TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Poliisi eyimbudde basatu ku by’okufa kwa Susan Magara

Poliisi eyimbudde basatu ku by’okufa kwa Susan Magara

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2018

POLIISI eyimbudde abantu basatu kw’abo abasoba mu 20 abaakwatibwa ku by’okutta omuwala Susan Magara.

Susanmagara1703422 703x422

Susan Magara

Susan Magara 28, yawambibwa nga February 7, 2018 ne bamubuzaawo okumala ennaku 20 okutuusa lwe baamutta omulambo gwe ne bagusuula e Kitiko okumpi n’e Kigo nga February 27, 2018.

Abantu abasoba mu 20 be baakwatibwa ku bigambibwa nti balina kye bamanyi ku kuwambibwa n’okutemulwa kwa Susan Magara nga kuliko Ronald Asiimwe amanyiddwa nga Kanyankole, Bob Kibirango, Patrick Agaba gwe baakwatira e South Afrika n’abalala okuli n’abooluganda lwa Agaba be baakwatira mu Kampala.

Wabula ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, Poliisi yayimbudde abantu basatu; Daniel Muhanuzi, Wycliffe Musinguzi ne Abdullah Sengooba nga bano baakwatibwa olw’akakwate ke baalina ku Patrick Agaba.

Munnamateeka Evans Ochieng, yategeezezza Bukedde nti Poliisi yasoose kuyimbula Muhanuzi ne Musinguzi nga bano baaluganda lwa Agaba n’agamba nti waayiseewo olunaku lumu ne Sengoba n’ayimbulwa.

Sengooba y’omu ku bassibwa mu bujulizi Poliisi bwe yatwala e South Afrika okusaba kkooti okukkiriza Agaba azzibwe mu Uganda avunaanibwe okwenyingira mu by’okuwamba Magara.

Okusinziira ku bujulizi obuwandiike obwatwalibwa e South Afrika nga bwaweebwayo ofi isi wa Poliisi, Johnson Dale Olal, kigambibwa nti Sengooba y’omu ku baali mu kifo omulambo gwa Magara we gwasuulibwa.

Wabula ensonda mu poliisi zaategeezeza nti okunoonyereza kwazudde nga Sengooba talina kakwate konna ku bya kutta Magara kwe kuyimbulwa.

Baganda ba Agaba, Muhanuzi ne Musinguzi nabo baayimbuddwa bwe kyazuuliddwa nti tebalina kakwate kabayunga butereevu ku kuwamba n’okutta Magara Mu bujulizi obwatwalibwa e South Afrika, Olal yalaga nti eddoboozi ery’omuntu eyapeeka aba famire ya Magara ssente ly’eddoboozi lya Agaba nga kino kyesigamizibwa ku bujulizi obwaweebwayo boofi isa ba poliisi, Humphrey Benjamin Kayimba ne Boaz Katuzeyo abaalumiriza nti bamanyi Agaba era y’ali mu katambi.

Kyokka looya Ochieng yagambye nti baawandiikidde poliisi nga baagala Kayiwa ne Katuzeyo balage obukakafu ku kye bayita nti bamanyi eddoboozi lya Agaba n’agamba nti baasabye kkooti y’e South Afrika okufuna abakugu ne Ssaayansi w’amaloboozi okwekenneenya akatambi n’eddoboozi lya Agaba okuzuula ekituufu so ssi kugendera ku kalebule wa Kayiwa ne Katuzeyo.

Ochieng era yalaze tikiti y’ennyonyi Agaba kwe yatambulira nga February 17, 2018 okugenda e South Afrika n’awakanya ebigambibwa nti Agaba yava mu Uganda nga February 25 oluvannyuma lw’okufuna ssente okuva mu famire ya Magara.

Mu kiseera kino, looya wa Agaba mu South Afrika, Setati Kagisho akola ku byakusaba kkooti emukkirize okweyimirirwa kuba Gavumenti ya Uganda yaggyamu enta mu by’okusaba kkooti okumuwaayo olw’obujulizi bwayo obw’omunguba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...