TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Kkooti eyimirizza okutunda eby'obugagga bya SHUMUK ku nnyondo

Kkooti eyimirizza okutunda eby'obugagga bya SHUMUK ku nnyondo

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2018

KKOOTI eyimirizza okutunda eby'obugagga bya kkampuni za Shumuk ebibadde birina okutundibwa ku Mmande nga April 23 ku ssaawa 5.

Bus01pix 703x422

Mukesh Shukla (ku kkono), nnannyini Shumuk ng'aliko by'ayogeraganya ne looya gye buvuddeko ku kkooti e Makindye. EKIF: DAILY MONITOR

Bya ANNET NALUGWA

Kino kiddiridde kkampuni zino okudduka kipayoppayo mu kkooti nga zagala eyimirize bbanka ya dfcu okutunda ebintu byabwe eby’enjawulo ku nnyondo.

Ebintu byabwe bibadde birina kutundibwa leero ku Mmande ku ssaawa 5 ez’oku makya kyokka omumyuka w'omuwandiisi wa kkooti Enkulu etawulula enkaayana z'ebyobusuubuzi mu Kampala, Festo Nsenga n'ayimiriza okutunda.

Ekiragiro kino kya nnaku 30 zokka kyokka bo aba Shumuk bagamba nti obuwumbi 10 baabusasula dda.

Ebintu ebibadde birina okutundibwa kuliko LRV 3045 folio 3 poloti M 551 e Bbanda, FRV 907 folio 2 poloti M552 Bbanda , LRV 2948 folio 1 poloti M567 Bbanda, LRV 3506 folio 5 poloti 9 ku luguudo lwa Mukaabya ne LRV 3560 folio 2 poloti 148-152 e Ntinda.

Kino kiddiridde okulanga ebintu bino mu mawulire nti bya kutundibwa ku nnyondo nga bbanka ya dfcu bagamba nti babanja obuwumbi 10 era ebintu ebyo bibadde bya kutundibwa leero ku Mmande.

Wabula aba Shumuk bagamba nti eyali Crane bank yatunda eky'obugagga kyabwe ekiri ku FRV 355 folio 21 poloti 21-27 ekisangibwa ku Buganda road nga kibalirirwamu obukadde 3 obwa ddoola ne bakiguza Farida Nabirongo.

Crane bank ne beesasula obuwumbi 10 obubanjibwa era nga November 10, 2016 maneja avunaanyizibwa ku nsonga eno n'abawa lipoota eraga nti bamazeeyo ebbanja eryo kyokka kyabeewunyisizza okulaba nga balanze mu mawulire nti ebintu byabwe bitundibwa ku nnyondo.

Looya wa dfcu Bank, Ernest Kalibbala yategeezezza kkooti nti tewali bujulizi bulaga nti Shumuk yatunda ne basasula ssente zino.

Bwe baba baagala okuyimiriza okutunda basasuleko waakiri bitundu 30 ku buli 100 ku ssente ezibabanjibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...