TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Walukagga awadde minisita nsalessale okumuwa omwana n'assaawo obukwakkulizo

Walukagga awadde minisita nsalessale okumuwa omwana n'assaawo obukwakkulizo

By Martin Ndijjo

Added 26th April 2018

Walukagga yategeezezza nti, oluvannyuma lw’okukkiriza okulabira omwana era n’asaba bamumuwe n’okutuusa kati abamuvunaanyizibwako okuli ne minisita bakyamugaanidde. “Mubutuufu nneebuuza era nneewuunya ekigendererwa ky’abantu bano.

Wa2703422 703x422

Namugerwa n'omwana gw'alumiriza nti wa Walukagga

OMUYIMBI Mathias Walukagga awadde minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana n’abavubuka, Florence Nakiwala Kiyingi nsalessale wa Lwakutaano lwa wiiki eno okumuwa omwana gwe bamulumiriza okuzaala mu hawusigaalo nga bw’atakikola taddamu ku munyega ku nsonga zino.

Walukagga yategeezezza nti, oluvannyuma lw’okukkiriza okulabira omwana era n’asaba bamumuwe n’okutuusa kati abamuvunaanyizibwako okuli ne minisita bakyamugaanidde. “Mubutuufu nneebuuza era nneewuunya ekigendererwa ky’abantu bano.

Bulijjo be babadde bampeeka omwana ate kati mubasaba bamumpe mulabeko mutuume n’erinnya mu butongole ate bagaanyi n’essimu zange tebazikwata kati kino kitegeeza ki?,” Walukagga bwe yabuuzizza n’agattako nti bwe bagaana agenda kulangirira ekiddako.

Oluvannyuma Walukagga yategeezezza nga bw’agudde mu lukwe lw’abakola ku nsonga y’omwana okwagala okumutanza obukadde bw’ensimbi nga beekwasa ebbanga lye bamaze nga bamulabira, obujjanjabi bwe bamuwa n’ez’omusaayi ze bagenda okukozesa okumukebera nga singa bamusaba ssente ne zimulema bajja kumusiba mu kkomera e Luzira.

“Nze nnakkiriza bampe omwana mmulabirire wadde sikakasa nti wange, waliwo eyankubidde essimu n’anzibirako nti singa ensonga zino zigenda mu maaso n’okutuuka mukukebera omusaayi bagenda kuntanza ssente empitirivu eziri mu bukadde 300.

Zino bwe zinnema okusasula bantwale e Luzira ate nga mu butuufu sizirina kati nnange njagala bampe omwana mu bwangu ensonga zaabwe nziveemu mbikooye.” bwe yannyonnyodde.

Walukagga bwe yabuuziddwa oba bino byonna tabyogerwa kubuuzabuuza na kuggya bantu ku mulamwa ababadde baagala okuzuula kitaawe w’omwana omutuufu yazzemu nti, “gwe obiyita bya kusaaga naye abasajja bandi bubi nnina n’ebirala bingi bye sikugambye”.

Ku Lwokubiri Walukagga yayongedde okulya ebigambo bye, bwe yagaanyi okugenda okumukebeza omusaayi (DNA) n’akkiriza okulabirira omwana ow’omwaka ogumu n’emyezi 10.

Nakiwala yabadde mu lukiiko n'atasobola kwogera ku nsonga za Walukagga n’ekiragiro kye yamuwadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda