TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Aba famire y’omuwala eyawambiddwa bakumye olumbe: Balinze kubalagirira wa gye baasudde omulambo!

Aba famire y’omuwala eyawambiddwa bakumye olumbe: Balinze kubalagirira wa gye baasudde omulambo!

By Ssennabulya Baagalayina

Added 14th May 2018

Nakisekka17, eyawambiddwa mu Paaka ya takisi mu Kampala bakumye olumbe ku biggya e Mawogola mu disitulikiti y’e Ssembabule oluvannyuma lw’abaamuwambye okubakubira essimu nti bamaze okumutta.

Kuma 703x422

Abantu mu luggya omwakumiddwa olumbe lwa Nakisekka eyabuze

Eggulo, abaawambye Nakisekka nga bakozesa essimu ye, 0758349249, baakubidde ssenga we, Benita Nakayenga ow’e Kabundi mu Mawogola ne bamutegeeza nti, baagala abasindikire 500,000/- nga talina muntu yenna gw’ategeezezzaako, nti era ssente zino, bagenda kuzeeyambisa kugula kakutiya n’entambula egenda okutambuza omulambo oluvannyuma bajja kubalagirira gye bagusudde.

“Tufunye essimu ku ssaawa 6:00 mu ttuntu ng’abatemu batusaba emitwalo 50 nga bagamba mbu ze baguzeemu ekiveera mwe batadde omulambo, bwe tuzibaweereza nga batubuulira we basudde omulambo,” kitaawe wa Nakisekka, Fred Kasagga bwe yategeezezza Bukedde.

Olwafunye essimu, abazadde n’abooluganda essuubi ly’okuddamu okulaba ku mwana waabwe Nakisekka nga mulamu ne libaggwaamu, emiranga ne gibuna ekyalo.

Baasazeewo okukuhhaanira mu maka ga nnyaabwe omukadde Deziranta Nyirabagyenzi 77, ku kyalo Nakagongo mu ggombolola y’e Mateete e Mawogola mu Ssembabule.

“Tukitutte nti tukumye olumbe kuba tetukyalinayo ssuubi lya kulaba Nakisekka nga mulamu era tulindiridde abazigu okutulagirira we tunaggya mulambo tuguziike nalwo luggwe,” Taata Fred Kasagga bw’ategeezezza.

Bano abaasangiddwa mu buyinike obw’ekitalo, beekokkodde Poliisi ya Uganda naddala bambega b’oku Kampalamukadde ne CPS nti tebaabayambiddeko ddala.

Baategeezezza nti ku Lwokutaano baabakwasa omusibe Nicholas gwe bateebereza okubaako ky’amanyi ku mayitire ga Nakisekka kyokka nabo bazze mu kubasaba sssente za ntambula.

Kasagga alumirizza nti ku Lwomukaaga yasiiba ku Poliisi e Kampala ng’eno bambega baamusaba ssente nti zibatambuze n’omusibe okumutwala e Mukono basinziire eyo okunoonyereza.

Agattako nti bwe byamusobedde nga n’abaawambye muwala we bwe bamukubira ssimu ez’okumukumu nti aweereze ssente baleme okumutta.

Aba famire n’abazirakisa baamuyambyeko okufunayo ssente endala emitwalo 75 ne bazisindikira abazigu olwo ne ziweza omugatte gwa kakadde ka ssente kalamba.

Kasagga agamba nti abazigu bazzeemu ne bamukubira ate ne bamusaba obukadde bubiri ate bwe baavudde awo nti waakiri abongereyo akakadde! “Nawulidde nga ntuyidde kwe kubaanukula bubi ne baggyako ssimu era tebannaddamu kukuba ku ssimu yange,” Kasagga bw’agamba.

BATIISIZZA OKUKOLAWO AKATIISA AKALALA

Wano baatandise okukuba ku ssimu ya Hassan Mawanda ne Betina Nakayenga nga boogeza bukambwe n’okubatiisatiisa. Baabalaalise nti okuva taata bw’abavumye bagenda kukuba mu famire ekkonde eddala erinaabayisa obubi n’okusinga Nakisekka.

