TOP

Omwana w'omukozi wa URA bamuwambye e Ntebe

By Musasi wa Bukedde

Added 1st May 2018

OMWANA asoma ku Victoria Hight School, e Ntebe eyabadde agenze okufuna lipoota ku ssomero abantu abatannategeerekeka bamuwambye nga n’okutuusa kati tamanyiddwa gy’ali.

Malawo 703x422

Natasha Karugaba . Ku ddyo ye Sophie eyabuze

Sophie Murphy15, owa S3 nga muwala wa Linda Natasha Karugaba, omukozi mu kitongole ekisolooza omusolo ekya URA, abantu abaamuwambye kigambibwa nti baabadde batambulira mu mmotoka ekika kya Toyota Noah.

Maaama w’omwana, Karugaba, yategeezezza nti, yasembye okulaba ku muwala we ku Lwokutaano ku makya bwe yamutegeezezza nga bwe yabadde agenda kusomero okuggyaayo lipoota ye.

Yategeezezza nti, bwe zaaweze essaawa 1:00 ey’ekiro hawusigaalo we kwe kumukubira essimu n’amutegeeza nga Sopie bwe yabadde tannadda waka okuva lwe yagenze ku ssomero.

“Natuukiridde ab’essomero ne mbabuuza oba muwala wange bamulabyeko kwe kuntegeeza nti, waliwo emmotoka y’ekika kya Toyota Noah, gye yalabye olweggulo ng’esimbye okumpi n’essomero, kyokka baagezezzaako okubuuza abaagibaddemu kye baabadde balinze, ne bataddamu naye kwe kubeesonyiwa”.

N’agamba nti omukuumi yamutegeezezza nga bwe yalabye Sopie ng’ayogera n’abaabadde mu mmotoka n’oluvannyuma n’alinnya .

Karugaba yagambye nti, ebigambo by’omukuumi byayongedde okumumalamu amaanyi n’addukira ku poliisi n’aggulawo omusango ku fayiro nnamba SD: 75/27/04/2018.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, yategeezezza nti, abaserikale okuva mu kitongole kya ‘Flying Squad’ batandise omuyiggo, okusobola okuzuula omwana gy’ali n’abali emabega w’okumuwamba.

N’agamba nti abaserikale bakola butaweera okulaba ng’omwana ono azuulibwa.

N’asaba abantu abalina amawulire agasobola okubayamba okumuzuula okutuukirira poliisi yonna eri okumpi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Guardiolaworried 220x290

Ekyamazima ManU yatusinze eddiba...

Pep Guardiola, atendeka Man City akkirizza nga ManU bwe yasinze ttiimu ye okuzannya obulungi ku Lwomukaaga n’anokolayo...

Puelvardy 220x290

Eyagobwa mu Leicester alumbye Vardy...

Claude Puel, eyagobwa ku butendesi bwa Leicester City mu February, alumbye omuteebi Jamie Vardy nti muzannyi mulungi...

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala