TOP

Ssaabadinkoni bamuvunaana kusobya ku wa P6

By Musasi wa Bukedde

Added 6th May 2018

OMULABIRIZI w’e Luweero Rt. Rev. Eridard Kironde Nsubuga ayogedde ku Ssaabadinkoni gwe balumiriza okufunyisa omuwala wa P.6 olubuto. Agambye nti ensonga baazirekedde amateeka gakole.

Rev 703x422

Can. Kalule

Rev. Can. Kezekia Kalule 62, abadde Ssaabadinkoni w’e Luteete mu Luweero yakwatiddwa poliisi e Luweero oluvannyuma ne bamuyimbula ku kakalu ka poliisi oluvannyuma lw’omuwala (amannya galekeddwa) abadde asoma P.6 mu Luteete P/S, okumulumiriza nti yamukozesa n’amufunyisa olubuto.

Ensonda mu kkanisa zaategeezezza nti Can. Kalule baamukyusizza okuva e Luteete ne bamuzza e Kasiso kyokka nayo wakyamulemye okugenda kati ali mu bbanga.

“Nze njogera ekintu kimu nti ensonga ziri mu baabuyinza sirina kye nnyinza kwongerako. Ensonga twazireka mu mikono gy’aboobuyinza katuleke amateeka gakole, ekyo kye nnyinza okukugambako”, Omulabirizi Nsubuga bwe yaggumizza ng'ayogera ne Bukedde.

Rev. Godfrey Kasana abadde ku Sekamuli C/U gwe baatutte e Luteete agira addukanya Obusaabadinkoni. Embeera eno yaleeseewo okwogera obwama mu Bakristaayo ng’abamu beewuunya lwaki Can. Kalule gwe balowooza nti asaana kusooka kuwummuzibwa nga bw'anoonyerezebwako, ate yakyusiddwa bukyusibwa mpozzi n'okussibwa eddaala n'aggyibwa ku Busaabadinkoni n'azzibwa ku Busumba.

Omuwala ono abadde abeera mu maka ga Ssaabadinkoni Kalule era yamukwasibwa amulabirire kuba abazadde baali tebeesobola.

Okuva olwo, omuwala yatandika okuyita Ssaabadinkoni - Jjajja. Omuwala yategeezezza poliisi nti yeeraliikiridde kubanga abamu ku booluganda lwa Can. Kalule bamutiisa nti yasibisizza jjajjaawe abadde amulabirira era ajja kulaba ekinaddirira.

Wadde omuwala ono abadde abeeera wa Ssaabadinkoni, wabula abadde aweererwa ekitongole kya Compassion International.

Kino kibiina kya bwannakyewa era kikola nnyo n'Ekkanisa ya Uganda era e Luweero bali ku Bulabirizi n’e Luteete ate mu Bulabirizi bw’e Namirembe bali Nateete ne Namayumba.

Ekibiina kino kye kyasoose okuyingira mu nsonga z'omuwala ono ate oluvannyuma ne bamuweereza mu ‘WAKISA Ministries’ e Namirembe abalabirira abawala abafuna embuto nga tebanneetuuka.

Can. Kalule azze aweereza mu bifo okuli; Obusaabadinkoni bw’e Ndejje, Kikyusa ne Luteete gy’afunidde ebizibu. Kigambibwa nti okumukyusakyusa (ekitatera kubeerawo ku muntu ali ku ddaala lya Ssaabadinkoni), wabadde wajja wabeerawo okwemulugunya okuva mu Bakrisitaayo b'abeera atwala. Kasiso gye baamusindise wabaddeyo Rev. Mutyaba.

Omuwandiisi w’Obulabirizi e Luweero Rev. Methobothis Musisi yategeezezza Bukedde nti olukiiko lwatudde, ensonga ne bazoogerako kyokka tebayinza kumusalira musango kubanga ensonga ziri mu mikono gya poliisi ekyanoonyereza.

Yagambye nti omuwala yali alumiriza, wabula ate oludda lwa Ssaabadinkoni nga lulaga nti waliwo abantu abapika ebigambo mu muwala okwonoona erinnya lya Can. Kalule kyokka nabo ng'Obulabirizi nti tebannamanya kituufu; y'ensonga lwaki baagala abakugu mu by'okunoonyereza be baba banoonyereza baveeyo ne lipoota.

Yagambye nti waliwo omukozi eyayimirizibwa ku mulimu gwe bagamba nti y'apika omuwala okulumiriza Ssaabadinkoni.

Rev. Musisi yagambye nti mu kiseera kino Can. Kalule yasazeewo ku lulwe awummulemu era n'asambajja ebyasoose okusaasaana nti Obulabirizi bwamuyimirizza.

POLIISI ENNYONNYODDE

Ensonga bwe zaagenze zirinnya enkandaggo, abakulu ku Bulabirizi kwe kusalawo okutuula basale amagezi kyokka omusango nga gwatuuse dda ku poliisi.

Okusooka kyategeezeddwa nti Can. Kalule yali ateesezza ne bazadde b'omuwala ne basalawo omusango okugukomya awo nga tebamututte mu kkooti.

Wabula Paul Kangavve omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Luweero yategeezezza Bukedde nti, okunoonyereza kwawedde ne fayiro CRB 22/2018 n’esindikibwa ew'omuwaabi wa gavumenti era n'agiyisa egende mu kkooti kati balinda lunaku kkooti lw’ebawa basobole okutwalayo Kalule bamusomere omusango.

Wabula ensonda zaategeezezza nti Can. Kalule akyalya butaala era ng'abamu balina okutya nti ayinza obutaddamu kweyanjula ku poliisi nga bw'abadde yalagirwa oluvannyuma lw'okukitegeera nti fayiro yayisiddwa.

Abaddukanya Wakisa Ministries baakakasizza nti omuwala bamulina era bamulabirira n'okumubudaabuda.

Omuwala mu kuttottola ebyamutuukako alaga nti, Ssaabadinkoni yatandika okumukabassanya ng'ali mu myaka 14 era okufuna olubuto kye kyasajjudde ebintu, abazadde b'omuwala nga bamubuuzizza nnannyini lubuto.

Ssaabadinkoni teyafunyise wabula ab'oludda lwe bagamba nti omuwala alina omuvubuka eyamufunyisa olubuto kyokka omukozi eyali agobeddwa ku mulimu n'apika omuwala alumirize Ssaabadinkoni nti ye nnyini lubuto.

OMUBUULIZI ALI MU KKOMERA LWA KUKWATA WA MYAKA 13

Mu bulabirizi bwe bumu obw'e Luweero, Omubuulizi Yekoyada Nsubuga ow’ekkanisa ya St. Philips Bajjo mu Busumba bw'e Bombo, baamututte mu kaduukulu lwa kuganza wa myaka 13.

Omuwala abadde abeera ne jjajjaawe e Nkuluze Bamunaanika Luweero. Jjajja w’omwana yannyonnyodde nti, Omubuulizi Nsubuga yajja ewuwe ng’avuga pikipiki, n’asanga omuwala mu kiyungu ku ssaawa nga 2:00 ekiro ng’omuwala afumba nva.

Bwe yabadde asiibula kwe kulagira omuwala okumutwalira emmere gye baabadde bamusibiridde.

Baakanze kumulinda nga takomawo, baamusanze ku muliraano n’akabatema nti, Omubuulizi yabadde amusobezzaako era olwamututte mu ddwaaliro okumukebera abasawo ne bakakasa nti kituufu yabadde amusobezzaako. Omusango baagututte ku poliisi ku SD:10/14/04/2018, Nsubuga ne bamuggalira.

“Wabula kiwala ggwe nkwegombye”, Jjajja w’omuwala yategeezezza nti ebyo bye bigambo Nsubuga bye yategeeza nga yakatuuka awaka nga bawulira.

Ssentebe w'ekyalo Nkuluze, Smith Nkangi yategeezezza nti yawulira enduulu ng'abatuuze baagala okukuba Omubuulizi ensonga ne bazimuleetera, omwana ne bamutwala ew'omusawo w'ekyalo (VHT) eyamutwala ku ddwaaliro e Kasana ne bamukebera ne bazuula nti yasobezeddwaako kwe kuzongerayo ku poliisi y'e Bamunaanika.

Ab’ekitongole kya Compassion e Luteete abagambibwa okussa amaanyi ku kuvunaana omubuulizi baajulizza omuwandiisi w'obulabirizi Rev. Methobothis Musisi eyagambye nti ensonga yaziwulirako nti Omubuulizi baamutaasa ku bantu abaali bamukuba kyokka ebisingawo tannabimanya.

Omusumba w'e Bombo Rev. Charles Nnume yategeezezza nti Omubuulizi we tannamulaba okumala wiiki ssatu nti kyokka yawulirako nti mulwadde ali mu ddwaaliro e Kkoko ng'abadde ateekateeka kugenda kumulaba.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...