TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Hajji Lugobe, eyayawukana ne muwala wa Mutaasa bamututte mu kkooti lwa kulemererwa kusasula obukadde 52 ez'obupangisa

Hajji Lugobe, eyayawukana ne muwala wa Mutaasa bamututte mu kkooti lwa kulemererwa kusasula obukadde 52 ez'obupangisa

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2018

OMUSUUBUZI w'e Nakasero, Hajji Fahd Ibrahim Lugobe eyayawukana ne muwala wa mugagga munne Hajji Mutaasa Kafeero ebibye bibi. Anti atwaliddwa mu kkooti lwa kulemererwa kusasula ssente z'obupangisa 52,403,100 (ddoola 14,163) ne 707,800/= nga za bukuumi n'ebirala ku dduuka kw'akolera era baagala ne kkooti eteekewo ekiragiro ekimugobamu.

20152largeimg212feb2015170023263703422 703x422

Lugobe ng'akyali ne muwala wa Mutaasa

BYA ANNET NALUGWA

Abaddukanya Sthankuasi Jain Sangh mu kusoberwa oluvannnyuma lwa Lugobe owa Kawusara General hardware e Nakasero okumpi n'akatale okulemererwa okusasula ssente z'obupangisa okuva nga January 2017 okutuusa nga April 2018 nga ziri ddoola 14,163 (mu za Uganda obukadde 52) kuno bagattako ez'obukuumi n'ebirala nga zo ziri 707,800/=  kwe kuloopa omusango nnamba CS 346/201.

Mu kkooti Enkulu etawulula enkaayana z'ebyobusuubuzi mu Kampala kyokka ne kisalibwawo gutwalibwa mu kkooti eyeekuusa ku nsonga z'ettaka y'eba eguwulira.

Mu mpaaba y'abawaabi bagamba nti baakola endagaano ne Lugobe okumupangisa edduuka nnamba 2 erisangibwa ku poloti 6 Snaybin Amir Street e Nakasero mu Kampala.

Wabula kati alemeddwa okusasula newankubadde bamubanjizza ssente ezo ekireetedde abawaabi okufiirwa ate nga Lugobe ekyalemeddwa okuva ne mu dduuka lino.

Lugobe yalekawo muwala wa Mutaasa Kafeero, Masitulah Nassali oluvannyuma lw'okufuna obutakkanya era gye buvuddeko yawasa Omucootala Dr. Amina Salim Lugobe era mbu omukolo guno yaguteekamu obukadde 300 nga yapangisa ennyonyi ku ddoola 35,000 nga kuliko n'omusolo (eza Uganda obukadde 110) ne zibatwala e Soroti mu Teso ku mukolo.

Ebirala ku Lugobe....

Eyalekawo muwala wa Mutaasa alaze ssente ng'awasa Omucootala: Abantu abasombedde mu nnyonyi

Poliisi eyise muwala wa Mutaasa Kafeero ku by'obutakkaanya ne bba

Eyawasizza muwala wa Mutaasa Kafeero addukidde ku poliisi: ‘Mukazi wange abadde anzita’

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’