TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abantu abalala 5 bavunaaniddwa okuwandiisa essimu mu bukyamu

Abantu abalala 5 bavunaaniddwa okuwandiisa essimu mu bukyamu

By Joseph Makumbi

Added 14th May 2018

ABANTU abalala bataano abagambibwa okuwandiisa layini z’essimu mu bukyamu ne zeeyambisibwa mu buzzi bw’emisango basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Mwanga II.

Better 703x422

Owa poliisi ng'aggya Edrine Tamale ku mpingu mu kkooti ya Mwanga II.

Ku bano kuliko abasuubuzi b’oku William Street mu Kampala n’abakozi ba kkampuni ya Airtel.

Poliisi yategeeza gye buvuddeko nti bano okufaananako abataano abaasoose okuvunaanibwa mu kkooti e Makindye, nabo baaguza abatta Susan Magara layini z’essimu ze baakozesa okusaba kitaawe John Fitzgerald Magara ssente nga bwe bazikyusakyusa.

Kyokka ekyewuunyisizza abaabadde mu kkooti, tewali linnya lya Magara we lyakooneddwaako mu misango egyabavunaaniddwa.

Bamaze emyezi egisoba mu ebiri mu kaduukulu. Abaavunaaniddwa ku Lwokutaano mu maaso g’omulamuzi Julius Mwesigye eyatuuliddewo Esther Nyadoi ow’eddaala erisooka ku kkooti ya Mwanga II kwabaddeko; Mary Namugerwa, Sandra Namakula, Edrine Tamale, Mike Lubyayi ne Shamira Babirye.

Namugerwa baamuvunaanye omusango gw’okuwandiisa layini z’essimu bbiri okuli 0759590674 ne 0759590647 mu mannya ga Kenneth Kimbugwe ng’akozesa densite ya Kimbugwe ku paaka enkadde nga tamuwadde lukusa mu February wa 2018.

Namakula baamuvunaanye emisango ebiri okuwandiisa layini 0751115388 mu mannya ga John Paul Kawooya, Edrine Tamale yavunaaniddwa okuwandiisa layini 0753447942 mu mannya ga Emmanuel Lugoloobi.

Bano abasatu bakomawo mu kkooti nga May 28, 2018. Abalala okuli Lubyayi ne Babirye abasuubuzi badda mu kkooti nga May 25, 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...