TOP

Ebizuuse ku nsonga za sipiika okusobya ku muwala

By Musasi wa Bukedde

Added 1st May 2018

EBY’OMUWALA agambibwa okusobezebwako Sipiika w’e Kira n’amufunyisa oluboto biranze aba famire ye bwe bakizudde nti waliwo omusajja eyagenda ku poliisi n’akola sitatimenti nga yeeyita kitaawe.

Londa 703x422

Adikini n’omwana we. Ku ddyo ye Ssemukuye

EBY’OMUWALA agambibwa
okusobezebwako Sipiika w’e Kira
n’amufunyisa oluboto biranze
aba famire ye bwe bakizudde nti
waliwo omusajja eyagenda ku poliisi
n’akola sitatimenti nga yeeyita kitaawe.
Bagamba nti omusajja oyo
tebamumanyi kuba taata wa Adikini
yafa mu 2000 nga wa myezi ebiri
gyokka!.
Bano balumirizza Sipiika Ssemukuye
okupanga omusajja ono
ayogere ebigambo ebyo asobole
okweggyako omusango.
Moses Magona, mukulu
w’omuwala yategeezezza nti
kitaabwe yafa mu 2000 era Adikini
teyamulabako kuba yali muto ddala.
Ayongerako nti, “Semukuye
bwe yasobya ku mwannyinaze ate
ng’alaba talina bw’ali, yalowooza nti
asobola okukozesa ofi isi ye n’aziba
buli kimu n’atuuka n’okupanga
abeefuula bazadde b’omuwala”.
Mu kiwandiiko ekyazuuliddwa,
kiraga nti omusajja eyeeyita Were
Charles Musana Patrick 53, ow’e
Mpummudde mu Jinja yagenda yali
ku poliisi y’e Bweyogerere nga May
25 2017 n’alaga nti ye kitaawe wa
Adikini.
Era mu kiwandiiko kino alaga nti
muwala we yali abeera ne nnyina
mu disitulikiti y’e Butalejja gye yava
n’agenda e Bweyogerere okukola
obwayaaya.
Oluvannyuma yafuna amawulire
okuva eri mutabani we, Manuel nti,
Adikini yasobezebwako n’azaala era
nnannyini mwana n’ategeera oluvannyuma
nti ye Frank Ssemukuye.
“Nakimanya nti yakwatibwa
n’aggalirwa ku poliisi y’e Bweyogerere,
era nalagira mutabani wange
akwataganye ensonga ezo kuba
nnalina emirimu gye nkola.
Engeri muwala wange gye yazaala
ate nga ne kitaawe w’omwana w’ali,
sirina kye njagala okuggyako okutwala
obuvunaanyizibwa alabirire
omwana we. Bino mbikkiriza tewali
ankase era n’assaako omukono gwe
wansi”.
Wabula Magona bino abisambazze
n’agamba nti omusajja
oyo yali mu mupango kuba bbo
tebamumanyi. Agamba nti Ssemukuye
bwaba yeegaana nti teyasobya
ku mwana lwaki yekobaana
n’abaserikale ne bajingirira ekiwandiiko
ng’akkiriza obuvunaanyizibwa.
Godfrey Nsubuga yagambye nti
bwe yali yeeyimirira Ssemukuye
yamutegeeza nti yatuula ne bazadde
b’omuwala, ensonga ne bazimaliriza
wabula yeewuunyizza ate ensonga
okuziraba mu mawulire ky’agamba
nti akiraba nga ntalo za byabufuzi.
WABALUSEEWO OKUSIKA OMUGUWA E KIRA
Bukedde bwe yayogeddeko ne
Meeya w’e Kira ku ssimu, yagambye
nti waliwo kkanso esuubirwa
okutuula mu wiiki eno era eno
y’emu ku nsonga ze basuubira okutandikirako
olwobukulu bwayo.
“Ensonga erimu okunoonyereza
okw’amaanyi, tujja kumusaba addeko
ku bbali asooke anoonyerezebweko
ku lw’obulungi bwa kkanso
n'abantu be tukulembera singa
anaazuulibwa nga talina kyamanyi
ajja kudda mu ntebe ye”.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Wuuno Fauziah Nakitende eyafuula...

Wuuno Fauziah Nakitende eyafuula bba Joseph Sseguya eng'oma gy'akuba nga bw'ayagala

Capture 220x290

Ow'e 79 aloopye bba mu b'obuyinza:...

Ow'e 79 aloopye bba mu b'obuyinza: Amulanze kumusuulawo n'apepeya n'abakazi abalala

Capture 220x290

Ssentebe n'omumyuka we bafudde...

Ssentebe n'omumyuka we bafudde kikutuko: Ow'ebyokwerinda asattira

Capture 220x290

Ebya Namwandu wa Sheikh Kirya ...

Ebya Namwandu wa Sheikh Kirya biranze: Alina eddaame amwanukudde

Capture 220x290

Laddu esse abaana babiri: Babadde...

Laddu esse abaana babiri: Babadde bagenze mu nnimiro