TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omwana yeesiize kazambi kitaawe n’amuggunda ku kisenge!

Omwana yeesiize kazambi kitaawe n’amuggunda ku kisenge!

By SHAMIM NABUNNYA

Added 22nd April 2018

TAATA avudde mu mbeera n’akwata omwana we n’amukuba ku kisenge ng’amulaga kwesiiga kazambi.

Taata 703x422

Lule ng’ali ne mutabani we Lusiba gwe yakubye ku kisenge n’azimba.

Brian Lule 26, ow’e Ndejje - Lufuka ng’akola gwa kwoza ngoye y’akuumibwa ku poliisi y’e Katwe oluvannyuma lw’okukuba mutabani we, Keagan Lusiba ow’emyaka ebiri, eyeesiize kazambi mu ngoye ze yabadde ayambadde ekyamuggye mu mbeera.

Yakutte omwana n’amukuba ku kisenge n’azimba omutwe amaaso ne gabuliramu.

Lusiba yataasiddwa abatuuze abaabadde bayitawo abaamuwulidde ng’akaaba nnyo ne bajja balabe ogubadde.

Baakoonye omuzigo Lule mwe yabadde akwese omwana kyokka okutunula ku mwana nga yenna azimbye ng’aliko ebisago by’emiggo ku mubiri.

Kino kyabaggye mu mbeera nga baagala Lule ababuulire lwaki akuba omwana omuto obubi bw’atyo nga mu kiseera kino tasobola kulaba bulungi wadde okulya.

Kigambibwa nti maama wa Lusiba yasuulawo dda amaka ge oluvannyuma lwa bba okumukubanga buli lukya n’anoba n’alekawo omwana we kyokka nga Lule abadde akuba omwana ono era yasangiddwaako ebisago eby’amaanyi ku mubiri gwonna.

Lule akuumibwa ku poliisi y’e Katwe gye yagguddwaako omusango gw’okutulugunya omwana ku fayiro SD:58/19/04/2018 ate Lusiba yatwaliddwa mu ddwaaliro e Kiruddu okujjanjabibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...