TOP

Nnaabagereka awadde amagezi ku nkuza y’abaana

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2018

NNABAGEREKA Sylvia Nagginda akkaatirizza obukulu bw’obuntubulamu mu bakyala nti gwe musingi gw’enkulaakulana, n’emirembe mu maka.

Teta 703x422

Muky Nakabiri (mu gomesi eya kitaka) ng’annyonnyola Nnabagereka (owookuna ku kkono).

“Omuntu ne bw’aba nga yasoma n’amalayo diguli zonna, bwatabeera na buntubulamu, tewali kiyinza kutambula bulungi mu maka ne mu mbeera endala ez’obulamu, “ Nnabagereka bwe yannyonnyodde.

Bino yabyogeredde ku mbuga y’essaza lya Kyaddondo e Kasangati gye yayaniriziddwa Kaggo Patrick Mugumbule ku mukolo ogwetabiddwaako, Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda, Nelson Kawalya, Minisita omubeezi ow’Ebyenjigiriza Rosemary Sseninde, Minisita w’abakyala e Mmengo Maria Nkalubo Mayanja n’abalala.

Minisita Sseninde yamusabye okuyambako okukoma ku bazadde okusiba abaana abato enviiri, okubawummula amatu n’okubasiiga emimwa nti beesittaza abaana nga bakyali bato ssaako okubalaga ennyambala embi omuli okwambala bukokoonyo n’okupika amabeere nga bino byonna byonoonye abaana b’eggwanga.

Minisita w’abakyala e Mmengo Maria Nkalubo Mayanja yagambye ng’abakyala bwe balina enteekateeka z’okwekolera banka yaabwe eya ‘Womens Bank’ nga kati essira balitadde nnyo mu SACCO mwe bakulaakulanidde olw’obukozi bwabwe.

Sipiika Kawalya eyabaddewo ku lwa Katikkiro yasabye n’abaana abalenzi nabo batandikirwewo enteekateeka mwe banaayita okubangulwanga n’okubuulirirwa ng’abawala kuba bbo babadde tebafiibwako nga kikaluubiriza nnyo abawala okukwatagana n’abalenzi abatafuna mukisa kubuulirirwa.

Okusooka Nabagereka bwe yabadde alambula abakyala abatuuse ku nkulaakulana mu ssaza lya Ssaabaddu Kira, yabakuutidde okuba abayiiya ennyo n’okuyigira ku bannaabwe abalina eky’enjawulo kye batuseeko ekikulaakulanya ensawo zaabwe.

Bino yabyogeredde Najjeera mu Busibante Zooni 1 ng’alambula Muky. Margaret Nakabiri Magembe alimira awafunda ate n’afuna.

Yagambye nti ono kyakulabirako eri Obuganda ku ngeri omukyala bwe yandyeyisizza okubezaawo amaka ge amalungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...