TOP

Eyagenda okukuba ekyeyo bamwokezza engalo

By Musasi wa Bukedde

Added 1st May 2018

ZUBEDA Nakitende 25, yakeera ng’abantu abalala n’asalawo okugenda okukuba ekyeyo mu e Jordan mu Buwalabu, wabula mu nnaku 37, zokka yali amaze okufuuka omulema ng’essaawa eino alaajanira bazirakisa bamuyambe bamusasulire 4,000,000/- basobole okumutemako engalo aweweere ku bulumi.

United1 703x422

“Mu 2013 bwe nnamaliriza ebigezo byange ebya S6, mu Light College Mukono nga wayise emyaka ena nga sirina ssente zeeyongera ku yunivasite, mukwano gwange n’annyunga ku musajja ayitibwa Ssekabira eyali yamuyamba okumutwalira mukyala we mu ggwanga lya Jordan wadde naye mu biseera bino yali akomyewo nga mulwadde naye nze saakifaako.

Okusooka okumulaba namusanga wabweru w’ekitebe ky’ensonga z’omunda we bafunira paasipooti era n’annyambako okugigoba mu bwangu n’ansabayo n’emitwalo 50.

Nga biwedde, yansuubiza okumpisa ku kisaawe e Ntebe wabula ennaku bwe zaggwaayo yeekyusa n’agamba nti twali baakuyita Kenya era saakifaako kubanga nali njagala kukola ku ssente.

Nga January 15, 2018, twalinnya takisi mu ppaaka enkadde nga tuli abawala babiri ne baatugamba nti tujja kumusanga Mbale era bwe twatuuka wano, endagiriro okugisomako yali egamba nti twalina kulinnya takisi endala okutuuka e Lwakaka okumpi n’ensalo y’e Kenya era twakikola.

Takisi we yatukomya owa takisi yennyini yatuwa ssente za boda okutuuka mu kiyumba mwe twatuukira era twasiibamu.

Mu kiyumba twasangamu abawala abalala mwenda era ekiro baatulagira ne tufuluma ne tutambula okutuuka ku mugga Lwakaka era twagusaabala ne tusanga omusajja eyatuyamba okutusomosa ensalo ya Uganda okutuuka e Kenya nga ffenna twambadde engoye nzirugavu.

Bwe twatuuka eyo mu maaso ne tufuna we tuwummulira ng’enjala ebula okututta.

Twalinnya takisi okutuuka lwe twatuuka ku kisaawe ne tulinnya ennyonyi eyatutuusa e Jordan buli omu ne bamukwasa gage.

Eno nagenda kukola bwayaaya nga nnina okufuna 810,000/- buli mwezi okumala emyezi mukaaga egisooka nga bwe nkola obulungi balyoke banninnyise okutuuka ku 910,000/-.

Bwe nnatandika okukola nakozesa maanyi kubanga maama Rebecca Nakisuyi omutuuze w’e Kyabalaza mu Kayunga yali abonyeebonye naffe abaana munaana nga talina buyambi oluvannyuma lwa taata Hussien Mulindwa okutusuulawo.

Natuuka e Jordan nga January19, 2018 ne bantwala mu maka Omupakistan omujaasi nga tabeerawo wabula ng’omukyala abeerawo n’abaana be bokka.

Bwe natuuka ng’okwoza n’okunaaba nga y’amala okumpa amazzi ge ηηenda okukozesa wabula ng’agayiwamu eddagala era mu nnaku nnya zokka gaali gamaze okumbutula okukkakkana ng’engalo ku mukono ogwa kkono zitandise okukala.

Bwe bantwala mu ddwaaliro e Jordan baηηamba nti zirina okusalibwako ekyantiisa mukama wange n’ampa ssente nkomewo e Uganda mu nnaku 37 zokka ze namalayo.

Bwe nakomawo nga February 26, 2018, enkeera bantwala mu ddwaaliro lya Case Hospital era abasawo baηηamba nti nalina okusalibwako engalo okusobola okutaakiriza omukono era ne bansaba obukadde buna.

Bagguddewo omusango ku poliisi y’ekitebe ky’ensonga z’omunda abanoonyereza ku by’okukukusa abantu ku fayiro nnamba SD/48/27/04/2018.

Omwogezi wa minisitule y’omunda, Jacob Siminyu yategeezezza nti si kituufu nti Ssekabira akolera waabwe kubanga buli muntu alina ofi isi ku kitebe kino ayambala yunifoomu yakiragala n’ebyeru era alina ofiisi.

Yalabudde abantu nti wadde bafubye okukwata abafere naye tebaggwaawo.

KW’OLABIRA OMUNTU AKUTWALA EBWERU NGA MUFERE:

Siminyu agamba nti omuntu bw’akugamba nti ogenda kuyita ku booda ya Kenya nti wabula osooka kukuumirwako mu kiyumba bwe kiti, manya owedde.

Ekirala tokkiriza kukugamba nti paasipooti yo gireete ojja kugisanga Kenya, n’ekirala bw’ogenda ebweru nga tolina ndagaano kiba kiwedde buli ekikutuukako tobeera na buyambi.

Yagambye nti abawala abalinga bano bangi mu Uganda era abasinga babasobyanako nga batuuse eyo gye babayisa okubatwala ku kyeyo.

ASABA BUYAMBI

Nsaba abazirakisa okuli Sofi a; Namutebi (Maama Fiina) omwana enzaalwa ey’oku kyalo e Kyabazaala okuntaasa bantemeeko engalo naye obulumi bunzita ng’ate nagumira ku ggwe ηηende nkole obwayaaya nsobole okuyamba abalala nga bw’okola.

Alina obuyambi nkubira ku ssimu nnamba 0772443261 oba 0754284636.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Nom8 220x290

Norman Musinga mukyala we amuwadde...

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Nom3 220x290

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse...

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards