TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Emivuyo egyetobese ku yunivasite e Makerere: Akulira ebyensimbi alekulidde

Emivuyo egyetobese ku yunivasite e Makerere: Akulira ebyensimbi alekulidde

By Benjamin Ssebaggala

Added 22nd April 2018

ENSONGA za yunivasite y’e Makerere zongedde okulanda, akulira ebyensimbi Augustin Tamale awaddeyo ebbaluwa etegeeza bakama be nti mu bbanga lya myezi ebiri ajja kubeera ng’alekulira ekifo ekyo.

Waga 703x422

Ekifaananyi Njoroge kye yeekuba ng’ali n’omukozi wa yunivasite mu kikolwa ky’omukwano mu ofiisi.

Tamale yetegeezezza Bukedde ku ssimu nti kituufu yataddeyo ebbaluwa ng’asaba okulekulira ku nkomerero ya June wabula yagaanyi okunnyonnyola ebisingawo n’ategeeza nti akikoze lwa nsonga ze ng’omuntu.

Okusinziira ku lipooti eyakolebwa akakiiko akaateekebwawo Pulezidenti Museveni okunoonyereza ku Makerere akaakulirwa omugenzi Dr. Abel Rwendeire, yakinokolayo nti, olukalala kwe basasulira abakozi kuliko emisaala egifuluma nga giri mu mannya g’abakozi abaawummula.

Emivuyo ng’egyo ofiisi ya Tamale ebeera ng’evunaanyizibwa butereevu kubanga ebeera erina okunnyonnyola engeri gye zaasasulwamu.

Ab’e Makerere bwe baabadde mu Palamenti gye buvuddeko, Tamale baamubuuzizza annyonnyole engeri gya basasanyaamu ssente eziva mu kkoosi ez’ekiseera ekimpi obuwumbi buna n’obukadde 400 n’ayanukula nti zaagenda ku bizibu ebitaalengererwawo.

Lipooti y’akakiiko kano yakiraga nti, waliwo abakozi abaaweebwa emirimu ku musingi gw’ebyobufuzi nga tebakwatibwako ne bwe babeera ng’ebifo mwe bali tebalina busobozi bukiddukanya.

Yalaga nti ensobi nnyingi ezikolebwa mu ntambuza y’emirimu ng’abakulira ebitongole tebayinza kukangavvula abo abazikoze kubanga balina abaabaleeta.

OKUKABASANYA ABAYIZI

Ng’ovudde ku bya Tamale okulekulira, wiiki eno yunivasite yayimirizza omukozi mu ofiisi y’avunaanyizibwa okuwandiisa abayizi lwa kukabasanya muyizi Rachael Njoroge Njeri.

Ebbaluwa eyavudde mu ofiisi y’omumyuka wa Cansala wa Makerere ng’eriko omukono gwa Polof. William Bazeyo, yayimirizza Edward Kisuze (Senior Administrative Assistant) eyalabise mu kifaananyi ng’ali n’omuwala ono.

Kalunsambulira yavudde ku muyizi ono okwekubira enduulu mu bakulu n’oluvannyuma ekifaananyi n’akiteeka ku mikutu egy’enjawulo nga Kisuze ali mu magulu g’omuwala ono. Bino we bijjidde ng’omumyuka wa Cansala Polof. Barnabus Nawangwe yakateekawo akakiiko okunoonyereza ku bikolwa bino.

Ebbaluwa yalaze nti Kisuze yayimiriziddwa mbagirawo n’omusaala alina kufuna gwa kitundu okutuusa ng’okunoonyereza kuwedde ne bawa ekiddako.

Wiiki eno abayizi b’e Makerere baagitandikidde mu kwekalakaasa olw’ensonga ez’enjawulo. Ku Lwokusatu baasisinkanye abakulira Makerere ne bayimiriza ssente ze baabadde bongezza ku bisale by’abayizi.

Newankubadde okwongeza ebisale kyayimiriziddwa, wabula emmere gye babadde bawa abayizi nga buli muyizi bamumalirako 4,000/- buli lunaku zaalinnya kati buli muyizi bamuwa 4,500/- z’alya buli lunaku.

Ensonga eyo eri mu Palamenti balinda ky’enaasalawo bamanye ekiddako kubanga yunivasite yali evuddeyo n’ekiteeso, buli muyizi bamuwe ssente ze mu mpeke ayiiye okufuna emmere.

MAKERERE YATANGAAZIZZA

Ezimu ku nsonga ezizze zigulumbya abayizi n’abakulira Makerere kuliko okuwera okusomesa abayizi akawungeezi. Wabula mu kiwandiiko omwogezi wa Makerere Ritah Namisango kye yafulumizza ku ntandikwa ya wiiki, yategeezezza nti, tebannaba kuwera kusomesa bayizi lwaggulo era nga mu lusoma lwa 2018/2019 baalanze abaagala basabe okuweebwa ebifo.

Omumyuka wa Cansala Polof. Banarbus Nawangwe gye buvuddeko yategeezezza nti, kati eby’okusomesa abayizi olweggulo ensonga bazirekedde ‘college’ ez’enjawulo.

Ewulira nga esobola y’ebeera esigaza eky’okusomesa abayizi akawungeezi oba si ekyo, okutandika n’omwaka gw’ebyensoma 2018/2019 abayizi baakusoma okuva ku makya okutuuka saawa 8:00 olwo abaddako bayingire ku 8:00 bafulume ku 12:00 olweggulo yunivasite eggalewo.

Wiiki ewedde, abayizi battukizza okubanja okunnyonnyolwa ku nsonga ze zimu n’ebirala bye baayongeddeko nga bagamba nti baludde nga basaba okusisinkana abakulira yunivasite naye nga bababuzaabuza.

ABAYIZI BYE BASABA KULIKO:

1 Salim Papa Were akulira abayizi yafulumizza eddoboozi ng’agamba nti abakulira Makerere, bayisizza ebintu bingi kyokka bwe basaba okunnyonnyolwa tebakufuna.

2 Baagala emmere bagizzeewo ate sikubawa buwi mmere kyokka emmere eri ku mutindo ogutegeerekeka.

3 IFMS enkola eyateekebwawo buli muyizi abeere ng’afuna ensako ye okuyita ku ssimu ye. Bagamba nti bangi tebannaba kutegeera nkola eno esaana eyimirizibwe bunnambiro.

4 Abayizi bangi abaweererwa Gavumenti tebannaba kuweebwa nsako yaabwe kyokka olusoma lutambudde. Baagala Nawangwe abannyonnyole ekigenda mu maaso.

5 Baagala okufuna okunnyonnyolwa okusembayo oba ddala abatwala yunivasite baakugenda mu maaso n’okuggyawo okusomesa olweggulo kubanga babiraba ku mikutu gy’amawulire nti baakiyimiriza so nga mu kukireeta baafulumya ekiwandiiko era tewannaba kubeerawo kiwandiiko kikimenyawo.

6 Baagala yintaneeti ey’obwereere okwetoloola yunivasite yonna.

7 Ebisulo by’abayizi bisigale mu mikono gya Makerere baleme kubikwasa bantu kubisolozaamu nsimbi.

Ate biri mu mbeera mbi bisaana okuddaabiriza mu bwangu.

8 Okubulankanya obubonero bw’abayizi kikyagenda mu maaso newankubadde nga yunivasite yateekawo ekifo we bagololera kimu. Omukutu kwe baamanyiranga obubonero bwabwe ku yintaneeti tegubeerako buli kiseera. 

9 Eddwaaliro lya yunivasity liri mu mbeera mbi newankubadde baaliddaabirizaako naye beetaaga libeeremu eddagala n’ebikozesebwa.

10 Polof. Nawangwe okuweereza obubaka obutiisatiisa abayizi ng’akozesa emikutu gya yintanenti baagala kikome. MAKERERE

EYANUKUDDE

Ekiwandiiko Namisango kye yafulumizza yategeezezza nti Polof. Nawangwe yayanukudde olukiiko lw’abayizi mu buwandiike n’abasaba bye basaba babiteeke mu buwandiike. Kyokka wiiki we yatandikidde ng’ali Nairobi mu lukuhhaana lw’abakulira yunivasite ez’enjawulo. Yabategeezezza nti okusinziira ku byonna ebibaddewo, bategeke abasisinkane ku Lwokusatu ng’akomyewo. Okwemulugunya ku ky’okubasanya abayzi yabategeezezza nti yunivasite yateekawo akakiiko akanoonyereza ku nsonga ezo basaana bakettanire batuuseeyo okwemulugunya n’ebirowoozo byabwe. Okuggyawo okuwa abayizi emmere yasabye babeere bagumiikiriza kubanga ensonga ziri mu Palamenti balindirira ekinaavaayo. Ku ntandikwa y’olusoma luno, abasomesa baali batandise okwekalakaasa nga babanja ssente ez’okusomesa olweggulo. Okusinziira ku Allan Ocheng, baasalawo nti abasomesa olweggulo n’emirimu gyonna gye bakola egisukka ku gye balina okukola girina okusasulwa mu bwenkanya awatali kulwa.

ENGERI GYE BAGABULAMU ABAYIZI

Martins Kato owamawulire ku lukiiko lw’abayizi, yategeezezza nti ebisulo eby’enjawulo bigabula abayizi emmere okusinziira bwe babeera bategese:

UNIVERSITY HALL NE MITCHELL

Ku Mmande bagabula; kawunga, muceere n’ebijanjaalo, Olwokubiri; Muceere, kawunga n’enkoko, Olwokusatu; muceere, kawunga n’ebijanjaalo, Olwokuna baddamu muceere, kawunga n’ebijanjaalo, Olwokutaano muceere, kawunga n’ennyama, Olwomukaaga; katogi ka muwogo ate ku Ssande kawunga muceere n’ennyama.

NSIBIRWA NE NKURUMAH:

Mmande; muceere, kawunga n’ebijanjaalo, Olwokubiri; muceere, kawunga n’enkoko, Olwokusatu; muceere, lumonde n’ebijanjaalo, Olwokuna; muceere, kawunga n’ebijanjaalo, Olwokutaano; muceere, kawunga n’ennyama, Olwomukaaga katogo ka muwogo ne Ssande balya kawunga, muceere n’ennyama.

Kato agamba nti eyo si ye nteekateeka ennambulukufu abayizi gye bandibadde, bagoberera kyokka beesanga balidde bwe batyo nga tebituukana n’ebibasuubizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte