TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Uganda egenda kutandika okulima ekirime ekivaamu amafuta ga dizero

Uganda egenda kutandika okulima ekirime ekivaamu amafuta ga dizero

By Muwanga Kakooza

Added 14th May 2018

BAYINVESITA okuva e Malaysia bazze mu Uganda nga baagala okutandika okulima wano ekirime ekipya ekisobola okuvaamu amafuta ga dizero agasobola okukozesebwa mu genereeta ne yingini endala.

Dc8jg9rxcaayzlo 703x422

Pulezidenti Museveni

Ekirime kino kimanyiddwa nga ‘Jatropha' era bwe kikula ensigo zaakyo zisobola okuvaamu amafuta ga dizero ng’ate kikula bulungi mu budde bwa Uganda obugatta ebbugumu n’enkuba.

Bayinvesita bano aba kkampuni ya ‘Malaysia Felda Scheme Model Group’ baasisinkanye Pulezidenti Museveni e Ntebe n’asanyukira entegeka ze yagambye nti zigenda kuyamba okwongera okuggaggawaza Bannayuganda.

Baakulembeddwa Geoffrey Onegi Obel, akulira kkampuni ya Bionas East Africa Group Ltd,okusinziira ku mawulire agaafulumiziddwa oluvannyuma lw’ensisinkano eno.

Museveni yagambye nti ekirime kino kyetaaga ettaka ddene era abagenda okugiganyulwamu be balina ettaka eddene.

N’agamba abalina ettaka ettono eritasoba mu yiika nnya beemalire ku kulima mmwanyi na bibala kuba zivaamu amagoba aga mangu.

Omumyuka wa Pulezidenti wa kkampuni ya  Bionas East Africa Group, Muky. Adnan Ali Adikata,  yagambye nti entegeka zino zigenda kutandika okuvaamu ebibala mu myaka etaano era bagenda kussaawo ekkolero erikamula amafuta gano nga zisuubirwa okuvaamu ebipipa by’amafuta 60,000 buli lunaku.

Pulojekiti esuubira okutandikira e Koboko, Yumbe and Isingiro.

Ebyo nga biri awo Pulezidenti  Museveni asisinkanye munnamakkolero Omuchina Pengfei Zhang, n’amugamba atandike okukola ebikondo ebissibwawo waya ezitambuza amasannyalaze eby’enkokoto bisikire eby’emiti ebiriwo kati.

Yinvesita ono ayagala kutandika wano kkolero ly’ebintu by’amasannyalaze okuli ppaasi, ebbinika, mita z’amasannyalaze, tulansifooma n’ebirala kyokka Pulezidenti Museveni amuwadde amagezi ku bino asseeko okukola ebikondo eby’enkokoto kuba biwangaala okusinga eby’emiti.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe