TOP

Bannaddiini basabye Museveni ku kittabantu

By Ali Kizza

Added 14th May 2018

BANNADDIINI basinzidde mu kusaba mu kkanisa ya Makaayi e Nateete ne baloopera Pulezidenti Museveni ekittabantu ekisusse ne bamusaba abeeko ky’akolawo eggwanga kati litambulira mu kutya.

Saba 703x422

Museveni, Beti Kamya (ku ddyo) n’abamu ku booluganda lwe ku kkanisa e Nateete

Omulabirizi w’e Namirembe eyawummula, Samuel Balagadde Ssekkadde bwe yabadde akulembeddemu okusaba okwenjawulo ku mukolo ogwategekeddwa minisita wa Kampala Beti Olive Kamya okwebaza Mukama by’amukoledde n’atuusa eddoboozi lya bannaddiini eggulo.

Beti Kamya yategese omukolo gw’okwebaza Katonda ebirungi by’amutuusizzaako ssaako okujaguza amazaalibwa ga nnyina Margaret Kamya eyawezezza emyaka 85.

Pulezidenti Museveni ye yabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno ogwajjumbiddwa ennyo. Museveni mu kwanukula Bp.

Ssekkadde yagumizza Bannayuganda babeere bagumu kubanga abawamba n’okutta abantu bagenda kukolwako.

Yategeezezza nti kino kitono nnyo ku ntalo z’alwanye n’akakasa eggwanga nti nga bwe yakutte abaali mu lukwe lw’okutta Susan Magara, ne bano bagenda kukwatibwa mangu ddala kubanga ebitongole by’ebyokwerinda tebitudde.

Yayongeddeko nti obutemu ekika kino bubadde mu byalo era ne basobola okubulwanyisa.

Yagambye nti kyokka engeri y’okumalawo ettemu ly’omu kibuga kyetaagisa amagezi ag’enjawulo ne tekinologiya wa kkamera era nti kino kikolwako.

AWADDE EKKANISA KAWUMBI

Ku mukolo gwe gumu, waabaddewo okusonda ssente z’okuzimba ekkanisa galikwoleka. Museveni yasuubizza akawumbi kamu n’awaayo kkaasi obukadde 10.

Abalala abaasonze ssente z’okuzimba ekkanisa kwabaddeko omugagga Godfrey Kirumira eyawaddeyo obukadde 4, Bosco Muwonge obukadde 3, Ntaganda obukadde 5, Beti Kamya obukadde 30 (yagambye nti za musaala gwe gwonna ez’omwezi oguwedde), Brian White obukadde 8 n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi