TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Jamil Mukulu gye yeecangidde mu kkooti ne bamulemezaako empingu

Engeri Jamil Mukulu gye yeecangidde mu kkooti ne bamulemezaako empingu

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2018

JAMIL Mukulu yeecangidde ku kkooti n’aleekaanira waggulu ‘nze sittanga ku bantu’ ekiwalirizza ab’amakomera okumuleka ku mpingu ne bamuyingiza nazo mu kaguli.

Mati 703x422

Jamir Mukulu ng’ayombera ku kkooti.

Mukulu olwalinnye ekigere ku ttaka ng’ava mu bbaasi, n’atandikirawo okuwoggana nga bw’awanika emikono egyabadde emisibe ku mpingu nti, ‘sinze natta Kayiira, sinze n’atta ab’e Kasese, satta Basiraamu, abatta abantu bali mu Gavumenti’.

Kino kyatiisizza abaserikale abaabadde bamukuuma ne basalawo okumuleka ku mpingu n’ayingizibwa mu kaguli ka kkooti ng’asibiddwa.

Guno gwe gwabadde omulundi gwa Jamil Mukulu ogwasoose okuleetebwa mu kkooti y’e Kampala bukyanga akwatibwa mu 2015.

Yasooka kusibibwa Nalufenya gye yaggyibwa n’atwalibwa ku kkooti ento e Jinja n’asindikibwa mu kkomera. Mu kkooti baamuyingizza nga zinnatera okuwera ssaawa 5:00 ez’oku makya.

Ensonga y’empingu ku mikono mu kkooti ne looya we Caleb Alaka yagitegeezezza Omulamuzi Eva Luswata n’amugamba nti kyoleka ekifaananyi kya kkooti ekibi era mu misango egy’amaanyi gyonna gyawozezza abasibe babadde bazibaggyako nga batuuse mu kkooti.

Luswata yagambye nti, embeera ya leero teyeebeereka. “Nkimanyi empingu ku mikono zibamalako emirembe naye tekityoboola ddembe lyabwe eribaweebwa Ssemateeka.

Emabegako waliwo abasibe abaatoloka mu kkooti olw’ebyokwerinda sigenda kulagira mpingu zimuggyibweko,” Omulamuzi bwe yagambye. Mukulu obwedda ali mu kkooti naye nga teyeefiirayo.

Obwedda anyumya ne basibe banne nga bwe baseka. Fayiro y’omusango yabaddeko abasibe 35 naye abamakomera baleese 37.

Abdu Rashid Kalenge ne Bashir Lwanga tebaabadde ku fayiro naye oludda oluwaabi lwategeezezza nti lugenda kukola ennongoosereza mu mpaaba yaabwe nabo bagattibweko.

Dr. Aggrey Kiyingi ali mu Australia naye yasomeddwa omusango nga taliiwo era guno mulundi gwa kubiri nga poliisi eremwa okumuleeta mu Uganda okumuvunaana.

Bambega abaabadde mu ngoye ezaabuljjo beefuze kkooti nga bwokuba muno akaama nga bakwetegereza.

Eggulo kkooti yabadde etandika emitendera egisooka okuyitibwamu ng’emisango egimuvunaanibwa teginnatandika kuwulirwa kyokka oludda oluwaabi terwetegese bulungi ne lusaba omusango gwongezebweyo kubanga balina obujulizi bw’obutambi okuva e Tanzania bwe bakyetegereza.

Emisango egivunaanibwa Mukulu giviira ddala mu 1998 abayeekera bwe baalumba ettendekero lye Kichwamba ne bookya abayizi abasukka mu 80.

Avunaanibwa okwenyigira mu bikolwa by’obuyeekera, egy’obutujju 7 n’okutumbula ebikolwa by’obutujju, egy’okubba ng’akozesa ebissi, okutta aba poliisi babiri ku poliisi y’e Bugiri mu Busoga, okutta Abasiraamu n’okukola ebikolobero ku bantu b’e Kasese.

Mukulu yali amaze emyaka mu buyeekera ng’enkambi ye enkulu eri Congo wabula mu 2015 ab’ebyokwerinda bamukwatira e Tanzania ne bamukomyawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600