TOP
  • Home
  • Masaka
  • Gavt' egabidde ab'e Kalungu embizzi beekulaakulanye

Gavt' egabidde ab'e Kalungu embizzi beekulaakulanye

By Ssennabulya Baagalayina

Added 16th April 2018

GAVUMENTI etandise okugabira abatuuze embizzi ezoolulyo mu ggwanga lyonna eri abatakontagana nazo zongere ku nnyingiza y'amaka gaabwe.

Mbizzi1 703x422

Bannakalungu nga bagabana embizzi ezoolulyo ezaatandise okubaweebwa ng'entandikwa y'okubakulaakulanya: Ekif. SSENNABULYA BAAGALAYINA

Wano w'esinzidde okubaguliza abantu ng'ewa abazeetaaga amagezi nti bazitegekera we bannaazirundira n'ebigendererwa by'okuzifunani.

Kaweefube ono alangiriddwa Minisita w'ebyobulimi, n'obulunzi, Vincent Bamulangaki Ssempijja n'agamba nti embizzi zino ziyisiddwa mu kitongole kya NAADS.

Ng'abatuuze b'omu Kalungu bakwasibwa embizzi ezisoose mu puloguloomu eno,  baakalaatiddwa obutazirunda nga bazeesigamizza mu ndowooza z'ebyobufuzi.

 zimu ku mbizzi ezaaweereddwa annakalungu Ezimu ku mbizzi ezaaweereddwa Bannakalungu

Obubaka bwa minisita bwabatuusiddwako musawo Emmanuel Moses Kalyango Byansi ow'ekirungo kya Big Pig n'abategeeza nti Kalungu yenna aweereddwa embizzi 300 ng'abazifunye zaabwe bwoya awatali mbizzi gye bakomyawo.

"Embizzi tubawadde ezisuliridde okuwaka nga mu bbanga ttono mugenda kutandikirawo okugobolola n'olwekyo buno bugagga temubuzanyisa," bwe baategeezeddwa.

Baasabiddwa okwessamulira ddala ebyobufuzi mu nkulaakulana kuba kizing'amya ebiruubirirwa bya Gavumenti eby'okubaggya mu bwavu ng'ebibaweebwa babiragajjalira.

  zimu ku mbizzi ezaaweereddwa annakalungu Ezimu ku mbizzi ezaaweereddwa Bannakalungu

 

Akulira ebyebisolo mu Kalungu, Dr. Henry Ssimbwa yabawadde omusomo gw'ennunda y'embizzi enaabasobozesa okuzikolamu amagoba, n'abalabula obutaziwa mmere ezikonya wazira beekwate abakugu okubalambika mu ntabula entuufu.

Abalunzi b'embizzi baabaguliziddwako nti akatale k'embizzi kali waggulu nnyo nga ne  Gavumenti ento ze yetaaga okugula za kkekwa.

"Mwekoleremu ebibiina by'obulunzi era gye munaakomya okuzaaza ennyingi nga ziri ku mutindo omutuufu gye mujja okukomya amagoba amangi ng'obwavu mubufuuye mu ng'ombe", bwe babuuliriddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20180926at113101 220x290

Poliisi e Masaka ekkirizza okuwa...

Poliisi e Masaka ekkirizza okuwa obukuumi bannakibiina kya DP abagenda okukuba olukung'aana gaggadde e Masaka ku...

Mknmin1 220x290

Minisita Nakiwala ayingidde mu...

Omuwala Julian Ainambabazi (30) eyali akola mu bbaala emu e Mukono n’aganzibwa omubaka wa palamenti owa Samia Bugwe...

Chelseacahill 220x290

Cahill akooye bbenci

Aston Villa, y'emu ku ttiimu ezaagala okugula Cahill kyokka eno ya Championship nga ye ayagala kuzannyira mu Premier....

Loodi 220x290

Bano babeera wa nga Lukwago bamusika...

LOODIMEEYA Erias Lukwago y’omu ku bannabyabufuzi abazze bafuna okusoomoozebwa n’okutulugunyizibwa abaserikale....

United 220x290

Ebizibu bye ndabidde mu laavu mbikubye...

NZE Justine Nalweyiso 24, mbeera Kyebando Nsooba ndi muyimbi nga nnaakayimba ennyimba okuli Bbebi Ndunya, Ndaba...