TOP

Abaali aba UYD batabaganye

By Hannington Nkalubo

Added 7th April 2018

ABAALI abakulembeze ba UYD abaatabuka buli omu n’akwata lirye bazzeemu okwekung'aanya ne beegatta ku DP eyaawamu ne bategeezezza nti gye baagenda balemeddwa okuggyako Pulezidenti Museveni naye kati amagezi agamutwala bagafunye.

Pala 703x422

Omubaka Mathias Mpuuga (ku kkono), Samuel Lubega Mukaaku, Lyandra Komakech, Muwanga Kivumbi, ne Ssenkagale wa DP,Nobert Mao

Baagambye nti buli kitongole kya Gavumenti balinamu abaali bammemba baabwe era bonna babayise badde beegatte mu nteekateeka zaabwe ze baalina mu 1995 bwe baali n’amanyi nga buli omu abatya.

Abaakuhhaanye kuliko ababaka ba palamenti okuli; Mathias Mpuuga, Muwanga Kivumbi, Lyandra Komakech, Florence Namayanja, Keneth Paul Kakande, Samuel Lubega Mukaaku, Micheal Mabikke Samuel Muyizi, Derick Mutema, Ying. Kasujja, Sulaiman Kidandala Sserwadda, Johnmary Ssebuwufu, Moses Kataabu, Maxisensia Nakanjakko, Kobweemi Habwooli ne pulezidenti wa DP Nobert Mao eyabakulembedde.

Abalala abataabaddewo kuliko Dr. Lulume Bayiga, Medard Sseggona ne Brenda Nabukenya abaaweerezza obubaka nti byonna ebyatuukiddwaako bakkaanya nabyo.

Balonze ssentebe waabwe ow’ekiseera, Muwanga Kivumbi ssaako omuwandiisi w’ekibiina Micheal Mabikke.

Kivumbi yategeezezza nti buli omu gye yagenda yakolerayo ensobi ezisobozesezza Pulezidenti Museveni okwegazaanyiza mu bukulembeze.

Yagambye nti buli kitongole kya Gavumenti kyamaamirwa ng’okuggyako omuntu wa NRM nnyo, omulala tosobola kufuna wadde we weewogoma okole ku ssente eziweerera abaana.

Yagambye nti basazeewo okwekuhhanya bonna buli omu ave gye yali yagenda baddemu kaweefube w’okununula eggwanga nga bayita mu nteekateeka gye baalina edda.

Mabikke eyali avudde mu DP yagambye nti kyenyamiza kubanga bw’ogoberera bulungi ebikolebwa mu ggwanga, olaba ng’eryatundibwa edda.

Pulezidenti wa DP Nobert Mao yategeezezza nti enteekateeka eno egenderera kununula ggwanga lyonna era tegenda kuba ya DP oba UYD byokka wabula egenda kuzingiramu bannabyabufuzi bonna abalumirira enkyukakyuka.

Ate Mathias Mpuuga yagambye nti bazze bakola enteekateeka ez’enjawulo ezisobodde okunafuya pulezidenti Museveni era kati bamulaba yenna ayenjebuse.

“Kino kye tutandiseewo tekigenda kumuleka waggulu kubanga kigenda kugatta ebibiina byonna ebyobufuzi. Twagala buli alumirirwa enkyukakyuka atwegatteko ku lunaku lw’okukitongoza nga May 02, omwaka guno.

Ye Samuel Mukaaku yagambye nti baakukuba enkung'aana, batambule mu matendekero bategeke abavubuka n’okumanya enteekateeka bw’egenda okufaanana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano