TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Taata agaanye okuwasa omukazi abaana gwe baamufunidde: Nabo bamugobezza omugole gwe yawasizza

Taata agaanye okuwasa omukazi abaana gwe baamufunidde: Nabo bamugobezza omugole gwe yawasizza

By Saul Wokulira

Added 23rd April 2018

TAATA agaanyi okuwasa omukazi abaana gwe baamufunidde, nabo bagobye omugole gwe yawasizza, bamuvunaana n'okutunda ekibanja ky'obusika.

Olukiikongalutuddemumaasogenjuabaanamwebaagobyekitaabwe 703x422

Olukiiko nga lutudde mu maaso g'enju abaana mwe baagobye kitaabwe, George William Mulyanti (mu katono)

Bano era bagobye omukazi kitaabwe gwe yawasizza ennyumba ne bagiggala nga bagamba nti baamufunira omukazi omu ku Bamaama baabwe abato kyokka n'agaana okumuwasa ye n'asalawo kunoonya mulala gwe yawasa.

Abaana era baloopye mu b'obuyinza nga bamuvunaana okusala ku kibanja n'akitunda nga tabeebuuzizzaako n’ekigendererwa eky’okugulira omugole we ekibanja gy’agenda okumusengulira.

Mulyanti George William omutuuze ku kyalo Wanyanga mu Kayunga town council abaana be yeezaalira gwe baagobezza omugole olw'okulekawo oyo gwe baamufunira ate n'awasa omulala.

Mulyanti gye buvuddeko yafiirwa mukazi we era abaana ne bateesa ne Bakojjaabwe nti kitaabwe  bamufunireyo omu ku bato b'omugenzi okuva e Busoga ekintu Mulyanti kye yagaana ye ne yeefunira omukazi omulala gwe yawasa era nga kino kyanyiiza abaana.

Abaana; Robert Sserubidde ne Ssekangu Richard be baaloopye mu ofiisi ya RDC era ono ensonga n'azikwasa Collins Kafeero avunaanyizibwa ku kukuuma n'okutumbula eddembe ly'obuntu nga baagala kitaabwe azzeeyo ssente ew'omuntu gwe yaguza ekibanja.

Mulyanti agamba nti abaana bwe baamugobya omukazi yasalawo okutunda ku kibanja kye yasikira n'agula ekirala gye yazza omugole era ennyumba yagireka abaana ne bagyefunza.

Mu lukiiko olwetabiddwamu abatuuze, Kafeero yagambye nti abaana ekibaluma kye ky'okuba nti kitaabwe talina kyabugagga kya mu ntuuyo ze ky'akoledde n'okutegekera abaana kyokka bye yasikira ate by'atandise okutunda.

Kafeero ayimirizza Mulyanti obutaddamu kutunda kibanja kya bazzukulu era anoonye ssente aziddize gwe yaguza ekibanja olw'ensonga nti ekibanja kye yatunda kya bazzukulu ssi kikye.

N'abaana yabasabye okuwa kitaabwe ekitiibwe kubanga ssi be bateekeddwa okumusiimira omukazi ow'okuwasa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana