luno ndabye erinnya lyange lifa kwe kuvaayo ntaase amaka gange…. nakugambako dda (Nameere) ku bintu bino mu buntu naye era tewafaayo ne nkuleka nga mbiyita bya kusaaga naye kinsusseeko. Yamalirizza ng’agamba nti ensonga ezo, yazitwala dda ne mu ofiisi y’akulira poliisi mu ggwanga n’amuloopayo.

Bukedde yatuukiridde Faridah Nakazibwe n’annyonyola;

Lwaki Nameere bwe yakuloopa ku poliisi tewagenda:

Omuntu akutwala ku poliisi nga ye mukyamu omukolera ki?

Lwaki olumiriza Nameere omanyi otya oba muntu mulala?

Omuntu bw’akuwa obujulizi nga bwe nnina obw’amannya g’azze akozesa nga bw’agakyusakyusa ate nga nnina n’ebirala bingi bye sijja kubalaga kati, era oba tokkiriza! Bw’aba agamba nti si ye ye, naye aleete obujulizi.

Mulwanira musajja?

Nze siri ku bya kulwanira musajja era sinnakugamba nti ayagala kumutwala. Ekinnuma kunnyonoonera linnya.

Byatandika ddi?

Nameere amaze emyaka ebiri ng’annumba naye nga nze mmanyi bya kusaaga kyokka bwe yatuuse okwefuula mukyala w’omuntu omulala okunnyonoona eri baze, awo yansusseeko.

Agamba nti, oli mukulu nnyo wali ku WBS tv nga ye akyasoma mu pulayimale;

Saaaliyo gye yasomera ebyo sibimanyi.

NAMEERE ABYEGAANYI

Oluvannyuma lwa Nakazibwe okussa obubaka ku facebook ng’alaga nti Nameere y’amuwandiikako sswaakaba, Nameere naye azze facebook ne yennyonnyolako bwati;

Nnina omusajja omu era siyinza kwagala kwonoona bufumbo bwo (Faridah). Ndi mufumbo nnina n’abaana mu musajja wange! Ogamba otya nti mpeereza balo obubaka okwonoona amaka go, nnyabo nneesonyiwa! Yagenze mu maaso ate nga naye alaga nti, Faridah amaze ebbanga ng’amutambulirako.

Nti n’olumu yali yaakava ku kiso eky’omwanawe asooka ku ddwaaliro lya Kampala Hospital, n’amuweereza obubaka obumulumba nti alekere awo okumwonoona eri musajjawe.

Wabula nti teyabifaako olw’ebyokuzaala byeyalimu ng’alowooza binaggwa kyokka byagaana na kati Faridah  yamulemerako ng’amwesibako nti y’asindikira bba obubaka obumwonoona.

Nameere agamba nti naye yannyonnyola Faridah mu buntu naye era yagaana okukkiriza.

Agattako nti balooya be baludde nga basaba Faridah abatwalire obubaka bwe bamusindikira balabe we batandikira okunoonyereza nakyo yakigaana kye yava aggulawo omusango gw’okumuwaayiriza ng’ayita mu balooya be aba Lukwago and Company Advocates mu 2016.

Ate omwaka oguwedde yaddamu okuggulawo omulala ng’akozesa aba Signum Advocates.

Nameere era yagenda ne ku poliisi ya Kira Road n’esaba Faridah yeeyanjuleyo ne bba olwo poliisi ekozese abakugu mu bya yintaneti bazuule oba Nameere y’asindika obubaka obwo wabula Faridah era yagaana okugendayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte