TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita w'Ebyettaka, Betty Amongi bongedde okwanika obuziinaabwe

Minisita w'Ebyettaka, Betty Amongi bongedde okwanika obuziinaabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 10th May 2018

Kkampuni ye eya Amobet Investments Ltd emyaka 10 gy’emaze ebadde tewaayo nnyingiza na nsaasaanya mu URA ng’etteeka bwe liragira, abakozi tabasasulira ssente za NSSF n’akulira kkampuni ye Henry Mubiru yakwatagana n’abafere okunyaga eza ‘Land Fund’!

Man 703x422

Ettaka erisangibwa ku kibanja 29 erigambibwa nti lye lyaleetedde minisita w’ebyettaka Betty Amongi (mu katono) obuzibu nga lisangibwa Kololo ku Acacia Avenue. nga bwerifaanana.

AKAKIIKO akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kongedde okwanika minisita w’ebyettaka, Betty Amongi.

Kkampuni ye eya Amobet Investments Ltd emyaka 10 gy’emaze ebadde tewaayo nnyingiza na nsaasaanya mu URA ng’etteeka bwe liragira, abakozi tabasasulira ssente za NSSF n’akulira kkampuni ye Henry Mubiru yakwatagana n’abafere okunyaga eza ‘Land Fund’!

Eggulo Amongi olwagasimbaganye n’omulamuzi Catherine Bamugemereire, n’amubuuza nti omukazi eyeewaana okubeera ne bizinensi ez’enjawulo kiki ekyamunaawuula okugenda mu Gavumenti okutwala obwaminisita.

Yayanukudde nti olwakwata obwa minisita kkampuni n’agirekera Mubiru okugitambuza.

Ettaka eryazaalidde Amongi ebitukula, liri ku poloti 29 Acacia Avenue e Kololo, Omuyindi Toshak Manubhai Patela ly’agamba nti Amongi yakozesa ofiisi ye alibatwaleko so nga balina ekyapa kye baafuna mu 1968 naye minisita yali abuuza nti baakifuna batya.

Omulamuzi yawadde Amongi ebiwandiiko n’amulagira yeetegereze oba akafaananyi akaliko ke ka Mubiru n’akkiriza era n’asuubiza okumutwalayo.

Ebiwandiiko byabadde biraga ettaka eriri ku bulooka 128 poloti 19 e Nakasongola Omulamuzi lye yagambye nti Mubiru yeekobaana n’aba Uganda Land Commission (ULC) okulyeguza mu ngeri eyamankwetu.

Omulamuzi yeewuunyizza minisita okuba ng’akozesa Mubiru gw’amanyi obulungi nti yakwatagana ne Paasita Daniel Walugembe owa Internal Life Gospel Church, Wandegeya era nnannyini Walugembe Properties, ne bafutyanka bannannyini ttaka nga bakolagana n’abamu ku bakungu ba ULC okufera ssente z’ensawo ya Land Fund.

Walugembe yalabika mu kakiiko gye buvuddeko ne bamukunya ku ngeri gye yafunamu ssente zino.

Bamugemereire yazzeemu okubuuza Amongi ebikwata ku kkampuni ye, yamulagidde ayogere omusaala gw’asasula Mubiru n’ategeeza nti 2,100,000/-.

Yamubuuzizza abakozi baalina n’ategeeza nti bali musanvu, bwe yamubuuzizza oba abasasulira ssente za NSSF kwe kunnyonnyola nti abakozi abenkalakkalira alina bana abasigadde ba lejjalejja so ng’etteeka liragira kkampuni okusasula bw’ebeera eweza abakozi bataano.

Omulamuzi yamulagidde aleete ebiwandiiko kwe batambuliza emirimu ku kkampuni ya Amobet Investments Ltd.

Yamutegeezezza nti asaana kutwala wa Kaliisoliiso wa gavumenti anoonyereze ku by’obugagga by’alina n’engeri gye yabifunamu. N’ensawo ya Land Fund tebaagiggulirawo akawunti ng’etteeka bwe liragira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip2 220x290

Halimah Namakula ayingiddewo okuva...

Halimah Namakula ayingiddewo okuva mu America yesunga mukolo gwa Rema

Kylianmbappe1 220x290

Mbappe yandiryawo Neymar ng’omuzannyi...

KYLIAN Mbappe yandiryawo Neymar ng’omuzannyi asinga ebbeeyi mu nsi yonna.

Kip2 220x290

Maama afudde n’abaana be

Maama afudde n’abaana be

Capture 220x290

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola...

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola ebya S.6 biranze

Capture 220x290

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130...

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130 okusasula aba LDU