TOP

Amerika etegeka kwongera kusabattula Syria

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2018

OLUKUBYE ennyonyi ya Russia ne bagissa ku ttaka, Abayeekera bazzeemu okufunga ekyonga okusuuza Pulezidenti Bashar al-Assad ebitundu by’abadde awambye.

Keke 703x422

Abayeekera ba Syria nga bawandagaza amasasi mu bajaasi ba Gavumenti.

DAMSCUS, Lwakutaano

Abayeekera bazzeemu okukuba bbomu ku magye ga Assad mu bitundu bya Hama ne Aleppo gye yabadde abakubidde n’abagoba ku ntandikwa ya wiiki eno.

Okusinziira ku mukutu gwa SANA, baategeezezza nti luno lwe lumu ku nnumba ezikyasinze okubeera ez’omutawaana ku nfo z’amagye okuva mu makkati g’omwezi oguwedde Amerika, Bungereza ne Bufalansa lwe baakoledde ennumba.

Amerika etegeka kwongera kukuba Syria bagolole pulezidenti Bashar al-Assad oluvannyuma lw’okukakasa nti yakozesezza omukka ogw’obutwa okutta abantu.

Baakakasizza nti obujulizi bwe bamaze okufuna bukakasa nti Assad yakozesezza omukka ogw’obutwa okutta abantu.

Balagidde okuziikula emirambo gy’abantu abaakubwa omukka gw’obutwa e Syria abakugu bagyekebejje.

Obujulizi bwe baakafuna okuva mu kifo awagambibwa nti pulezidenti Bashar al-Assad we yakozesa omukka gw’obutwa bulaga nti kituufu gwakozesebwa.

Abakugu okuva mu kibtongole ky’ensi yonna ekirwanyisa okukozesa ebyokulwanyisa bya nukiriya (Organisation for the Prohibition of Chemical Weapons (OPCW) bali mu kitundu kino beekebejja buli kantu ne bwe balaba ejjinja ne balyekengera baleka balivuunudde okusinziira ku Ahmet Uzumcu akulira ekitongole.

Uzumcu yagambye nti kati baagala kulaba mirambo gy’abantu abafi ira mu mbeera eno.

Agenze okwogera bino ng’ennumba ez’enjawulo ez’omu bbanga ne ku ttaka zikyagenda mu maaso okukolebwa ku Magye ga pulezidenti Assad ne banywanyi be aba Iran era ku Lwokuna ennyonnyi ya Russia yakubiddwa n’etuntumuka e Syria nga yakasitula okuva ku nkambi ya Russia.

Ennyonyi ekika kya SU-30SM yabadde yakaasitula okuva ku Khmeimim Airbase era Russia yategeezezza nti ennyonyi eno yagudde mu kibuga Latakia. Yafi iriddemu abantu babiri okwabadde n’omugoba waayo.

Wakati mu mwezi oguwedde, Abayeekera gavumenti ya Assad mu bitundu by’e Douma baakubiddwamu omukka ogw’obutwa ekyawalirizza Amerika, Bungereza ne Bufarasa okusitula ennyonyi ne bagenda bakuba enkambi z’amagye ga Syria gye balumiriza nti Assad gy’abadde akolera omukka ogw’obutwa gwe yakozesezza okutta abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kot1 220x290

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti...

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Faz1 220x290

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu...

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Lip2 220x290

Mungobye ku kyalo naye nja kufa...

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu

Sit14 220x290

Polof. Nawangwe ataddewo akakiiko...

Polof. Nawangwe ataddewo akakiiko ku mivuyo gya gawuni e Makerere

Tip25 220x290

‘Temunkuba obwavu bwe bunkoza kino...

‘Temunkuba obwavu bwe bunkoza kino