TOP

Owa poliisi akubye mu bantu amasasi n'alumya 2

By Henry Nsubuga

Added 25th April 2018

Poliisi y’e Buvuma ekutte n’eggalira musajja waayo agambibwa okunywa omwenge n’atamiira n’akwata emmundu n’asasira mu bantu amasasi okukkakkana ng’alumizza babiri.

Mknlwaje4 703x422

Nakigudde mu ddwaliro e Mukono ng’afuna obujjanjabi.

Omwogezi wa poliisi atwala ettundutundu lya Ssezibwa, Hellen Butoto yagambye nti owa poliisi ye Joseph Owinyi abadde akola ogw’okunoonyereza ku misango ku poliisi y’e Lukale mu ggombolola y’e Lwaje mu disitulikiti y’e Buvuma.

Butoto yagambye nti Owinyi yagguddwako omusango gw’okugezaako okutta abantu nga guli ku fayiro nnamba SD04/24/04/2018. Mu kadde kano Owinyi akuumirwa ku poliisi y’e Buvuma.

Butoto abaalumiziddwa yagambye nti kuliko; Agnes Nakigudde (39) abadde atunda edduuka ku kizinga ky’e Lukale ne Ronald Bukenya (23) omuvubi. Yagambye nti ekikangabwa kino kyaguddewo ku ssaawa nga 9:00 ez’olweggulo ku Lwokubiri.

Abaalumiziddwa baateekeddwa mu maato ag’enjawulo ne batwalibwa mu malwaliro.

Nakigudde yatwaliddwa ku mwalo gw’e Ssenyi gye yaggyiddwa n’ateekebwa mu mmotoka n’emutwala mu ddwaliro lya Mukono Church of Uganda mu kibuga ky’e Mukono gy’ali mu kufunira obujjanjabi. Ye Bukenya yaddusiddwa mu ddwaliro lya Kawolo gy’ali mu kufunira obujjanjabi.

Abatuuze baategeezezza Bukedde nti oluvannyuma lwa Mubiru okuva mu buntu n’atandika okubasasiramu amasasi ng’atamidde baasobodde okumusooberera ne bamusinza amaanyi ne bamuggyako emmundu gye baakwasizza ssentebe w’omuluka Denis Mubiru.

Mubiru yagambye nti emmundu ne Nakigudde omu ku baakubiddwa amasasi yamutadde mu lyato n’amuddusa e Ssenyi okusobola okutaasa obulamu bwe kuba ku kizinga Lukale n’e Buvuma yonna teri ddwaliro lisobola kujjanjaba mulwadde ali mu mbeera nga mwe yabadde.

Yo emmundu, Mubiru yagambye nti yagikwasizza akulira poliisi y’e Ssenyi. Kigambibwa nti we baatikkidde Nakigudde mu lyato ate Bukenya yabadde tannalabibwa nti naye akubiddwa nga y’ensonga lwaki ate ye baamuvuze bamwolekeza Kasolo mu Buikwe.

Nakigudde eyasangiddwa mu ddwaliro ng’ali mu bulumi yagambye nti Owinyi yamulumbye ku dduuka n’akookinga emmundu n’atandika okumwolekeza amasasi wadde nga yabadde talina ky’amukoze era nga tamulinaako mpalana yonna.

“Yankubye amasasi 3 era nnina obulumi bwamaanyi nnyo. Wadde abasawo bankozeeko kko naye mbulira bubi nnyo,” Nakigudde bwe yategeezezza.

Yagambye nti Owinyi abadde atera okunywa omwenge n’atamiira n’akuba amasasi mu bbanga naye ng’eby’embi kwe kuba ng’olwaleero ate yagoolekezza mu bantu.

Resty Namukisa yagambye nti yabadde mu nnyumba kwe kuwulira amasasi nga gavuga n’abantu nga bawoggana nnyo yagenze okutuuka ku mwalo ewaabadde oluyogaano nga Nakigudde ali mu kitaba kya musaayi.

Twamuyoddeyodde ne tumuteeka mu lyato ne bavuga okutuuka e Ssenyi nga ng’akaaba nnyo obulumi n’omuliro ku mutima. Nneebaza Katonda nti tusobodde okutuuka mu ddwaliro abasawo ne bamukolako ng’akyali mulamu,” Namukasa bwe yannyonnyodde.

Omubaka w’e Buvuma mu Palamenti, Robert Migadde Ndugwa eyatuseeko mu ddwaliro ewajjanjabirwa Nakigudde ku Lwokubiri ekiro yavumiridde ekikolwa ky’aba poliisi okunywa omwenge ate ne babeera ne mmundu ne batuuka n’okukuba mu bantu amasasi.

Migadde yasabye omuduumizi wa poliisi, Martin Okoth Ochola okusunsula mu bapoliisi abo abalina empisa ensiwuufu nga Owinyi babagobe kuba bavumaganya ekifaananyi kya poliisi.

Yalaze okunyolwa okulaba ng’ebizinga 53 ebikola disitulikiti y’e Buvuma teriiyo wadde eryato ery’omulembe erikola nga ambyulensi okutaakiriza obulamu bw’abantu ababa bagudde ku buzibu nga bano.

“Kitwala ssente nnyingi okuggya omulwadde ku kizinga nga Lukale bano gye baavudde okutuuka ku lukalu bafune obujjanjabi. Emitwalo nga 50 bano zaaweddewo mu kufula amafuta, okupangisa eryato ne yingini, omuntu atalina ssente ezo olwo kitegeeza obulamu buba bukomye! Tusaba gavumenti ewulire omulanga gwaffe etudduukirire,” Migadde bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...