TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abemmundu Flying Squad be yalese ekutte batolose

Abemmundu Flying Squad be yalese ekutte batolose

By Musasi wa Bukedde

Added 11th May 2018

ABABBI ab’omutawaana ekitongole kya Fyling Squad be kyasembyeyo okukwata e Mityana, batolose mu kaduukulu ekireeseewo okutya mu batuuze.

Gef4650407 703x422

Muhangi lwe yakwasa Balutaaya mmotoka yaabwe eyali enunuddwa okuva mu babbi

Aba Flying Squad ekimu ku bikwekweto bye baasembyeyo okukola nga tebannaba kusattululwa ku Mmande kwabadde kukwata agabbi g’emmundu agaateega omusuubuzi we Mityana, Matia Luyima 29, ne gamussa ku mudumu gw’emmundu ne gamubbako mmotoka, ssente n’essimu ze.

Julius Senyange ne Jimmy Ganda, aba Flying Squad baabakukunudde Pakwach nga basomosa emmotoka ya Luyima ey’ekika kya Premio okugikuba ebbeeyi e Congo.

Oluvannyuma baakomezeddwaawo e Mityana gye baagibbye ne baggalirwa ku poliisi.

Oluvannyuma lw’okukwatibwa abantu emitima gyabazze mu nteeko kubanga abasajja bano bagambibwa okubeera abamu ku b’omutawaana ababbisa emmundu nga basinga kwettanira kubba mmotoka mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Ensonda mu b’ebyokwerinda zaategeezezza nti abasajja bano baalaze nga bakolagana n’abantu abanene bangi era nga be babayamba okuteebwa buli lwe baba bafunye obuzibu.

Mu kiro ekyakeesezza Mmande, abazigu bano baamenye akaduukulu ka poliisi ne badduka, era abaserikale baagenze okutuuka mu kaduukulu nga baabombye dda.

Kino kyaggye abaserikale mu mbeera ne bakuba omusibe James Kaboggoza eyasangiddwa mu kkomera nga bagamba nti yabadde yeenyigidde mu lukwe lw’okutolosa abasibe.

Yatwaliddwa mu ddwaaliro e Mityana abasawo ne bazuula nga yalumiziddwa nnyo.

Fred Wotonnava, ssentebe wa Mityana Central yagambye nti obumenyi bw’amateeka buyitiridde kuba abatuuze bangi bazze babbibwako emmotoka ne zitaddamu kulabika.

Okukwatibwa kw’abazigu ababbye eya Luyima kyabadde kibawadde essuubi ly’okuzuula n’emmotoka endala ezizze zibbibwa.

Abasibe bwe baba nga kituufu baatolose yagambye nti kyongera okubeewanisa emitima.

Yategeezezza nti waliwo emmotoka y’omusuubuzi ayitibwa Jamil ow’e Kikonge ku lw’e Mityana eyabbibwa, kyokka ne bagikwatira mu galagi e Kampala.

Kyokka wadde ababbi baakwatibwa naye baatoloka mu kaduukulu mu ngeri etaategeerekeka.

Yagambye nti n’emmotoka endala nnyingi ezizze zibbibwa ne zitaddamu kulabika okuli eya Godfrey Mbalire eyali Mukwenda wa Ssingo n’endala nnyingi.

ENGERI EMMOTOKA Y’OMUSUUBUZI GYE YABBIBWAMU

Baateega Matia Luyima 29, omusubuuzi w’e Mityana ng’ayingira mu maka ge ku Lwokuna lwa wiiki ewedde. Luyima yagambye nti yali ne mukyala we Afua Namubiru.

Aba ayingira ekikomera kye ku kyalo Buswabulongo, ne yeekanga abasajja bana ababagalidde emmundu ne bagimusongamu.

Abasajja baamulagidde okutuula ku mutto gw’emabega ne mukyala we olwo bo ne babavuga.

Baamusibye emiguwa ne mukyala we ku mikono n’okubasiba ebiwero ku maaso. Abasajja ababiri baatudde mu maaso n’abalala ababiri ne batuula ku mutto gwe mabega erudda n’erudda.

Abasajja baabadde beekapise ebikooti nga ne mu maaso beebisse enkoofiira okwewala okubeetegereza.

Abazigu baamwetoolozza nga bamuvuga okutuusa we baamutuusizza mu kifo ekyekusifu kye yategedde oluvannyuma nti kibira kye Businziggo.

Olwatuuse abazigu baabafulumizza ne babakkiriza mu kibira gye baabakuumidde okutuusa ku makya.

Baabalese babasibye emiguwa ku mikono n’amagulu. Baabalagidde okuzibiriza okumala eddakiika 10, era baagenze okuddamu okutunula ng’abazigu.

ABABBI MWABADDEMU ABASERIKALE

Ensonda zaategeezezza nti ababbi baasangiddwa n’essimu nga ziraga nti baabadde boogeraganya n’abaserikale ba poliisi okuli n’omuduumizi wa Poliisi mu disitulikiti emu.

Bano be babadde bakolagana nabo obutakwatibwa era kigambibwa nti bamanyi n’okubawa emmundu ze bakozesa.

Kyokka Norman Ochom, omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala Region ekitwala disitulikiti ye Mityana yawakanyizza eby’okutolaka kw’abasibe abaakwatiddwa n’agamba nti abakwate babalina.

Bwe yabuuziddwa olunaku lwe babatwala mu kkooti, yagambye nti bakyanoonyereza kuba waliwo n’abalala bangi be bakyayiggibwa.

Ochom yakkirizza nti kituufu mu bantu be banoonyerezaako era be bagenda okukwata mulimu n’abaserikale ba poliisi b’ataayatuukirizza mannya be yayogeddeko nti bandiba nga babadde bakolagana n’ababbi abaakwatiddwa.

“Ekituufu waliwo abaserikale abagambibwa okuba nga beenyigira mu bubbi, naye tebannaba kukwatibwa. Bali mu bifo byanjawulo era tujja kubakwata,” Ochom bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Starleaguenov162019kccabtvipers10kizzaandwilla2 220x290

KCCA FC ekubye Vipers awaluma

KCCA FC emezze Vipers SC egikyalidde e Lugogo ku kisaawe kya Star Times ku ggoolo 1-0 ng’eteebeddwa Mike Mutyaba...

Buza 220x290

Omusajja omukodo abuza omuliro...

TEWALI kintamizza basajja nga bukodo. Balinga abatamanyi nti omukyala yenna aweebwa kubanga kibi nnyo okukama ente...

Wuga 220x290

Omulwadde wa siriimu asobola okuzaala?...

NDI mukyala ayagala waakiri okuzaalayo omwana omu kubanga nnina siriimu. Naye ssenga, kandida annuma naye neebuuza...

Jino 220x290

Ow’emyaka 90 alumirizza ekkanisa...

NNAMUKADDE ow’emyaka 90 alumirizza ab’ekkanisa ya Uganda okumutundira mu ttaka ly’abaddeko emyaka egisoba mu 60....

Linda 220x290

Stecia awadde Julie obukwakkulizo...

ABAYIMBI n’abasuubuzi bongedde ebbugumu mu nteekateeka y’emikolo gy’okwanjula kwa Julie Ssemugga egisuubirwa okubeerawo...