TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abatabbuliiki bakaaye: ‘Gavt. etuliyirire olw’okuzinda omuzikiti gwaffe e Nakasero’

Abatabbuliiki bakaaye: ‘Gavt. etuliyirire olw’okuzinda omuzikiti gwaffe e Nakasero’

By Hannington Nkalubo

Added 14th May 2018

ABATABBULIIKI baagala Gavumenti ebaliyirire ensimbi eziri mu bukadde 100 mu musango gwe baagiggulako olwa poliisi okulumba omuzikiti gwabwe e Nakasero gye buvuddeko n’etwala n’ebintu byabwe ebitali bimu.

Tala 703x422

Sheikh Kifampa (ku kkono), looya Ssemakadde, Yusuf Musa Musudda ne Sheikh Abdul Hamid Mbaziira nga bava mu kkooti.

Omusango gwatandise ku Lwokutaano okuwulirwa omulamuzi wa kkooti Enkulu Musa Ssekana oluvannyuma lw’okumala omwaka mulamba nga tegufuna mulamuzi aguwulira.

Ofiisi ya Ssaabawolereza wa Gavumenti yasindise looya Sylvia Cheptai.

Looya w’Abatabbuliiki Isack Ssemakadde yagambye nti musanyufu nti omusango gwabwe gufunye omulamuzi.

Omulamuzi yalabudde enjuyi zombi okwetegeka kubanga ayagala okuguwulira mu lunaku lumu lwokka.

Ataddewo olwa June 26, 2018 okuva ku ssaawa 2:30 ez’oku makya amalirize ku ssaawa 7:00 ez’emisana.

Looya w’Abatabbuliiki Isack Ssemakadde yasabye omulamuzi omusango agusse mu kkooti ya bonna ennene okusobozesa Abasiraamu bonna okubeerawo kyokka n’agaana nti mu kkooti ye mwe muli emizindaalo n’ebyuma ebikwata amaloboozi ku ntambi.

EBYABULA MU MUZIKITI

  • Ssemakadde yagambye nti mu ofiisi etwala Abasiraamu ku Hijja, babbamu doola 7,820 (obukadde 28), ssente za Uganda 2,900,000/-, kompyuta ebalirirwamu 1,500,000/- ne fayiro ezenjawulo ate mu ofiisi ya Ummah House balumiriza nti babbamu kompyuta n’ebiwandiiko ebirala.
  • Looya Ssemakadde yawadde kkooti olukalala lw’ebintu Abasiraamu bye bagamba nti byabbibwa okuva mu muzikiti ate ebirala nti abaserikale baabireka babyonoonye era baagala kkooti eragire Gavumenti ebisasule.
  • Mu ofiisi ya Amiiru Ummah babbamu obukadde 7 n’emitwalo 50, ate ssente eziva mu bintu ebyenjawulo nga paakingi ya mmotoka, amasannyalaze, amaduuka, emizindaalo, ebintu ebiterekebwa mu muzikiti, ssente ezikung'aanyizibwa okuva mu Basiraamu okukola emirimu byonna nga bibalirirwa mu bukadde 14 nabyo tebirabikako.

Olukalala lulaga pikipiki mukaaga ezaatwalibwa n’ezimu ku kaadi ebibalirirwa mu bukadde 16. Ssemakadde yategeezezza nti ebintu byonna bye baafiirwa mu kikwekweto kino bibalirirwa mu bukadde 100.

Omwogezi w’olukiiko olufuga Abatabbuliiki Sheikh Siraje Nsambu Kifampa yategeezezza nti baasalawo okwekubira enduulu mu kkooti kiyambe n’amasinzizo amalala obutaddamu kumala galumbibwa baserikale.

“Twagala kkooti eyise ekiragiro ekigaana ebitongole by’ebyokwerinda okuddamu okulumba essinzizo lyonna omuli Klezia, Kkanisa n’Omuzikiti,” Kifampa bwe yagambye.

E NAKASERO

Olwavudde mu kkooti, baatuukidde mu Juma eyabadde mu muzikiti gw’e Nakasero ne banjulira Abasiraamu ebibaddeyo.

Kyokka Abasiraamu beemulugunyizza olwa kkooti eyagaanye okukkiriza Sheikh Siraje Kawooya okweyimirirwa ng’ate ddembe lye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Starleaguenov162019kccabtvipers10kizzaandwilla2 220x290

KCCA FC ekubye Vipers awaluma

KCCA FC emezze Vipers SC egikyalidde e Lugogo ku kisaawe kya Star Times ku ggoolo 1-0 ng’eteebeddwa Mike Mutyaba...

Buza 220x290

Omusajja omukodo abuza omuliro...

TEWALI kintamizza basajja nga bukodo. Balinga abatamanyi nti omukyala yenna aweebwa kubanga kibi nnyo okukama ente...

Wuga 220x290

Omulwadde wa siriimu asobola okuzaala?...

NDI mukyala ayagala waakiri okuzaalayo omwana omu kubanga nnina siriimu. Naye ssenga, kandida annuma naye neebuuza...

Jino 220x290

Ow’emyaka 90 alumirizza ekkanisa...

NNAMUKADDE ow’emyaka 90 alumirizza ab’ekkanisa ya Uganda okumutundira mu ttaka ly’abaddeko emyaka egisoba mu 60....

Linda 220x290

Stecia awadde Julie obukwakkulizo...

ABAYIMBI n’abasuubuzi bongedde ebbugumu mu nteekateeka y’emikolo gy’okwanjula kwa Julie Ssemugga egisuubirwa okubeerawo...