TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ambasada Kyaligonza agguddwaako gwa kukuba nneyiba we n'amulumya

Ambasada Kyaligonza agguddwaako gwa kukuba nneyiba we n'amulumya

By Joseph Makumbi

Added 14th May 2018

AMBASADA wa Uganda mu Burundi, Brig. Gen. Matayo Kyaligonza, baliraanwa be bamututte ku poliisi nga bamuvunaana omusango gw’okukuba omuntu katono amutte ng’amulanga kumulemesa kutema mufulejje gwa mukoka.

Kyali 703x422

Nnaalongo Maria Nakaweesa ng'attulukuka omusaayi. Wakati, Nnaalongo ng'ali mu ddwaliro lya Le Memorial e Kigo. Ku ddyo ye Ambasada Kyaligonza

Zaabadde ssaawa nga 8:00 ez’emisana Kyaligonza n’asitula basajja be abamukolera emirimu ng’aliko n’abajaasi ba miritale abamukuuma ne batandika okusima emifulejje.

Kyaligonza yabalaze aw’okusima mu poloti ya Nnaalongo Maria Nakaweesa muliraanwa we ku kyalo Mutungo e Kigo wabula Nakaweesa yabadde mulwadde nga tasobola kutambula nga tali ku miggo, yaginoonyezza gye gyabadde n’awenyeggera mpolampola okutuuka we baabadde basima.

Yabalaze we baba basima kubanga mukama waabwe we yabadde abagambye, mukoka yabadde agenda kuggweera mw’emu ku nnyumba za Nakaweesa, wabula yabadde akyabalaga, Kyaligonza we yatuukidde.

Okusinziira ku Catherine Arinde omu ku bawala ba Nakaweesa, Kyaligonza yatuuse abuuza oba Nakaweesa y’agenda okubasasula.

Nakaweesa y’akulits abakyala ku kyalo kino, agamba nti yagezezzaako okunnyonnyola mukulu munne ate mukwano gwe nti, we baabadde basima mukoka ajja kugenda ku nnyumba ye agyonoone waakiri basime bamuyise awatali nnyumba.

Mu ngeri y’akasunguyira Kyaligonza we yakwatidde omuggo n’agumukuba ku mutwe, omulala n’agumukuba mu kifuba n’omulala ku nkoona, amagulu n’embiriizi era abaserikale ba Miritale abamukuuma baalabye agenda kutta omukadde, kwe kutaasa embeera.

Omu ku baserikale bano yategeezezza nti, be baakutte mukama waabwe ne Nakaweesa ne bamuggya wansi we yabadde agudde ne bamutwala mu nnyumba oluvannyuma ne bamutwala ku ddwaaliro lya Le Memorial e Kigo gye baamujjanjabidde ekiwundu kye yabadde afunye mu kyenyi.

Nakaweesa yatwaliddwa ku poliisi y’e Mutungo n’aggulawo omusango gw’okukubwa Kyaligonza ku fayiro SD: 18/12/05/2018.

OBUZIBU BUVA WA?

Okusinziira ku batuuze, Kyaligonza azze anenehhana n’abantu ku kyalo ku by’ettaka ng’agamba nti obuyumba bwabwe tebusaana kubeera mu kitundu.

Lawrence Male, omu ku batuuze yagambye nti, waliwo ettaka lye yali ayagala okutunda okuliraana ewa Kyaligonza, bwe yamanya nti baagala kulitunda, yabalemesa era nnyiniryo talina kye yalifunamu.

Yagambye nti, waliwo ne poloti endala eyali emuliraanye, nnyini yo yali alimiramu emmere n’amulemesa okulimiramu nga bw’amubuuza nti, ‘mulimira wano mwagala kundeetera babbi?’ Ono era kigambibwa nti, alina ettaka lye yali akaayanira n’omukazi omu bwe yeekubira enduulu ew’omubaka atwala ekitundu kino, Kigozi Ssempala bwe yagendayo ne bakansala abatwala ekitundu okugonjoola ensonga, Kyaligonza yabakuba emiggo okuva olwo ne nnannyini ttaka teyaddamu kunyega.

AYAGALA KUGGALA KKUBO

Abatuuze era baatulaze ekkubo eriva ku luguudo lwa Entebbe Expressway eritwala baliraanwa ba Kyaligonza mu maka gaabwe ly’ayagala okuziba.

Yatandise dda enteekateeka eziggala ekkubo lino libeere nga litwala ye yekka. Yataddeko abazimbi abazimba empagi ezigenda okukola wankaaki.

Bano, bazimba bakuumibwa abajaasi ba miritale abamukuuma. Wano, ayagala kuteekawo ggeeti ng’etuulako abajaasi nga baggulira ye yekka baliraanwa be bayiiye awalala we banaayita.

Male yagambye nti, ettaka kw’akolera bino byonna liriko bannannyini lyo teyabasaba lukusa n’ekkubo ly’ayagala okuziba, yalisangawo nga litwala abantu bangi.

Kyaligonza bwe yatuukiriddwa, yagaanyi okubaako ky’ayogera ku byabaddewo n’ategeeza nti ali mu Klezia nga n’obubaka ku ssimu yagaanyi okubuddamu okutuusa olunaku okuziba.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...