Nakayenga agambye nti yabeegayiridde ku ssimu obutabattira kannyabo tekalina mutawaana, kyokka ng’abazigu bwe bamugamba nti kabamunyoOlemu ng’awulira. Beeyongedde okwewaana nti be basse ow’e Njeru.

POLIISI EBAZUNZIZZA

Nakisekka yawambibwa ku Lwakuna lwa wiiki ewedde, ono yali ava wa muganzi we Nicholas Kawuma abeera mu Kikooza mu Mukono Munisipaali ng’agenda Nakawuka kulaba kojja we Gerald Mbidde.

Okusinziira ku Kawuma, poliisi ya Kampalamukadde gwe yakutte, Nakisekka yabadde amaze ebbanga lya wiiki ssatu ng’amusaba ssente wabula ng’amugamba nti agenda Mengo kulaba ssenga we, ebya kojja we teyabimugamba.

Ku Lwokuna akawungeezi, agamba nti yamuwadde ssente n’asimbula ne basigala nga bawuliziganya, bwe yavudde mu mmotoka ng’atuuse mu Kampala, olwo bwe yazzeemu okumukubira essimu ebigambo bye ne bitandika obutaatuka.

Agamba nti, yabadde awuuna buwuunyi ku ssimu nga bw’amuddamu nti, ‘kale’ ekyaddirdde kumukubira ssimu nti bamuwambye. Kasagga agamba nti, abadde amanyi nti muwala we abadde Matugga wabula kyamuweddeko bwe baamutegeezezza nti we baamuwambidde, abadde yafumbirwa Mukono.

Yagasseeko nti bwe baamugambye nti muwala we awambiddwa, yagenze ku poliisi y’e Kittante e Masaka ne bamusindika ku poliisi enkulu ey’e Masaka ate mukoddomi we Kawuki, n’aloopa ku poliisi y’e Mukono.

E Mukono, baamusindise ku CPS mu Kampala. Bwe baatuuse ku CPS ate ne babagamba bagende ku Old Kampala.

Agamba nti baabadde bakyali ku Old Kampala ate ne babagamba bagende e Kajjansi kubanga y’etwala Nakawuka nti muwala we baamuwambye adda Nakawuka.

Ensonga zaabatabuseeko Kasagga n’asalawo okugenda ku CPS alabe Edel Johnson Ola, akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala n’emiriraano kyokka naye teyasobodde kumulaba.

Mu kutambula, abatemu bazzeemu ne bamukubira essimu ne bamutegeeza nti baagala ssente zaabwe.

Yagambye nti baasooka kumusaba 5,000,000/- bwe yeegayirira olw’obutaba na ssente ne bazisala okutuuka ku 3,000,000/- ne basooka balemera awo.

Bwe yaddamu okwegayirira ne bakkaanya 750,000/- n’asooka abawaako 250,000/- ne basigala nga babanja 500,000/-.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Patrick Onyango yagambye nti, tebatudde. Ensonga ya Kasagga bagikolako wabula, omuwala tebamanyi kitundu kituufu gye baamuwambira n’agamba nti, bagguddewo omusango ku poliisi ya Kampalamukadde wabula engeri gye kiri nti, Nakisekka abadde abeera Mukono, fayiro y’omusango bagenda kugiweereza e Mukono y’eba egitambuza.

Yagasseeko nti, okuwambibwa kw’abawala okweyongedde, poliisi ekola buli ekisoboka okulaba ng’abawamba abawala ne babatta, bakwatibwa. Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yagambye nti, ebitongole by’ebyokwerinda bibadde bikola omulimu gwabyo naye ekibinja ky’abawamba abantu kinene tebannakimalawo. “Tukola era tukutte bangi lwakuba tetubikolera mu mawulire.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...