TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ogwa Ssebuufu guwanvuye: Emmotoka eyakozesebwa okumuwamba etwaliddwa ku kkooti

Ogwa Ssebuufu guwanvuye: Emmotoka eyakozesebwa okumuwamba etwaliddwa ku kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 7th May 2018

EMMOTOKA eyakozesebwa okuwamba omugenzi Betty Donah Katushabe ne bamutta etwaliddwa ku kkooti ng’obujulizi okulaga nti, omugenzi yasooka kuwambibwa n’atulugunyizibwa okutuusa lwe yafa.

Ssebuufu1 703x422

Emmotoka Toyota Corona eyakozesebwa okuwamba omugenzi Donah Katushabe (mu katono ku kkono) nga baggyekebejja ku kkooti. Mu katono ku ddyo ye Ssebuufu avunaamibwa okutta Katishabe

Katushabe yattibwa mu October 2015 lwa bbanja lya bukadde mwenda nga kigambibwa nti omusuubuzi w’emmotoka eyali akolera ku Pine, Muhammad Ssebuufu ne bakanyama be be baali emabega w’okumutta.

Omukugu wa poliisi mu kusoma ebinkumu n’okwekebejja ekifo awakoleddwa ettemu, Pius Caningom ye yakulembedde okunnyonnyola Omulamuzi Anglin Ssenoga bye yasanga mu mmotoka ennaku mbale nga Katushabe yaakattibwa.

Emmotoka y’ekika kya Toyota Corona Premo enjuru nnamba UAP 155T, ebadde ekuumibwa ku poliisi ya CPS era okugituusa ku kkooti, kasiringi ye yabadde egisika olw’embeera embi gy’erimu kati.

Caningom yagambye nti bwe yakebera emmotoka eno, nga October 24, 2015 endabirwamu n’ezigi byali bikola bulungi kyokka bwe yabadde agiraga Omulamuzi Ssenoga enzigi ezimu zaagaanyi okweggula.

Yalaze Omulamuzi entebe y’emabega kwe yasanga omusaayi era ogwaleetebwa mu kkooti ng’ekizibiti kyokka looya wa Ssebuufu yakubye ebituli mu bujulizi buno ng’agamba nti ekizibiti tekiriiko nnaku za mwezi na kifo we baakiggya nga mu mbeera eno kkooti tesobola kukakasa oba nga ddala omusaayi gwe baasanga mu mmotoka gwe gwo gwe yalaga kkooti ng’ekizibiti.

Wabula Caningom yagambye nti yadde ng’omusaayi yagusanga mu mmotoka egambibwa okukozesebwa okuwamba Katushabe talina bujulizi bulaga nti omusaayi gwali gwa Katushabe era nti Ssebuufu ye yamutta. Ku mmotoka kwasangiddwaako sitiika ya yinsuwa eya First Insurance Company LTD ng’eri mu mannya ga Ronald Wamala.

Yagambye nti ku ndabirwamu y’emmotoka kwaliko ne sitiika endala okwali ennamba ezenjawulo kyokka baakebedde emmotoka nga sitiika zino teziriiko. Caningom era yagenda ku Pine okunoonya obujulizi obulala wabula bwe yabuuziddwa oba nga yasangayo ekiwandiiko kyonna ekiraga nti Ssebuufu ye yaguza Katushabe emmotoka eno n’agamba nti nedda.

Okusinziira ku bujulizi bwa Specioza Nyanzi eyali mu mmotoka eyakozesebwa okuggya Katushabe mu maka ge e Bwebajja, mu mmotoka muno mwalimu abapoliisi basatu ne ‘Crime Preventor’, Paul Tasingika ng’ono y’omu ku bavunaanibwa okuwamba Katushabe n’okumutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.