TOP

Famire ya Suzan Magara ereese bwino alumiriza ISO

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2018

EBIPYA bizuuse ku by’okuwamba n’okutemulwa kw’omuwala Suzan Magara ng’aba famire balumiriza nti olukwe lwalimu ab’ebyokwerinda mu poliisi n’ebitongole ebikessi ekya ISO ne CMI.

Magara703422 703x422

Omugenzi Susan Magara

Omukugu ku by’okunoonyereza eyapangisibwa famile ya Suzan Magara afulumizza lipoota esooka ng’eraga nti abaali mu lukwe okuviira ddala Suzan lwe yawambibwa nga February 7 okutuuka omulambo gwe lwe gwazuulibwa e Kitiko nga February 25, baali mu ISO, CMI ne poliisi n’alaga okutya nti famire ya Suzan ayolekedde obutafuna bwenkanya.

Lipoota eno yaweereddwaako omuduumizi wa poliisi Martin Okoth Ochola ng’aba famire bamulaga okutya nti, boolekedde obutafuna bwenkanya olw’engeri ey’okudibaga n’obugayaavu mu musango guno.

Wabula omwogezi wa poliisi mu ggwanga Emilian Kayima yagambye nti, baabadde tebannafuna kwemulugunya kwonna kuva mu famire ya Magara n'abasaba aba famife basooke babawe ebyo byonna bye beemulugunyaako kubanga mu kunoonyereza, famire eba erina okuyambagana ne poliisi okusobola okuzuula abatemu.

Abantu 46 be bagambibwa okuba nga be baakwatibwa mu bbanga ery’emyezi ebiri bukya Suzan Magara omulambo gwe guzuulibwa e Kitiko kyokka aba famire baagambye nti, kyewuunyisa okuva olwo tewali n’omu ku bakwate yali agguddwaako musango mu kkooti.

Lipoota yalumiriza nti waliwo omusajja ayitibwa Muhindo egambibwa nti ye yali ayogera ku Suzan ku ssimu mu kiseera we baamuwambira era y’omu ku baasooka ku mmotoka ya Suzan ng’ali n’abaserikale ba poliisi babiri okuva ku poliisi ya Jinja Road kyokka baataataaganya obujulizi wabula tewali kyabakolebwawo.

Yalaze nti DISO w’e Lubaga yagenda ku wooteeri eya SEB ku luguudo olw’e Ntebe n’asaba akatambi aka vidiyo ya wooteeri okuli ebiseera bya Suzan ebyasembayo ng’akola dduyiro, bonna n’abisangula kyokka n’okutuusa kati DISO oyo taggyibwangako sitatimenti.

Waliwo omujaasi eyitibwa Nyakairu ow’ekitongole ekya CMI eyayamba ku Muhindo okutaataaganya obujulizi mu musango kyokka naye taggyibwako sitatementi.

Dayirekita wa ISO Col. Frank Kaka Bagyenda bwe yatuukiriddwa yagambye nti famire bwe babeera bavuddeyo n'obujulizi obupya kirungi n’asuubiza nti ebitongole byokwerinda bigenda kubwekenneenya.

Yagambye nti bateekateeka okuddayo mu wooteeri ya SEB baddemu beetegereze obutambi kubanga omuntu ne bw’aba asiimudde ebifaananyi, CCTV zitereka emirundi ebiri (backup) n’ategeeza nti bajja kulaba buli kimu ekyakolebwa.

“Bwe wabaawo ebifaananyi ebyasiimuulwa, eyabisiimuula bajja kumukwata kubanga kiba kitegeeza nti yali mu lukwe”, Kaka bwe yagambye.

Yagambye nti, omusango gwa Magara tebaaguli nnyo mu mitambo olw'ensonga nti yatemulwa mu kiseera kumpi kye kimu Abazungu we baafiira amaanyi gaabwe ne bagamalira ku Bazungu ogwa Magara poliisi ne CMI ne bagukolako.

Yagasseeko nti, famire bw’eba evuddeyo n'obujulizi buno, kirungi era bagenda kuddayo mu wooteeri baddemu bekkaanye obutambi kubanga omuntu ne bw’aba asiimudde ebifaananyi, CCTV zigenda kubayamba n’ategeeza nti bajja kulaba buli kimu ekyakolebwa era bwe wabaawo ebifaanayi ebyasiimuulwa, eyabisiimuula bajja kumukwata.

Kaka yagasseeko oyo Muhindo ayogerwako ateekeddwa okulondoolwa kubanga kirabika amanyi bingi ku kuwambibwa n'okuttibwa kwa Magara n'alabula n'aba famire nti nabo tebeeyibaala kubanga kirabika waliwo ab'omunda abeenyigira mu kuwamba Magara.

Omwogezi w'amagye Brig. Richard Karemire bwe yatuukiriddwa ku ngeri omujaasi wa CMI gye bamulumiriza okwenyigira mu kuwamba kuno yagambye nti, famire byonna bye beemulugunyaako n'obukakafu bw’erina, ebukwate ebutwale ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo