TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow'emyaka 16 yeezinze ku Sipiika wa Kira: Amulanga kumusobyako n'amuzaalamu omwana

Ow'emyaka 16 yeezinze ku Sipiika wa Kira: Amulanga kumusobyako n'amuzaalamu omwana

By Lawrence Kitatta

Added 30th April 2018

OMUWALA ow’emyaka 16 alumirizza sipiika wa kkanso ya Munisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso okumukaka akaboozi n’amuzaalamu n’omwana ate n’amwegaana.

Doni 703x422

Shiphirin Adikini agamba nti, Sipiika wa Frank Ssenmukuye yamwekakaatikako okukakkana ng’amutisse olubuto kyokka n’amugaana n’okubaako gw’agamba nti, tayagala kubeera mu ntalo ayagala emirembe.

Bino we byaliwo mu 2016 Adikini nga yaaya mu maka agamu e Kirinnya - Bweyogerere Ssemukuye gye yamunzizza n’amusobyako.

Adikini bwe yakizuula nti yali afunye olubuto yamutegeeza n’amukwatira ssente 30,000/- n’amulagira adde ewaabwe era ne mukama we gwe yali akolera teyamusiibula.

Adikini ava Bugegege mu muluka gwa Namanda mu ggombolora y’e Bubaali mu disitulikiti y’e Butaleja.

Sipiika Ssemukuye ye kasala akiikirira omuluka gw’e Kirinnya mu Diviizoni ya Bweyogerere ku lukiiko lwa Munisipaali e Kira.

ADIKINI ALOJJA BYONNA:

Kitange yafa ndi wa mwezi gumu maama n’ankuza n’okunsomesa okutuuka mu P7. Maama yahhamba nga mmaze P7 nti ssente zaali ziweddewo.

Bafunira omuntu eyandeeta e Kampala nnoonye omulimu nfune ssente z’okweyongerayo mu siniya.

Nakolera emyezi esatu Ssemukuye n’ansobyako. Ssemukuye yansanga mu kiyigo nga nnaaba n’angwira oluvannyuma n’ahhamba nti bwe wabaawo ekitagenze bulungi mwetegefu okukikolako era kino sikibuulirako omuntu yenna.

Eno ye yali entandikwa y’okubonaabona kwange kuba oluvannyuma lw’emyezi ebiri nakizuula nti nali nfunye olubuto ne mmugamba n’anneekalizaamu wabula n’ampa ssente 30,000/- nninnye bbaasi nzire ewaffe. Kyokka okuva lwe natuuka mu kyalo namukubirako omulundi gumu era olwamugamba nti nze, Adikini n’agiggyako okuva olwo teyaddamu kukwata ssimu yange okutuusa lwe nazaala ku kiso kati omwana wa mwaka gumu.

Nakubira eyali mukama wange ku nsonga zino n’atwala omusago ku poliisi e Bweyogerere n’aggulawo omusango gw’okusobya ku muwala ku fayiro nnamba CRB 111/17.

Poliisi yakwata Ssemukuye ne bampita ne nkola sitatimenti. Fayiro yange yayongerwayo ku divizoni e Kira ne Ssemukuye ne bamutwalirako n’amala ennaku ttaano mu kaduukulu kyokka nalabira awo nga bamutadde abaserikale ne bahhamba nti ajja kumpa obuyambi.

Namukubira okumujjukiza obuyambo n’agamba nti, omulundi ogumu gwe yankozesa tekisoboka nti, nafuna olubuto.

Kaweefube wa Bukedde okwogerako ne Ssemukuye yagambye nti, alina by’amaliriza tumuwe ku budde.

EBIRI MU SITATIMENTI YA SIPIIKA

Mu sitetimenti Sipiika gye yakola ku poliisi agamba nti omuwala ono amumanyi kuba yali amulabyeko ku bbaala ya Sarah esangibwa mu Kito ekisangibwa e Kirinnya Bweyogerere.

Agamba nti eby’okumusobyako n’afuna n’olubuto ssi bituufu. Ssemukuye ayongerako nti yafunako essimu olunaku olumu okuva ewa Sarah (nnannyini bbaala era eyakozesanga Adikini mu maka ge) ng’amutegeeza nga bw’ayagala okumusisinkana n’abooluganda lw’omuwala Adikini n’amutegeeza nti, tekirina buzibu.

SIPIIKA BAMUGGYA MU KADUUKULU

Bakasala okuli omumyuka wa Meeya Godfrey Nsubuga, Mutebi Ronald, Godfrey Muwanga omuwanika wa Munisipaali y’e Kira ne Peter Maiso bano be baamuggya ku poliisi e Kira lwe baasooka okumukwata.

Baddamu ne bamukwata n’aggalirwa ku poliisi ya Jinja Road ku musango gwe gumu ku fayiro SD 33/26/02/2018 era ne baddamu ne bamuta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako