TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Faaza eyazadde mu muwala aleeseewo akasattiro mu Klezia

Faaza eyazadde mu muwala aleeseewo akasattiro mu Klezia

By Stuart Yiga

Added 14th May 2018

Faaza Edward Muwanga, bw’abadde asoma Mmisa mu Eklezia y’e Ntinda awazziddwa Faaza Robert Ssemogerere, asabye Abakristu okubeera abakkakkamu wakati mu kusoomoozebwa okuliwo olw’ebyo ebyafulumye mu mawulire ku Faaza waabwe.

Saba 703x422

Faaza Ssemogerere

“Nkimanyi bangi ku mmwe ebifulumye mu mpapula z’amawulire mubirabye era ne mubisoma.

Siri mwogezi wa ssaza sisobola kubyogerako kisingawo. Kye mbasaba kiri kimu kyokka, mwongere okutusabira wamu n’Eklezia yaffe.

Kati essaala y’erina okukola so si kintu kirala kyonna kuba kuno kusoomoozebwa kwa maanyi kwe tulimu,” bwatyo Fr. Muwanga bwe yategeezezza eggulo.

Embeera ey’okwekuba obwama n’okwewuunaganya mu Bakristu teyakomye ku Eklezia ya St. Lwanga e Ntinda, Faaza Ssemogerere w’ali, wabula ne ku St. Andrew-Kigoowa, gye yava.

Faaza Joseph Mukiibi, eyavudde ku kitebe kya Radio Maria ekikulu ye yabadde omutambizi omukulu.

Wakati mu kusoma mmisa, Faaza Mukiibi yakubirizza Abakristu okwewala okukemebwa sitaani.

Yategeezezza nti, kumpi buli muntu yali akemeddwaako n’akola ebitasaana mu maaso ga Katonda, nti naye bw’okanya okusaba, kikuyamba okukutula enjegere z’okukemebwa.

Faaza Mukiibi ensonga y’okukemebwa yagitaddeko nnyo essira, ng’alinga alaga nti waabaddewo eyabadde akemeddwa.

Yagenze mu maaso n’asaba atakemebwangako awanike emikono waggulu, abantu buli omu n’atandika okutunuulira munne ng’emikono gibalemye okuwanika.

Bakira buli awaabadde abakkiriza ababiri, oba basatu, emboozi ya Faaza Ssemogerere okuzaala mu muwala atanneetuuka ye yabadde ku mimwa gyabwe.

“Singa nze Joseph nkwatibwa nga mmenya ennyumba y’omuntu, ne nziba era ne banjogerako nga bwendi omubbi, bwe ntuuka ku katuuti okubuulira enjiri musobola okuddamu ne mu nzikiririzaamu nga mbuulira ku katuuti kano?” Fr. Mukiibi bwe yabuuzizza Abakristu.

Oluvannyuma yabasabye bulijjo okwaniriza mwoyo mutukuvu mu buli kye bakola, ku mirimu, mu hhendo mu kwogera ne bwe kiba kituuse mu maka gaabwe nga bali mu bisenge.

Omuwala Maureen Kisakye, ye yalumirizza Faaza Ssemogerere okumufunyisa olubuto n’atamuwa buyambi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...

Katolubwamalubaga2 220x290

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo...

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde...

Sengendo2002web 220x290

Twagala abakazi abateekomomma mu...

Abasajja banoonya abkazi baakuwasa nga tebeekomomma mu kulaga amapenzi, abalungi ate nga baabuulirirwa

Sharonweb 220x290

Banoonya abasajja abateemotyamotya...

Abakazi abanoonya abasajja abateemotyamotya mu laavu.

Prowew 220x290

Proline etutte Matia Lule

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.