TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Embaga y’omulangira Harry erindiriddwa kuteekawo byafaayo

Embaga y’omulangira Harry erindiriddwa kuteekawo byafaayo

By Musasi wa Bukedde

Added 6th May 2018

ABANGEREZA nga beebugira embaga y’Omulangira Harry ng’awasa Omumerika Meghan Markle, kikakasiddwa nti Kkwiini tagenda kubeera mu kkanisa nga bagattibwa wabula agenda kusisinkana bazadde b’omuwala ng’ebula ennaku ntono.

Mbada 703x422

Omulangira Charles ne Camilla baakusisinkana bazadde ba Meghan ng’embaga tennabaawo. Ku ddyo, Abagole Meghan Markle (ku kkono) n’Omulangira Harry.

Doria Ragland nnyina wa Markle agenda kutambula naye mu mmotoka okuva mu kifo kye batannaba kwasanguza okugenda ku kkanisa.

Olunaatuukawo baawukane, olwo omuwala akumbe ne kitaawe Thomas Markle okuyingira kkanisa ya St. St George mwe bagenda okubagattira. Embaga eri ku Windsor Castle e Berkshire mu Bungereza nga May 19, 2018.

Embaga ya Markle ezzeemu okugatta bazadde be abaayawukana nga muto. Markle naye alina gye yasooka okufumbirwa n’azaalayo abaana babiri, kati ku myaka 36, ayingidde mu lulyo Olulangira e Bungereza.

Olunaku bazadde be lwe basisinkana Kkwiini, lwe bagenda kubanjulira ab’olulyo Olulangira.

Omukolo bazadde be kwe bagenda okusisinkanira Kkwiini, kugenda kubeerako abali ku mwanjo ennyo mu lulyo Olulangira e Bungereza okuli: Omulangira Philip, Omulangira Charles, Abalangira b’e Cambridge n’abe Cornwall. Okusinziira ku mwogezi w’Olubiri lw’e Kensington.

Embaga eno erimu okukyusa ku nkola mu nnono ya Bungereza ng’Omuzadde omukyala okuwerekera muwala we ku kkanisa n’okusaba bazadde be bombi babeere ku Mbaga.

Harry mutabani w’omugenzi Omumbejja Diana eyafiira mu kabenje mu 1997.

William muganda wa Harry ye kalabaalaba w’omugole omwami ate abaana be abato Omulangira George n’Omumbejja Charlotte z’emperekeze ento. Okutuusa olwaleero, Harry tasisinkananga taata wa Markle.

Ng’akalombolombo, olunaku olukulembera embaga abaagalana tebagenda kusula wamu.

Baganda ba Diana okuli; Earl Spencer, Lady Jane Fellowes ne Lady Sarah McCorquodale baakubeera ku mbaga era Jane y’agenda okusoma ekitundu mu kkanisa.

Enkola y’Abamerika mu kwaniriza Abagole ku mbaga bagiweze, emperekeze bagaanyeeko abawala oba abalenzi abavubuse beetaagako baana.

Harry ne William baakutuuka ku kkanisa nga batambuza bigere, emmotoka tebatuusa ku mulyango.

Okusaba mwe bagenda okubagattira kwakumala essaawa emu yokka. Aboolulyo Olulangira abookulusegere be bagenda okulinda abagole ku madaala babawuubireko.

Olwo abagole balinnye ebigaali by’embalaasi zibatambuze. Baakugabula abagenyi baabawe ku St George’s Hall, ku ssaawa 9:30 ogwo omukolo bagufundikire.

Olunaava ku Windsor Castle nga boolekera Frogmore House awagenda okubeera embaga akawungeezi.

Olunaamaliriza embaga sibaakugenderawo ku ‘Honeymoon’ , wagenda kuyitawo ennaku ntono ng’embaga ewedde balabikeko mu lujjudde ng’omwami n’omukyala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...