TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Walukagga yeekyusizza ku by’okumukebera omusaayi

Walukagga yeekyusizza ku by’okumukebera omusaayi

By Musasi wa Bukedde

Added 24th April 2018

OMUYIMBI Mathias Walukagga yeekyusizza; agaanyi eby’okumukebera omusaayi n’omwana gwe bamulumiriza okuzaala mu hawusigaalo!

Kit1703422 703x422

Namugerwa ne Walukagga

Wiiki ewedde Walukagga yagambye nti mwetegefu okugenda babakebere endaga butonde (DNA) nti era alindiridde lunaku lwe bagenda, ssaayansi asalewo eggoye.

Yagamba nti eky’okukebera omusaayi akyagala kubanga kigenda kwanika obulimba bw’eyali hawusigaalo we Aisha Namugerwa.

Namugerwa agamba nti yali akola obwayaaya ewa Walukagga e Maya mu 2015, nga mukyala wa Walukagga ayitibwa Mariam taliiwo nti era gwe mukisa Walukagga gwe yakozesa okukkakkana nti ng’afunyisizza Namugerwa olubuto.

Mariam bwe yakomawo mu maka, ga Walukagga kwe kugamba Namugerwa adde e Kasambya mu Mubende kubanga tebajja kukwatagana ne Mariam era n’asuubiza okubaweereza obuyambi mu kyalo.

Wadde Walukagga yabadde akkirizza eby’okukeberwa omusaayi, abakungu mu Minisitule y’abaana n’abavubuka nga bakolera ku biragiro bya Minisita Nakiwala Kiyingi baabadde baawandiikidde dda kkooti nga baagala ebawe ekiragiro ekiggya omusaayi ku Walukagga.

Eggulo Walukagga yeekyusizza n’ategeeza Bukedde nti oluvannyuma lw’okwetegereza ebigenda mu maaso tasuubira mazima mu bigenda kuva mu musaayi, kwe kusalawo abiveemu.

“Ebigenda mu maaso kalinga kalulu ng’omutegesi y’alondesa n’okulangirira omuwanguzi era ng’omuwanguzi bamumanyi, kati mu mbeera ng’eno ddala ‘Kiggundu’ omusuubira kulangirira ki?” Walukagga bwe yabuuzizza.

Yayongeddeko nti, Olw’okuba nkizudde ng’ekizibu kya famire ya Ashia kya nsimbi, nzikkirizza ng’enda kulabirira omwana waabwe okufaananako n’abaana abalala be ndabirira abatali bange naye nga sigenze mw’ebyo eby’obulimba ebigendereddwaamu okwonoona erinnya lyange,” Walukagga bwe yagambye.

Bwe yabuuziddwa oba okusalawo bwati; tekiraga nti yalina enkolagana ey’enjawulo ne Namugerwa, awo n’ayanukula nti: “Ne Aisha akimanyi nti omwana si wange naye olw’okuba nze ng’omuntu nkimanyi Gavumenti tenjagala kubanga sigiwagira ate nga Gavumenti (minisita) y’ekirimu ngudde mu lukwe olupangiddwa okunsuula nga beerimbika mu nsonga z’omwana ono.

Leka ndabirire omwana wa Gavumenti mu maaso eyo bwe ndifuna ssente omwana ndimutwala ku musaayi e South Afrika oba mu Amerika era ndibabuulira ebituufu ebiriba bivuddemu naye sisobola kukkiriza kunkeberera wano nga Gavumenti y’ekirimu.”

Ku Ssande bwe yabadde ku Bukedde ttivvi ku pulogulaamu ya Aga wiiki, minisita Nakiwala yazzeemu okukikkaatiriza nti mu kulondoola ensonga eno bagenda kukebera Walukagga n’omwana gw’agamba nti tamuzaala era abantu abalala aboogerwako okuli; Twaha Mawanda omuzinyi mu kibiina kya Walukagga baakubalowoozaako luvannyuma kubanga maama w’omwana ayogera erinnya limu – Walukagga!

Omwana ono mulenzi wa mwaka gumu n’emyezi 10 era mu kiseera kino akuumibwa mu kifo ekimu e Naggulu ne maama we nga balindiridde okugenda ku musaayi.

Omuwala agamba nti bwe yali yakazaala yasooka kubuulira Walukagga nti azadde omwana era n’amuweereza ssente omwana amukube ekifaananyi.

Agamba nti kyamubuukako Walukagga bwe yamutegeeza nti bw’atunuulidde omwana akizudde nti si wuwe kubanga ye Walukagga tazaala baana ba mitwe minene nga ogw’omwana ono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...