TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyeefuulidde muganzi we n’amuwamba n'asaba bazadde be obukadde 3 bamukutte

Eyeefuulidde muganzi we n’amuwamba n'asaba bazadde be obukadde 3 bamukutte

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2018

POLIISI ekutte omuvubuka eyeefuulidde muganzi we n’amuwamba n’oluvannyuma n’akubira bazadde be essimu n’abasaba ssente 3,000,000/- okumuyimbula.

Bafu 703x422

Julius Atwebembire ne Peace Asimirwe nga bali ku poliisi.

Julius Atwebembire 22, poliisi yamuggye mu kazigo gy’abadde apangisa ng’abeera n’omuwala Peace Asimirwe 19, gwe yasigula okuva e Mitooma, kyokka oluvannyuma n’atandika okukubira bazadde be amasimu agatasalako ng’abakanda ssente.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, Atwebembire yayita Asimirwe eyali asomera mu Institute of Professional Management e Bushenyi okujja e Kampala nga April 20, era bwe yatuuka ne babeera bonna ku kazigo e Kasubi nga gy’abadde asinziira okusaba bazadde be ssente.

“Tukizudde nti, waliwo abantu abagufudde omuze ogw’okwewamba n’ekigendererwa eky’okuggya ssente mu behhanda zaabwe.

Tukutte omuwala ne muganzi we, abaaluse olukwe lw’okuggya ssente ku bazadde nga beefuudde abatujju abaawambye muwala,”Owoyesigyire bwe yategeezezza.

Yagambye nti, nga April 22, 2018, Atwebembire yatandika okukubira bazadde ba Asimirwe essimu ng’abasaba ssente n’okubatiisa okumutuusaako obulabe ssinga tebazimuwa mu bwangu era ensonga ne bazitwala ku poliisi y’e Mitooma ng’omusango guli ku fayiro nnamba SD 07/22/04/2018.

Yategezezza nti olw’okutya taata wa Asimirwe Rev. Fred Muhwezi baanoonyezza 750,000/- n’azibasindikira nga baagenze okubakwatta nga baakozesezaako 500,000/- kwe baaguze omufaliso kwe beebaka n’essimu y’omu ngalo gye baabadde bakozesa okusaba ssente.

Yagambye nti oluvannyuma lw’okufuna ssimu kwe baasindise ssente abaserikale b’ekitongole kya Flying Squad baatandise okugirondoola ne bazuula ekitundu we baabadde.

N’agamba nti baabasanze mu kazigo e Kasubi mwe baabadde beebasse ne babakwata nga kati bakuumirwa ku poliisi ya CPS mu Kampala.

Yannyonnyodde nti mu kunoonyereza kwe baakoze baakizudde nga Atwebembire abadde yaggulawo omukutu gwa ‘Facebook’ mu linnya lya Hill Mark Jets Consultant kw’abadde alimbira abantu naddala abawala nti asobola okubafunira emirimu mu mawanga ageebweru nga Canada era nga kuno kwe yafunira Asimirwe mu 2015.

Atwebembire ne Asimirwe bwe baabuuziddwa ku byokwewamba baagambye nti babadde banoonya ssente basobole okugenda e Kenya basuubule bafune n’etandika y’okweyimirizaawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rema1 220x290

Sebunya bwe yansaba laavu saamudaaza...

REMA Namakula attottodde laavu ye ne Dr. Hamza n’atangaaza ku byaliwo mu kwanjula bwe yakyusa ssenga ku ssaawa...

Sak1 220x290

Gavumenti ekakasizza enkolagana...

Gavumenti ekakasizza enkolagana yaayo n'ekitongole kya SASAKAWA okutumbula eby'obulimi

Kig13 220x290

Robert Ssekweyama alangiriddwa...

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves

Ras13 220x290

Ekyabadde e Bugembe nga Bebe Cool...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February