TOP

Mwannyina w'eyali yaaya wa Walukagga amutabukidde ku by'omwana

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2018

FAMIRE ya Aisha Namugerwa eyali yaaya wa Walukagga ekalambidde n’etegeeza omuyimbi Mathias Walukagga nti kye beetaaga si kutuuma mwana linnya, wabula baagala kukebera musaayi bazuule kitaawe w’omwana omutuufu.

United1 703x422

Namugerwa ng’asitudde bbebi we.

Batiisizza n’okwanika bwiino wa Walukagga omulala atiisa gwe baludde nga basirikidde, ssinga anaayongera okukwata ensonga mu ngeri y’okubalaata.

Walukagga yategeezezza nti omwana wa Aisha Namugerwa eyali omukozi we yakkirizza okumutuuma erinnya ly’ekika n’okumulabirira, kyokka nga takkiriza nti ye kitaawe omutuufu.

Hakim Bisaso, mwannnyina wa Namugerwa yagambye nti tebayinza kukkiriza bigambo bya Walukagga eyeekyusa nga nawolovu buli kadde, kye banoonya mu kiseera kino ge mazima n’agamba nti;

“Yakkiriza omwana n’amutuuma n’erinnya ku ddiiru ki? ebbanga lyonna lwaki abadde amwegaana, amala kulaba kazito akamuteeredwako kwe kwogera. Kati agume amateeka galamule kubanga eky’okuteesa mu buntu yakigaana n’asalawo okutuyisaamu amaaso ng’atuyita bannakyalo.”

Bisaso obwedda ayogeza obumalirivu bwe yategeezezza n’asaba minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana n’abavubuka, Florence Nakiwala Kiyingi obutagendera ku bigambo bya Walukagga gwe yagambye nti asussizza okubajooga.

Yagasseeko nti ensonga enkulu si ya buyambi oba ssente nga Walukagga bw’alowooza era bw’ayogera. Kye baagala kwe kufuna obukakafu ku taata w’omwana era kino balina kukituukako nga bamaze kuva mu musaayi.

“Walukagga atuleke lwaki akkiriza okumuwa omwana atali wuwe amulabirire.

Bwe kizuulwa nti wuwe amulabirire, bw’ataba wuwe nga tumulabirira nga bwe tubadde tukola okuva lwe yazaalibwa,” Bisaso bwe yagambye.

Bisaso yagambye nti y’abadde alabirira Namugerwa okuva lwe yava e Walukagga gye yali akolera obwayaaya ng’amaze okufuna olubuto.

Yagambye nti naye muyimbi era nga yayimbirako mu kibiina kya Walukagga naye ensonga za mwannyina ze zaamuggyayo n’agamba nti; “Mu kiseera we nayimbira ewa Walukagga kye kiseera Namugerwa we yali amukolera awaka.

Bw’amufunyisa olubuto n’akimanya kyokka saakitwala ng’ensonga enkulu nga ndowooza nti olw’okuba Walukagga musajja wa buvunaanyizibwa era yeesobola ajja kulabirira muto wange, kyokka yanyiiza nnyo bwe yamugoba ng’olubuto luwezezza emyezi esatu.

Bwe namugambako ku nsonga eno ne musaba waakiri okuwa mwannyinaze emitwalo 10 buli mwezi, yannyanukula mu mbeera y’okubalaata nti, “ffe abaana tubaggyayo nga bakulu” ekintu ekyannuma ennyo era ne nsalawo okumuviira”.

Bisaso okwogera bino kiddiridde Walukagga okwekyusa n’ategeezza Bukedde nga bw’atagenda kugenda ku musaayi kye yali akkirizza mu kusooka ng’agamba nti agudde mu lukwe olukoleddwa okukimuteekako nti ye taata w’omwana n’okumutanza ssente empitirivu si nakindi okumusindika mu kkomera e Luzira bwe zimulema okusasula.

Walukagga yasabye bamuwe mutabani we gwe yafunidde erinnya lya Kabazzi amulabirire.

Ku Lwokubiri Walukagga yawadde abavunaanyizibwa ku nsonga z’omwana nsalessale wa Lwakutaano bwe batamuwa mwana nti tebaddamu kumunyega kyokka Bisaso mu kwanukula ku nsonga eno yagambye nti; “oyo Walukagga ali mu muzannyo.

Bw’aba ng’abiyita bya kusaaga oba ensonga akyazirabira mu mbeera eri wabadde atuyisizaamu amaaso kati no ebintu byongedde okukaluba ate omwana ne bwe kizuuka nti wuwe alina kusigala na maama we kubanga akyali muto.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe